< Yobu 12 >

1 Awo Yobu n’amuddamu nti,
ויען איוב ויאמר
2 “Awatali kubuusabuusa muli bantu. Bwe mulifa n’amagezi gammwe ne gafa.
אמנם כי אתם-עם ועמכם תמות חכמה
3 Naye nange nnina amagezi ntegeera, temunsinga. Ani atabimanyi ebyo byonna?
גם-לי לבב כמוכם--לא-נפל אנכי מכם ואת-מי-אין כמו-אלה
4 Nfuuse ekisekererwa eri mikwano gyange. Nze eyakoowolanga Katonda n’anziramu, ne nsekererwa obusekererwa, ate nga ndi mutukuvu ataliiko musango!
שחק לרעהו אהיה--קרא לאלוה ויענהו שחוק צדיק תמים
5 Abantu abali mu ddembe lyabwe batera okusekerera abali mu mitawaana, ng’ebizibu bwe biba ku abo ababa batuuse awazibu.
לפיד בוז לעשתות שאנן-- נכון למועדי רגל
6 Weema z’abanyazi tezibaako mutawaana, era abo abanyiiza Katonda babeera mu ddembe abo abeetikka katonda waabwe mu mikono gyabwe.
ישליו אהלים לשדדים ובטחות למרגיזי אל-- לאשר הביא אלוה בידו
7 Naye buuza ensolo zijja kukuyigiriza, oba ebinyonyi eby’omu bbanga binaakubuulira.
ואולם--שאל-נא בהמות ותרך ועוף השמים ויגד-לך
8 Oba yogera n’ettaka linaakusomesa oba ebyennyanja eby’omu nnyanja binaakunnyonnyola.
או שיח לארץ ותרך ויספרו לך דגי הים
9 Biki ku bino ebitamanyi nti, omukono gwa Mukama gwe gukoze ebyo?
מי לא-ידע בכל-אלה כי יד-יהוה עשתה זאת
10 Buli bulamu bwa kitonde buli mu mukono gwe, na buli mukka ogussibwa abantu bonna.
אשר בידו נפש כל-חי ורוח כל-בשר-איש
11 Okutu tekugezesa bigambo ng’olulimi bwe lukomba ku mmere?
הלא-אזן מלין תבחן וחך אכל יטעם-לו
12 Amagezi tegasangibwa mu bakaddiye? Okuwangaala tekuleeta kutegeera?
בישישים חכמה וארך ימים תבונה
13 Katonda y’alina amagezi n’amaanyi; y’ateesa ebigambo era y’alina okutegeera.
עמו חכמה וגבורה לו עצה ותבונה
14 Ky’amenya teri ayinza kuddamu kukizimba; ky’asiba mu kkomera tekiyinza kuteebwa.
הן יהרוס ולא יבנה יסגר על-איש ולא יפתח
15 Bw’aziyiza amazzi, ekyeeya kijja, bw’agata gazikiriza ensi.
הן יעצר במים ויבשו וישלחם ויהפכו ארץ
16 Ye, ye nannyini maanyi n’obuwanguzi, abalimba n’abalimbibwa bonna babe.
עמו עז ותושיה לו שגג ומשגה
17 Aggyawo abawi b’amagezi nga tebalina kantu, abalamuzi n’abafuula abasirusiru.
מוליך יועצים שולל ושפטים יהולל
18 Bakabaka abaggyako enjegere ze beesiba ebiwato byabwe, n’abasibamu obukete.
מוסר מלכים פתח ויאסר אזור במתניהם
19 Bakabona abatwala nga tebalina kantu, n’asuula abasajja abaanywera.
מוליך כהנים שולל ואתנים יסלף
20 Aziba emimwa egy’abawi b’amagezi abeesigwa, era n’aggyawo okwolesebwa kw’abakadde.
מסיר שפה לנאמנים וטעם זקנים יקח
21 Ayiwa ekivume ku bakungu, era n’aggya ebyokulwanyisa ku b’amaanyi.
שופך בוז על-נדיבים ומזיח אפיקים רפה
22 Abikkula ebintu eby’ebuziba eby’ekizikiza, n’aleeta n’ebisiikirize eby’amaanyi mu kitangaala.
מגלה עמקות מני-חשך ויצא לאור צלמות
23 Afuula amawanga okuba ag’amaanyi, era n’agazikiriza; agaziya amawanga n’agasaasaanya.
משגיא לגוים ויאבדם שטח לגוים וינחם
24 Abakulembeze baamawanga abaggyako okukola ebisaanidde; n’abasindika nga bagwirana mu ddungu eritaliimu kkubo.
מסיר--לב ראשי עם-הארץ ויתעם בתהו לא-דרך
25 Bawammantira mu kizikiza awatali kitangaala; abaleetera okutagala ng’abatamiivu.”
ימששו-חשך ולא-אור ויתעם כשכור

< Yobu 12 >