< Okubala 4 >

1 Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti,
И рече Господь к Моисею и Аарону, глаголя:
2 “Mubale batabani ba Kokasi abava mu kika ky’Abaleevi, ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe ziri.
возми сочисление сынов Каафовых от среды сынов Левииных, по сонмом их, по домом отечеств их,
3 Mubabale nga muva ku basajja ab’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano, abayinza okuyingira mu buweereza obw’okukola emirimu mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
от двадесяти и пяти лет и вышше, даже до пятидесяти лет, всяк входяй служити, творити вся дела в скинии свидения.
4 “Gino gye mirimu eginaakolwanga batabani ba Kokasi mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu: nga gya kulabirira ebintu ebitukuvu ennyo.
И сия дела сынов Каафовых от среды сынов Левииных, по сонмом их, по домом отечеств их, в скинии свидения Святое Святых.
5 Olusiisira bwe lunaabanga lusitula, Alooni ne batabani be banaayingirangamu, ne batimbulula eggigi ery’olutimbe ne balibikka ku Ssanduuko ey’Endagaano.
И да внидут Аарон и сынове его, егда воздвигнется полк, и да снимут завесу осеняющую, и да обвиют в ню кивот свидения,
6 Okwo banaabikkangako amaliba ga lukwata, kuno ne babikkako olugoye olwa bbululu omuka, ne balyoka basonsekamu emisituliro gyayo.
и да покрыют его покровом кожаным синим, и да возложат нань одежду всю синетную сверху, и да вложат носила:
7 “Ku mmeeza ey’Emigaati egy’Okulaga banaayaliirangako ekitambala ekya bbululu, ne bassaako amasowaane, n’ebijiiko ebinene, n’amabakuli, n’ejaagi omunaabeeranga ebiweebwayo ebyokunywa; n’emigaati egy’okulaga nagyo ginaabeeranga okwo.
и на трапезе предложения да положат на ней одежду всю багряную и блюда, и кадилницы и чашы, и возливалницы, имиже возливают, и хлебы на ней всегда да будут:
8 Banaayaliirangako ekitambaala ekimyufu ennyo, ne bakibikkako amaliba ga lukwata; ne basonsekamu emisituliro gyayo.
и да возложат на ню одежду червлену, и да покрыют ю покровом кожаным синим, и да вложат носила ея:
9 “Banaddiranga ekitambaala ekya bbululu ne bakibikka ku kikondo ky’ettaala kwe zinaayakiranga, n’ettabaaza zaako, n’ebikomola entambi n’ensuniya ez’ebisirinza, n’ejaagi ez’amafuta ag’omuzeeyituuni aganaakozesebwanga mu ttaala ezo.
и да возмут одежду синю, и покрыют светилник светящий и свещы его, и щипцы его и очищала его, и вся сосуды елеа его, имиже служат в них:
10 Ekikondo n’ebigenderako byonna binaasibibwanga mu maliba ga lukwata ne biteekebwa ku musituliro.
и да вложат его и вся сосуды его в покров кожан синий, и да возложат его на носила:
11 “Banaayaliiranga olugoye olwa bbululu ku kyoto ekya zaabu, okwo ne babikkako amaliba ga lukwata, ne basonsekamu emisituliro gyakyo.
и на олтарь златый да положат одежду синю, и да покрыют его покровом кожаным синим, и да вложат носила его:
12 “Banaddiranga ebintu byonna ebinaakozesebwanga ku mirimu gy’obuweereza mu watukuvu ne babiteeka mu lugoye olwa bbululu ne babibikkako amaliba ga lukwata, ne babiteeka ku misituliro gyabyo.
и да возмут вся сосуды служебныя, еликими служат в них во святых, и вложат во одежду синю, и да покрыют их покровом кожаным синим, и да возложат на носила:
13 Ekyoto banaakiggyangamu evvu ne bakibikkako olugoye olwa ffulungu;
и покров да возложат на олтарь, и покрыют его одеждою всею багряною:
14 ne balyoka bakissaako ebintu byonna ebikozesebwa mu mirimu gy’oku kyoto, nga mwe muli ensiniya ez’omuliro, n’ewuuma, n’ebijiiko n’ebibya. Okwo banaabikkangako amaliba ga lukwata, ne balyoka basonsekamu emisituliro gyakyo.
и да возложат на него вся сосуды его, еликими служат на нем в них, и кадилники, и вилицы и чашы, и покров и вся сосуды олтаря, и да возложат на него покров кожан синь и да вложат носила его: и да возмут одежду багряну, и да покрыют умывалницу и стояла ея: и да вложат ю в покров кожаный синий, и да возложат на носила.
15 “Alooni ne batabani be bwe banaamalanga okusibako awatukuvu ne byonna ebibeeramu, nga n’ekiseera ky’olusiisira okusitula mu lugendo kituuse; awo batabani ba Kokasi banajjanga ne babisitula, naye ekintu kyonna ekitukuvu tebakikwatangako, baleme okufa. Ebyo bye bintu eby’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu batabani ba Kokasi bye baneetikkanga.
