< Zabbuli 26 >

1 Zabbuli ya Dawudi. Onnejjeereze, Ayi Mukama, kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa; nneesiga ggwe, Ayi Mukama, nga sibuusabuusa. 2 Neetegereza, Ayi Mukama, ongezese; weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange. 3 Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera, era mu mazima go mwe ntambulira. 4 Situula na bantu balimba, so siteesaganya na bakuusa. 5 Nkyawa ekibiina ky’aboonoonyi; so situula na bakozi ba bibi. 6 Naaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango; ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama; 7 ne nnyimba oluyimba olw’okwebaza, olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa. 8 Ennyumba yo mw’obeera njagala, Ayi Mukama, kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo. 9 Tombalira mu boonoonyi, wadde mu batemu, 10 abakozesa emikono gyabwe okutegeka ebikolwa ebibi, era abali b’enguzi. 11 Naye nze ntambula nga siriiko kye nnenyezebwa; nkwatirwa ekisa, Ayi Mukama, ondokole. 12 Nnyimiridde watereevu. Nnaatenderezanga Mukama mu kibiina ky’abantu ekinene.

< Zabbuli 26 >