< Zabbuli 114 >

1 Isirayiri bwe yava mu Misiri, abaana ba Yakobo abo, ne bava mu bantu abaayogeranga olulimi olutali lwabwe; 2 Yuda n’afuuka omutukuvu wa Katonda, Isirayiri n’afuuka amatwale ge. 3 Ennyanja bwe yabalaba n’edduka; Omugga Yoludaani ne gudda emabega. 4 Ensozi ne zibuukabuuka ng’endiga zisseddume, n’obusozi obutono ng’obuliga obuto. 5 Ggwe ennyanja, lwaki wadduka? Ggwe Yoludaani, lwaki wadda emabega? 6 Mmwe ensozi, lwaki mwabuukabuuka ng’endiga zisseddume, nammwe obusozi obutono ng’obuliga obuto? 7 Kankana, ggwe ensi, mu maaso ga Mukama, mu maaso ga Katonda wa Yakobo, 8 eyafuula olwazi ekidiba eky’amazzi, n’olwazi olugumu n’aluggyamu ensulo ez’amazzi.

< Zabbuli 114 >