< Zabbuli 12 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Tuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda; abantu abeesigwa bonna baweddewo. 2 Buli muntu alimba munne; akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba. 3 Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana, na buli lulimi olwenyumiriza; 4 nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe, kubanga ani alitukuba ku mukono.” 5 Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu, n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu, nnaasituka kaakano ne nnwanirira abo abalumbibwa.” 6 Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima. Bigeraageranyizibwa n’effeeza erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba. 7 Ayi Mukama, tukwesiga ng’onootukuumanga, n’otuwonya abantu abali ng’abo emirembe gyonna. 8 Ababi beeyisaayisa nga bagulumiza ebitaliimu nsa.

< Zabbuli 12 >