< Zabbuli 24 >

1 Zabbuli ya Dawudi. Ensi ya Mukama n’ebigirimu byonna, n’ensi zonna n’abo abazibeeramu. 2 Kubanga yasimba emisingi gyayo mu nnyanja, n’agizimba ku mazzi amangi. 3 Alyambuka ku lusozi lwa Mukama ye afaanana atya? Era wa ngeri ki aliyingira n’ayimirira mu nnyumba ye entukuvu? 4 Oyo alina omutima omulongoofu, nga n’emikono gye mirongoofu; atasinza bakatonda abalala, era atalayirira bwereere. 5 Oyo Mukama anaamuwanga omukisa, n’obutuukirivu okuva eri Katonda ow’obulokozi bwe. 6 Ogwo gwe mulembe gw’abo abakunoonya, Ayi Katonda wa Yakobo. 7 Mweggulewo, mmwe bawankaaki! Muggulwewo, mmwe enzigi ez’edda, Kabaka ow’ekitiibwa ayingire. 8 Kabaka ow’ekitiibwa ye ani? Ye Mukama ow’amaanyi era ow’obuyinza, omuwanguzi mu ntalo. 9 Mweggulewo, mmwe bawankaaki, muggulwewo mmwe enzigi ez’edda! Kabaka ow’ekitiibwa ayingire. 10 Kabaka ow’ekitiibwa oyo ye ani? Mukama Ayinzabyonna; oyo ye Kabaka ow’ekitiibwa.

< Zabbuli 24 >