< Zabbuli 98 >

1 Zabbuli. Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, kubanga akoze eby’ekitalo. Omukono gwe ogwa ddyo, era omukono omutukuvu, gumuwadde obuwanguzi. 2 Mukama ayolesezza obulokozi bwe, era abikkulidde amawanga obutuukirivu bwe. 3 Ajjukidde okwagala kwe okutakoma n’obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isirayiri. Enkomerero z’ensi yonna zirabye obulokozi bwa Katonda waffe. 4 Muyimbire Mukama n’essanyu lingi mwe ensi yonna; muyimbe ennyimba mu maloboozi ag’essanyu. 5 Mutendereze Mukama n’ennanga ez’enkoba; n’ennanga ez’enkoba n’amaloboozi ag’okuyimba, 6 n’amakondeere n’eddoboozi ly’eŋŋombe. Muyimbe n’essanyu mu maaso ga Mukama era Kabaka. 7 Ennyanja eyire ne byonna ebigirimu, n’ensi ne byonna ebigirimu bijaguze. 8 Emigga gikube mu ngalo n’ensozi zonna ziyimbire wamu olw’essanyu; 9 byonna biyimbe mu maaso ga Mukama, kubanga ajja okulamula ensi. Aliramula ensi mu butuukirivu; aliramula amawanga mu bwenkanya.

< Zabbuli 98 >