< Zabbuli 6 >

1 Eri Omukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi. Ayi Mukama, tonnenya ng’ojjudde obusungu; so tombonereza mu kiruyi kyo. 2 Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi munafu. Omponye, Ayi Mukama, kubanga amagumba gange gali mu bulumi. 3 Emmeeme yange ejjudde ennaku. Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe? 4 Onkyukire, Ayi Mukama, olokole omwoyo gwange; omponye okufa olw’okwagala kwo okungi. 5 Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa. Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe? (Sheol h7585) 6 Mpweddemu amaanyi olw’okusinda. Buli kiro obuliri bwange bujjula amaziga gange n’omutto ne gutoba. 7 Amaaso gange ganafuye olw’okunyolwa, tegakyalaba bulungi olw’abalabe bange. 8 Muve we ndi mmwe mwenna abakola ebibi; kubanga Mukama awulidde okukaaba kwange. 9 Mukama awulidde okwegayirira kwange, n’okusaba kwange akukkirizza. 10 Abalabe bange bonna baliswazibwa era balitya nnyo; bazzibwe emabega nga bajjudde obuswavu mangu ago.

< Zabbuli 6 >