< Zabbuli 32 >

1 Zabbuli ya Dawudi. Alina omukisa oyo asonyiyiddwa ebyonoono bye ekibi ne kiggyibwawo. 2 Alina omukisa omuntu oyo Mukama gw’atakyabalira kibi kye, ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa. 3 Bwe nasirikiranga ekibi kyange, ne nkogga, kubanga nasindanga olunaku lwonna. 4 Wambonerezanga emisana n’ekiro, amaanyi ne ganzigwamu ng’amazzi bwe gakalira mu kyeya. 5 Awo ne nkwatulira ekibi kyange, ne sibikkirira kwonoona kwange. Ne njogera nti, “Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.” Bw’otyo n’onsonyiwa, n’onziggyako omusango gw’ebibi byange. 6 Noolwekyo abaweereza bo bonna abeesigwa bakwegayirire ng’okyalabika; oluvannyuma ebizibu bwe birijja, ng’amazzi ag’amaanyi amangi tebiribatuukako. 7 Oli kifo kyange mwe nneekweka, ononkuumanga ne situukwako kabi era ononneetooloozanga ennyimba ez’obulokozi. 8 Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga; nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira. 9 Temubeeranga ng’embalaasi oba ennyumbu ezitategeera, ze bateekwa okussa ekyuma mu kamwa ekisibwa ku lukoba, ziryoke zifugibwe zijje gy’oli. 10 Ababi balaba ennaku nnyingi; naye abeesiga Mukama bakuumirwa mu kwagala kwe okutaggwaawo. 11 Musanyukire mu Mukama era mujaguze mmwe abatuukirivu, era muyimbire waggulu n’essanyu mmwe abalina omutima omulongoofu.

< Zabbuli 32 >