< Zabbuli 100 >

1 Zabbuli ey’okwebaza. Muleetere Mukama eddoboozi ery’essanyu mmwe ensi zonna. 2 Muweereze Mukama n’essanyu; mujje mu maaso ge n’ennyimba ez’essanyu. 3 Mumanye nga Mukama ye Katonda; ye yatutonda, tuli babe, tuli bantu be era endiga ez’omu ddundiro lye. 4 Muyingire mu miryango gye nga mwebaza, ne mu mpya ze n’okutendereza; mumwebaze mutendereze erinnya lye. 5 Kubanga Mukama mulungi, n’okwagala kwe kwa lubeerera; n’obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.

< Zabbuli 100 >