< Zabbuli 134 >

1 Oluyimba nga balinnya amadaala. Mulabe, mutendereze Mukama, mmwe mwenna abaddu ba Mukama, abaweereza ekiro mu nnyumba ya Mukama. 2 Mugolole emikono gyammwe mu kifo ekitukuvu, mutendereze Mukama. 3 Mukama eyakola eggulu n’ensi akuwe omukisa ng’asinziira mu Sayuuni.

< Zabbuli 134 >