< Zabbuli 81 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu. Mumuyimbire nnyo n’essanyu Katonda amaanyi gaffe; muyimuse waggulu amaloboozi gammwe eri Katonda wa Yakobo! 2 Mutandike okuyimba, mukube ebitaasa n’ennanga evuga obulungi ey’enkoba awamu n’entongooli. 3 Mufuuwe eŋŋombe ng’omwezi gwakaboneka, era mugifuuwe nga gwa ggabogabo, ku lunaku olw’embaga yaffe. 4 Ekyo kye kiragiro eri Isirayiri, lye tteeka lya Katonda wa Yakobo. 5 Yaliteekera Yusufu, Katonda bwe yalumba ensi ya Misiri; gye nawulirira olulimi olwannema okutegeera. 6 “Nnamutikkula omugugu okuva ku kibegabega kye; n’emikono gye ne ngiwummuza okusitula ebisero. 7 Mwankoowoola nga muli mu nnaku ne mbadduukirira ne mbawonya, nabaanukulira mu kubwatuka mu kire; ne mbagezesa ku mazzi ag’e Meriba. 8 Muwulire, mmwe abantu bange, nga mbalabula. Singa onompuliriza, ggwe Isirayiri! 9 Temubeeranga na katonda mulala, wadde okuvuunamira katonda omulala yenna. 10 Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y’e Misiri. Yasamya akamwa ko, nange nnaakajjuza. 11 “Naye abantu bange tebampuliriza; Isirayiri teyaŋŋondera. 12 Nange ne mbawaayo eri obujeemu bw’omutima gwabwe, okugoberera ebyo bye baagala. 13 “Singa abantu bange bampuliriza; singa Isirayiri agondera ebiragiro byange, 14 mangwago nandirwanyisizza abalabe baabwe, ne mbawangula. 15 Abo abakyawa Mukama ne beegonza gy’ali; ekibonerezo kyabwe kya mirembe gyonna. 16 Naye ggwe, Isirayiri, nandikuliisizza eŋŋaano esingira ddala obulungi, ne nkukkusa omubisi gw’enjuki nga guva mu lwazi.”

< Zabbuli 81 >