< Zabbuli 112 >

1 Mutendereze Mukama! Alina omukisa omuntu atya Katonda, era asanyukira ennyo mu mateeka ge. 2 Abaana be baliba ba kitiibwa mu nsi; omulembe gw’abalongoofu guliweebwa omukisa. 3 Ennyumba ye enejjulanga ebintu n’obugagga obungi; era anaabanga mutuukirivu ennaku zonna. 4 Ne mu kizikiza, ekitangaala kyakira omulongoofu, alina ekisa, n’oyo alina okusaasira, era omutuukirivu. 5 Omuntu oyo agabira abeetaaga, era tawolera magoba, era akola emirimu gye gyonna n’obwenkanya, alifuna ebirungi. 6 Omutuukirivu talinyeenyezebwa, era anajjukirwanga ennaku zonna. 7 Amawulire amabi tegaamutiisenga, kubanga omutima gwe munywevu gwesiga Mukama. 8 Omutima gwe guteredde, tewali ky’anaatyanga, era oluvannyuma alitunuulira abalabe be n’amaaso ag’obuwanguzi. 9 Agabidde abaavu bye beetaaga; mutuukirivu ebbanga lyonna; era bonna banaamussangamu ekitiibwa. 10 Omubi anaabirabanga ebyo, n’asunguwala, n’aluma abugigi, naye nga talina kya kukola. Okwegomba kw’ababi tekuubengako kye kubagasa.

< Zabbuli 112 >