< Zabbuli 2 >

1 Lwaki amawanga geegugunga n’abantu ne bateganira obwereere okusala enkwe? 2 Bakabaka ab’ensi bakuŋŋaanye, n’abafuzi ne bateeseza wamu ku Mukama ne ku Kristo we, nga bagamba nti, 3 “Ka tukutule enjegere zaabwe, era tweyambulemu ekikoligo kyabwe.” 4 Naye Katonda oyo atuula mu ggulu, abasekerera busekerezi, n’enkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa. 5 N’alyoka abanenya ng’ajjudde obusungu, n’abatiisa nnyo ng’aswakidde. 6 N’abagamba nti, “Ddala ddala nateekawo kabaka owange ku lusozi lwange Sayuuni olutukuvu.” 7 Nzija kulangirira ekiragiro kya Mukama: kubanga yaŋŋamba nti, “Ggwe oli Mwana wange, olwa leero nfuuse kitaawo. 8 Nsaba, nange ndikuwa amawanga gonna okuba obusika bwo, era n’ensi yonna gy’ekoma okuba amatwale go. 9 Olibafugisa omuggo ogw’ekyuma, era olibabetenta ng’entamu y’omubumbi.” 10 Kale nno mubeere n’amagezi mmwe bakabaka; muyige okulabulwa mmwe abafuzi b’ensi. 11 Muweereze Mukama nga mumutya, era musanyuke n’okukankana. 12 Mwanirize Omwana, mumusembeze Mukama aleme okubasunguwalira n’okubazikiriza nga muli mu kkubo lyammwe; kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu. Kyokka bonna abaddukira gy’ali balina omukisa.

< Zabbuli 2 >