< Zabbuli 140 >

1 Ya mukulu w’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi. Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama, omponye abantu abakambwe; 2 abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi; abanoonya entalo buli kiseera. 3 Ebigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota; ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obw’essalambwa. 4 Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama; omponye abantu abakambwe abateesa okunkyamya. 5 Abantu ab’amalala banteze omutego; banjuluzza ekitimba kyabwe; ne batega emitego mu kkubo lyange. 6 Nagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.” Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama! 7 Ayi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go, ggwe engabo yange mu lutalo. 8 Ayi Mukama, abakola ebibi tobawa bye beetaaga, era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira; baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza. 9 Abanneetoolodde baleke enkwe zaabwe zibeekyusizeeko baboneebone. 10 Amanda agaaka omuliro gabagwire; basuulibwe mu muliro, bakasukibwe mu bunnya obutakoma mwe bataliva emirembe gyonna. 11 Tokkiriza balimba kweyongera bungi; abakambwe bayigganyizibwe bazikirire. 12 Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya. 13 Abatuukirivu banaakutenderezanga, era w’oli we banaabeeranga.

< Zabbuli 140 >