< Yobu 34 >

1 Awo Eriku ne yeeyongera okwogera nti,
ויען אליהוא ויאמר
2 “Muwulire ebigambo byange, mmwe abasajja ab’amagezi; mumpulirize mmwe abayivu.
שמעו חכמים מלי וידעים האזינו לי
3 Kubanga okutu kugezesa ebigambo ng’olulimi bwe lugezesa emmere.
כי-אזן מלין תבחן וחך יטעם לאכל
4 Leka twesalirewo ekituufu; muleke tulondewo ekisaanidde.
משפט נבחרה-לנו נדעה בינינו מה-טוב
5 “Yobu agamba nti, ‘Siriiko musango, naye Katonda agaanye okusala omusango gwange mu mazima.
כי-אמר איוב צדקתי ואל הסיר משפטי
6 Wadde nga ndi mutuufu, ntwalibwa okuba omulimba, wadde nga siriiko musango, akasaale ke kanteseeko ekiwundu ekitawonyezeka.’
על-משפטי אכזב אנוש חצי בלי-פשע
7 Musajja ki ali nga Yobu, anywa okunyoomebwa ng’anywa amazzi?
מי-גבר כאיוב ישתה-לעג כמים
8 Atambula n’abakozi b’ebibi, mukwano gw’abo abakola ebitali bya butuukirivu.
וארח לחברה עם-פעלי און וללכת עם-אנשי-רשע
9 Kubanga agambye nti, ‘Omuntu talina kyaganyulwa bw’agezaako okusanyusa Katonda.’
כי-אמר לא יסכן-גבר-- ברצתו עם-אלהים
10 Noolwekyo mumpulirize mmwe abasajja abalina okutegeera. Kikafuuwe Katonda okukola ebibi, wadde Ayinzabyonna okukola ebikyamu.
לכן אנשי לבב-- שמעו-לי חללה לאל מרשע ושדי מעול
11 Asasula omuntu olw’ekyo ky’aba akoze; n’amutuusaako ebyo ebimusaanidde olw’empisa ze.
כי פעל אדם ישלם-לו וכארח איש ימצאנו
12 Weewaawo amazima gali nti, Katonda tasobya. Ayinzabyonna tasaliriza musango.
אף-אמנם אל לא-ירשיע ושדי לא-יעות משפט
13 Obuyinza yabuggya eri ani okukulembera ensi? Ani eyamuwa olukusa okufuga ensi yonna?
מי-פקד עליו ארצה ומי שם תבל כלה
14 Singa asalawo n’atwala omwoyo gw’omuntu awamu n’omukka gwe,
אם-ישים אליו לבו רוחו ונשמתו אליו יאסף
15 abantu bonna bandizikiriridde wamu, era omuntu yandizzeeyo mu nfuufu.
יגוע כל-בשר יחד ואדם על-עפר ישוב
16 “Bw’oba olina okutegeera, wuliriza kino; wuliriza kye ŋŋamba.
ואם-בינה שמעה-זאת האזינה לקול מלי
17 Oyo atayagala bwenkanya asobola okufuga? Onoosalira abatuukirivu n’oyo ow’amaanyi omusango?
האף שונא משפט יחבוש ואם-צדיק כביר תרשיע
18 Oyo si ye agamba bakabaka nti, ‘Tolina mugaso,’ n’abakungu nti, ‘Oli mukozi wa bibi,’
האמר למלך בליעל-- רשע אל-נדיבים
19 atattira balangira ku liiso era nga tafa ku bagagga kusinga bw’afa ku baavu, kubanga egyo gye mirimu gy’emikono gye?
אשר לא-נשא פני שרים ולא נכר-שוע לפני-דל כי-מעשה ידיו כלם
20 Mu kaseera buseera baba bafiiridde wakati mu ttumbi. Abantu banyeenyezebwa ne baggyibwawo. Abo ab’amaanyi batwalibwa n’omukono ogutali gw’abantu.
רגע ימתו-- וחצות לילה יגעשו עם ויעברו ויסירו אביר לא ביד
21 “Amaaso ge gatunuulira amakubo g’abantu; atunuulira buli kigere kye batambula.
כי-עיניו על-דרכי-איש וכל-צעדיו יראה
22 Teri kifo kikwafu wadde ekisiikirize eky’amaanyi, ababi gye bayinza okwekweka.
אין-חשך ואין צלמות-- להסתר שם פעלי און
23 Katonda teyeetaaga kwongera kwekebejja bantu okulabika mu maaso ge okusalirwa omusango.
כי לא על-איש ישים עוד-- להלך אל-אל במשפט
24 Awatali kwebuuza ku muntu yenna, amenyaamenya ab’amaanyi n’ateekawo abalala mu kifo kyabwe.
ירע כבירים לא-חקר ויעמד אחרים תחתם
25 Olw’okubanga amanyi ebikolwa byabwe, abamalamu amaanyi ekiro ne babetentebwa.
לכן--יכיר מעבדיהם והפך לילה וידכאו
26 Ababonereza olw’ebikolwa byabwe ebibi abantu bonna nga balaba,
תחת-רשעים ספקם-- במקום ראים
27 kubanga baamuvaako ne balekeraawo okumugoberera ne bataddayo kufaayo n’akatono ku makubo ge gonna.
אשר על-כן סרו מאחריו וכל-דרכיו לא השכילו
28 Baleetera abaavu okukaaba, ne kumutuukako era n’awulira okukaaba kw’abanyigirizibwa.
להביא עליו צעקת-דל וצעקת עניים ישמע
29 Naye bw’asalawo obutabaako ky’ayogera, ani ayinza okumunenya? Bwakweka amaaso ge ani ayinza okumulaba? Eggwanga n’omuntu abalinako obuyinza bwe bumu;
והוא ישקט ומי ירשע-- ויסתר פנים ומי ישורנו ועל-גוי ועל-אדם יחד
30 aziyiza omuntu atatya Katonda okufuga, aleme okutega abantu emitego.
ממלך אדם חנף-- ממקשי עם
31 “Singa omuntu agamba Katonda nti, gunsinze, sikyaddayo kwonoona,
כי-אל-אל האמר נשאתי-- לא אחבל
32 kye sitegeera kinjigirize, bwe mba nga nsobezza sikyaddayo kukikola,
בלעדי אחזה אתה הרני אם-עול פעלתי לא אסיף
33 olwo Katonda akuddemu nga bw’oyagala, akuleke ng’ogaanye okwenenya? Kaakano ggwe olina okusalawo, so sinze; noolwekyo mbuulira ggwe ky’omanyi.
המעמך ישלמנה כי-מאסת--כי-אתה תבחר ולא-אני ומה-ידעת דבר
34 “Abantu abalina okutegeera mumbuulire, abasajja abagezi abawulira muntegeeze,
אנשי לבב יאמרו לי וגבר חכם שמע לי
35 ‘Yobu ayogeza butamanya ebigambo bye tebiriimu kwolesebwa.’
איוב לא-בדעת ידבר ודבריו לא בהשכיל
36 Singa Yobu agezesebbwa okutuusa ku nkomerero, olw’okwogera ng’abasajja abakozi b’ebibi!
אבי--יבחן איוב עד-נצח על-תשבת באנשי-און
37 Kubanga ku kibi kye ayongeddeko obujeemu, n’akuba mu ngalo wakati mu ffe, n’ayongera okwogera ng’awakanya Katonda.”
כי יסיף על-חטאתו פשע בינינו יספוק וירב אמריו לאל

< Yobu 34 >