И совершат Аарон и сынове его, покрывающе святая и вся сосуды святыя, внегда воздвизатися полку: и по сих да внидут сынове Каафовы воздвизати, и да не прикоснутся святых, да не умрут. Сия да воздвизают сынове Каафовы в скинии свидения.
16 “Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, y’anaabeeranga n’obuvunaanyizibwa obw’amafuta g’ettaala ag’omuzeeyituuni, n’obubaane obwakaloosa, n’ekiweebwayo eky’okulaga eky’emmere ey’empeke, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ag’okwawula. Era y’anaalabiriranga Eweema ya Mukama ne byonna ebigirimu, n’awatukuvu ne byonna ebikozesezebwamu.”
Надсмотритель Елеазар, сын Аарона жерца, елей светилный, и фимиам сложения, и жертва яже по вся дни, и елей помазания, надсмотрение всея скинии и елика суть в ней во святем, во всех делех.
17 Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti,
И рече Господь к Моисею и Аарону, глаголя:
18 “Mwegendereze ab’omu mpya z’ennyumba z’Abakokasi baleme okukutulwa ku kika ky’Abaleevi.
не потребите сонм племене Каафова от среды левитов:
19 Ekyo munaakibakoleranga, bwe batyo bwe banaasembereranga ebintu ebitukuvu ennyo balemenga okufa, naye basigalenga nga balamu. Alooni ne batabani be banaayingiranga mu watukuvu ne bagabira buli Mukokasi omulimu gwe n’ebyo by’aneetikkanga.
сие сотворите им, и живи будут и не умрут: приходящым им ко Святым Святых, Аарон и сынове его да внидут и да устроят их коегождо по ношению его,
20 Naye Abakokasi tebaayingirenga munda kutunula ku bintu ebitukuvu, wadde n’eddakiika emu, balemenga okufa.”
и да не внидут внезапу видети святая, и умрут.
21 Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
И рече Господь к Моисею, глаголя:
22 “Bala ne batabani ba Gerusoni ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe ziri.
возми сочисление сынов Гирсоних, и иже по домом отечеств их, по сонмом их и по племенем их,
23 Babale ng’otandikira ku basajja ab’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano, abayinza okuyingira mu buweereza obw’okukola emirimu egya Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
от двадесяти и пяти лет и вышше, даже до пятидесяти лет, соглядайте я, всяк входяй служити и творити дела в скинии свидения.
24 “Gino gye mirimu eginaakolebwanga ab’omu mpya z’Abagerusoni mu kuweereza era ne mu kwetikka emigugu:
Сия служба сонма Гирсонова, служити и воздвизати.
25 Baneetikkanga entimbe ez’omu Weema ya Mukama, y’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ebigibikkako, n’amaliba aga lukwata agabikkibwa kungulu kwayo, n’entimbe ez’omu mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu,
И да воздвигнет опоны скинии и скинию свидения, и покров ея и покров синий сущий сверх ея, и опону дверий скинии свидения,
26 n’entimbe ez’omu luggya olwebungulula Weema ya Mukama n’ekyoto, n’olutimbe lw’omulyango gw’oluggya, n’emiguwa, ne byonna ebinaakozesebwanga mu kuweereza okwo. Abagerusoni banaakolanga byonna ebineetaagibwanga okukola ku bintu ebyo.
и опоны двора, и завесу дверий двора, елика над скиниею свидения, и яже окрест олтаря, и прочая их, и вся сосуды служебныя, еликими служат в них, да сотворят.
27 Mu kuweereza kwonna okw’Abagerusoni, oba mu kwetikka oba mu kukola emirimu egy’engeri endala, Alooni ne batabani be, be banaabalagiranga. Abagerusoni ojjanga kubakwasa obuvunaanyizibwa bwonna ku ebyo bye baneetikkanga.
По слову Аарона и сынов его да будет вся служба сынов Гирсоновых по всем службам их и по всем делам их: и да соглядаеши их по именам, вся носимая ими.
28 Obwo bwe buweereza bwa batabani ba Gerusoni nga bukwata ku Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bye banaakolanga binaalabirirwanga Isamaali mutabani wa Alooni kabona.
Сия служба сонма сынов Гирсоновых в скинии свидения, и стражба их рукою Ифамара, сына Аароня жерца.
29 “Batabani ba Merali nabo babale ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe ziri.
Сынове Мерарины по сонмом их, по домом отечеств их, соглядайте их,
30 Babale ng’otandikira ku basajja ab’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano, abayinza okuyingira mu buweereza obw’okukola emirimu egya Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
от двадесяти и пяти лет и вышше, даже до пятидесяти лет, соглядайте их, всяк входяй служити дела скинии свидения.
