< Zabbuli 136 >

1 Mwebaze Mukama kubanga mulungi, 2 Mwebaze Katonda wa bakatonda bonna, 3 Mwebaze Mukama w’abafuzi, 4 Oyo yekka akola ebyamagero ebikulu, 5 Oyo eyakola eggulu mu kutegeera kwe, 6 Oyo eyabamba ensi ku mazzi, 7 Oyo eyakola ebyaka ebinene, 8 Enjuba yagikola okufuganga emisana, 9 Omwezi n’emmunyeenye yabikola okufuganga ekiro, 10 Oyo eyatta ababereberye b’Abamisiri, 11 N’aggya Isirayiri mu Misiri, 12 Yabaggyamu n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola; 13 Oyo eyayawulamu amazzi g’Ennyanja Emyufu, 14 N’ayisa abaana ba Isirayiri wakati waayo, 15 Naye n’asaanyaawo Falaawo n’eggye lye mu Nnyanja Emyufu; 16 Oyo eyakulembera abantu be mu ddungu, 17 Ye yafufuggaza bakabaka abaatiikirivu, 18 N’atta bakabaka ab’amaanyi, 19 Ye yatta ne Sikoni, kabaka w’Abamoli, 20 Era ye yatta ne Ogi kabaka wa Basani, 21 N’awaayo ensi yaabwe okuba obutaka, 22 Okuba obutaka bwa Isirayiri omuddu we, 23 Oyo eyatujjukira nga tuweddemu ensa, 24 N’atuwonya abalabe baffe, 25 Oyo awa abantu n’ebiramu byonna ekyokulya, 26 Kale mwebaze Katonda w’eggulu,

< Zabbuli 136 >