< Zabbuli 16 >

1 Ya Dawudi. Onkuume, Ayi Katonda, kubanga ggwe buddukiro bwange. 2 Nagamba Mukama nti, “Ggwe Mukama wange, ebirungi byonna bye nnina biva gy’oli.” 3 Abatukuvu abali mu nsi be njagala era mu bo mwe nsanyukira. 4 Ennaku y’abo abagoberera bakatonda abalala yeeyongera. Siriwaayo ssaddaaka zaabwe ez’omusaayi, wadde okusinza bakatonda baabwe. 5 Mukama, ggwe mugabo gwange, era ggw’oliisa obulamu bwange; era ggw’olabirira ebyange. 6 Ensalo zange ziri mu bifo ebisanyusa, ddala ddala omugabo omulungi. 7 Nnaatenderezanga Mukama kubanga annuŋŋamya ne mu kiro ayigiriza omutima gwange. 8 Nkulembeza Mukama buli kiseera, era ali ku mukono gwange ogwa ddyo, siinyeenyezebwenga. 9 Noolwekyo omutima gwange gusanyuka, n’akamwa kange ne kajaguza; era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu mirembe. 10 Kubanga omwoyo gwange toliguleka magombe, wadde okukkiriza Omutukuvu wo okuvunda. (Sheol h7585) 11 Olindaga ekkubo ery’obulamu; w’oli we wanaabanga essanyu erijjuvu, era mu mukono gwo ogwa ddyo nga mwe muli ebisanyusa emirembe gyonna.

< Zabbuli 16 >