< Zabbuli 149 >

1 Mutendereze Mukama! Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, mumutenderereze wamu n’ekibiina ky’abatukuvu. 2 Isirayiri asanyukirenga eyamutonda; n’abantu ba Sayuuni bajagulize Kabaka waabwe! 3 Batenderezenga erinnya lye nga bwe bazina, bamutenderezenga nga bwe bakuba ennanga n’ebitaasa. 4 Kubanga Mukama asanyukira abantu be, n’abawombeefu abawa engule ey’obulokozi. 5 Abatuukirivu bajagulizenga mu kitiibwa kino; bayimbire ku bitanda byabwe olw’essanyu. 6 Batenderezenga Katonda waabwe, bakwate ekitala eky’obwogi obubiri, 7 bawoolere eggwanga, babonereze n’amawanga, 8 bateeke bakabaka baago mu njegere, n’abakungu baago babasibe amagulu n’ebyuma, 9 babasalire omusango ogwabawandiikirwa. Kino kye kitiibwa ky’abatukuvu be bonna. Mutendereze Mukama.

< Zabbuli 149 >