< Balam 2 >

1 Awo Malayika wa Mukama n’ava e Bokimu n’ajja e Girugaali, n’agamba nti, “Nabaggya mu nsi y’e Misiri ne mbaleeta mu nsi gye nalayira okuwa bajjajjammwe; ne ŋŋamba nti, ‘Endagaano yange gye nalagaana nammwe sirigimenya emirembe gyonna;
The angel of the LORD came up from Gilgal to Bochim. He said, "I made you to go up out of Egypt, and have brought you to the land which I swore to your fathers; and I said, 'I will never break my covenant with you:
2 nammwe temukolanga ndagaano n’abantu ab’omu nsi eyo: museseggulanga ebyoto byabwe.’ Naye mmwe temugondedde kiragiro kyange: Kiki ekibakozesezza bwe mutyo?
and you shall make no covenant with the inhabitants of this land; you shall break down their altars.' But you have not listened to my voice: why have you done this?
3 Kaakano kyenva ŋŋamba nti, ‘Siibafubutule mu maaso gammwe, naye banaaba balabe bammwe ne bakatonda baabwe banaaba nkonge gye muli.’”
Therefore I also said, I will not drive them out from before you, but they will become your adversaries, and their gods shall be a snare to you."
4 Malayika wa Mukama bwe yamala okugamba Abayisirayiri bonna ebigambo bino ne balyoka batema emiranga.
It happened, when the angel of the LORD spoke these words to all the children of Israel, that the people lifted up their voice, and wept.
5 Ekifo ekyo ne bakituuma erinnya Bokimu; ne baweera eyo Ssaddaaka eri Mukama.
They called the name of that place Bochim: and they sacrificed there to the LORD.
6 Awo Yoswa bwe yamala okulagira Abayisirayiri baabuke, buli omu ku bo n’agenda okugabana ekitundu kye yasuubizibwa.
Now when Joshua had sent the people away, the children of Israel went every man to his inheritance to possess the land.
7 Abayisirayiri ne baweerezanga Mukama mu kiseera kyonna ekya Yoswa era ne mu kiseera kyonna eky’abakulembeze abaawangaala okusinga Yoswa era abaalaba ebikolwa eby’amaanyi Mukama bye yakolera Abayisirayiri.
The people served the LORD all the days of Joshua, and all the days of the elders who outlived Joshua, who had seen all the great work of the LORD that he had worked for Israel.
8 Awo omuweereza wa Mukama Yoswa mutabani wa Nuuni n’afa. We yafiira ng’aweza emyaka kikumi mu kkumi.
Joshua the son of Nun, the servant of the LORD, died, being one hundred ten years old.
9 Ne bamuziika e Timunasukeresi mu kitundu kye yagabana mu nsi ya Efulayimu ey’ensozi mu bukiika obwa kkono obw’olusozi Gaasi.
They buried him in the territory of his inheritance in Timnath Serah, in the hill country of Ephraim, on the north of the mountain of Gaash.
10 Awo ab’omulembe gwa Yoswa bonna bwe baafa ne baggwaawo ne waddawo omulembe gw’abataamanya Mukama yadde ebikolwa eby’amaanyi bye yakolera Abayisirayiri.
And all that generation were also gathered to their fathers. And there arose another generation after them who did not know the LORD, nor the works which he had done for Israel.
11 Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama era ne basinza Babayaali.
The children of Israel did that which was evil in the sight of the LORD, and served the Baals;
12 Ne banyiiza Mukama kubanga baagoberera era ne basinza bakatonda abalala abamawanga agaali gabeetoolodde ne beerabira Mukama Katonda wa bajjajjaabwe eyabaggya mu nsi ye Misiri.
and they forsook the LORD, the God of their fathers, who brought them out of the land of Egypt, and followed other gods, of the gods of the peoples who were around them, and bowed themselves down to them: and they provoked the LORD to anger.
13 Ne bava ku Mukama ne basinza ba Baali ne Asutoleesi.
They forsook the LORD, and served Baal and the Ashtaroth.
14 Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri: Kyeyava abawaayo mu mikono gy’abanyazi ne babanyanga era ne batasobola na kwerwanako okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ababeetoolodde kubanga Mukama yali amaze okubawaayo.
The anger of the LORD was kindled against Israel, and he delivered them into the hands of marauders who plundered them; and he sold them into the hands of their enemies all around, so that they could not any longer stand before their enemies.
15 Buli gye baatabaalanga ne bawangulwa kubanga Mukama yabavaako olw’ekibi kyabwe nga bwe yabalayirira; ne bawotookerera nnyo.
Wherever they went out, the hand of the LORD was against them for harm, as the LORD had spoken, and as the LORD had sworn to them: and they were in great distress.
16 Mukama n’abawa abakulembeze abaabalwaniriranga ne babawonya abanyazi.
The LORD raised up judges, who saved them out of the hand of those who plundered them.
17 Naye tebaawuliriza bakulembeze baabwe ne bagoberera era ne basinza bakatonda abalala. Tebaakola nga bajjajjaabwe abaagobereranga n’okuwuliranga ebiragiro bya Mukama.
Yet they did not listen to their judges; for they played the prostitute after other gods, and bowed themselves down to them: they turned aside quickly out of the way in which their fathers walked, obeying the commandments of the LORD; but they did not do so.
18 Buli Mukama lwe yabawanga omukulembeze yamuyambanga era n’anunulanga Abayisirayiri okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ekiseera eky’omukulembeze oyo. Olw’okusindanga n’okweraliikirizibwa abalabe baabwe abaabajooganga, Mukama kyeyava abakwatirwa ekisa.
When the LORD raised up judges for them, then the LORD was with the judge, and saved them out of the hand of their enemies all the days of the judge: for it grieved the LORD because of their groaning by reason of those who oppressed them and troubled them.
19 Naye omukulembeze olwafanga ne baddamu okweyisanga obubi okukira ne bajjajjaabwe, ne bagobereranga ne baweerezanga era n’okuvuunamiranga bakatonda abalala ne banywerera ku mpisa zaabwe embi olw’emputtu yaabwe.
But it happened, when the judge was dead, that they turned back, and dealt more corruptly than their fathers, in following other gods to serve them, and to bow down to them; they did not cease from their practices, and they did not turn aside from their stubborn ways.
20 Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri n’agamba nti, “Olw’okuba nga abantu bano bamenye endagaano gye nalagaana ne bajjajjaabwe, so tebagondedde ddoboozi lyange,
The anger of the LORD was kindled against Israel; and he said, "Because this nation has transgressed my covenant which I commanded their fathers, and have not obeyed my voice;
21 siifubutule mu maaso gaabwe wadde eggwanga n’erimu ku ago Yoswa ge yafa bawangudde.
I will no longer drive out before them any of the nations that Joshua left when he died;
22 Wabula nzija kukozesa amawanga gano okugezesa Abayisirayiri okulaba obanga banaafaayo okunywerera mu kkubo lya Mukama nga bajjajjaabwe bwe baakola, oba nedda.”
that by them I may test Israel, whether they will keep the way of the LORD to walk in it, as their fathers kept it, or not."
23 Bw’atyo Mukama n’aleka amawanga gali mu nsi eyo, n’atagawaayo mu mikono gya Yoswa yadde okugafubutula mu nsi eyo nga Yoswa yaakafa.
So the LORD left those nations, without driving them out hastily; neither delivered he them into the hand of Joshua.

< Balam 2 >