31 Gino gye ginaabanga emirimu gyabwe egikwata ku Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu: okusitula omudaala gwa Weema ya Mukama, n’embaawo zaayo, n’empagi n’ebibya mwe zituula,
И сия хранения воздвизаемых ими, по всем делом их в скинии свидения: главицы скинии и вереи ея, и столпы ея и стояла ея, и покров и стояла их, и столпы их, и покров дверий скинии,
32 awamu n’empagi ezeebungulula oluggya n’ebibya byazo mwe zituula, n’enkondo z’eweema, n’emiguwa, ne byonna ebyetaagibwa okukozesebwa ku mirimu egyo. Buli musajja onoomutegeezanga amannya g’ebintu byennyini by’ajjanga okwetikka.
и столпы двора окрест и стояла их, и столпы завесы дверий двора и стояла их, и колки их и верви их, и вся сосуды их и вся служения их: по именам соглядайте их и вся сосуды стражбы воздвизаемых ими.
33 Egyo gye ginaabanga emirimu gy’omu mpya z’abaana ba Merali nga bali mu buweereza bwabwe obwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bakulemberwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.”
Сия служба сонма сынов Мерариных во всех делех их, в скинии свидения рукою Ифамара, сына Аароня жерца.
34 Awo Musa ne Alooni n’abakulembeze b’abantu ne babala batabani b’Abakokasi ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali.
И согляда Моисей и Аарон и князи Израилевы сыны Каафовы по сонмом их, по домом отечеств их,
35 Ne bababala nga batandikira ku basajja ab’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku myaka amakumi ataano, abajja okuweereza mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu,
от двадесяти и пяти лет и вышше, даже до пятидесяти лет, всяк входяй служити и творити дела в скинии свидения.
36 nga bababala ng’empya zaabwe bwe zaali; baawera enkumi bbiri mu lusanvu mu amakumi ataano.
И бысть соглядание их по сонмом их, две тысящы седмь сот пятьдесят.
37 Ogwo gwe gwali omuwendo gwonna ogw’abo abaali mu mpya z’Abakokasi abaaweerezanga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Musa ne Alooni baababala nga Mukama bwe yalagira Musa.
Сие сочтение сонма Каафова, всех служащих в скинии свидения, якоже согляда Моисей и Аарон повелением Господним, рукою Моисеовою.
38 Batabani ba Gerusoni nabo baabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali.
И соглядани быша сынове Гирсони по сонмом своим, по домом отечеств своих,
39 Abasajja bonna okuva ku b’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano abaaweerezanga mu mirimu egy’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu,
от двадесяти и пяти лет и вышше, даже до пятидесяти лет, всяк входяй служити и творити дела в скинии свидения.
40 baabalibwa ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali, ne bawera enkumi bbiri mu lukaaga mu amakumi asatu.
И бысть соглядание их по сонмом их, по домом отечеств их, две тысящы шесть сот тридесять.
41 Ogwo gwe gwali omuwendo gwonna ogwa batabani ba Gerusoni abaali mu mpya za Abagerusoni abaaweerezanga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Musa ne Alooni baababala nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
Сие соглядание сонма сынов Гирсоновых, всех служащих в скинии свидения, ихже соглядаша Моисей и Аарон по глаголу Господню, рукою Моисеовою.
42 Batabani ba Merali baabalibwa ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali.
Соглядани же быша сынове Мерарины по сонмом своим, по домом отечеств своих,
43 Abasajja bonna okuva ku b’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano abajja okuweereza mu mirimu gy’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu,
от двадесяти и пяти лет и вышше, даже до пятидесяти лет, всяк входяй служити на дела скинии свидения.
44 abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali baali bawera enkumi ssatu mu ebikumi bibiri.
И бысть сочтение их по племеном их, по сонмом их, по домом отечеств их, три тысящы и двести.
45 Ogwo gwe gwali omuwendo gwonna ogwabalibwa ogw’omu mpya za batabani ba Merali. Musa ne Alooni baababala nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
Сие сочисление сонма сынов Мерариных, ихже согляда Моисей и Аарон по глаголу Господню, рукою Моисеовою.
46 Bwe batyo Musa ne Alooni n’abakulembeze ba Isirayiri ne babala Abaleevi bonna mu mpya zaabwe ne mu nnyumba z’abakadde baabwe.
Вси согляданнии левиты, ихже согляда Моисей и Аарон и князи сынов Израилевых, по сонмом их и по домом отечеств их,
47 Abasajja bonna okuva ku b’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano abajja okuweereza mu mirimu egy’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu,
от двадесяти и пяти лет и вышше, даже до пятидесяти лет, всяк входяй на дело дел, и к делам воздвизаемым в скинии свидения.
48 abaabalibwa baawera kanaana mu ebikumi bitaano mu kinaana.
И быша согляданнии осмь тысящ пять сот осмьдесят.
49 Buli musajja yaweebwa omulimu ogw’okukola n’ategeezebwa ky’aneetikka, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. Bwe batyo bonna ne babalibwa nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
Повелением Господним соглядаше их Моисей, мужа по мужу над делы их, и яже воздвизаху сии, и соглядани суть, якоже повеле Господь Моисею.

< Okubala 4 >