< Zabbuli 15 >

1 Zabbuli ya Dawudi. Ayi Mukama, ani anaabeeranga mu nnyumba yo? Ani anaatuulanga ku lusozi lwo olutukuvu? 2 Oyo ataliiko kya kunenyezebwa, akola eby’obutuukirivu, era ayogera eby’amazima nga biviira ddala mu mutima gwe. 3 Olulimi lwe talwogeza bya bulimba, era mikwano gye tagiyisa bubi, so tasaasaanya ŋŋambo ku baliraanwa be. 4 Anyooma ababi, naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa. Atuukiriza ky’asuubiza ne bwe kiba nga kimulumya. 5 Bw’awola tasaba magoba; so takkiriza kulya nguzi ku muntu yenna. Oyo akola ebyo aliba munywevu emirembe gyonna.

< Zabbuli 15 >