< Isaaya 50 >

1 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ebbaluwa egoba nnyammwe, kwe namugobera eri ludda wa? Oba nabatunda eri ani? Mwatundibwa lwa bikolwa byammwe ebibi; olw’obutali butuukirivu bwammwe nnyammwe kyeyava agobwa. 2 Lwaki bwe najja tewaali muntu n’omu? Bwe nakoowoola lwaki tewaali muntu n’omu annyanukula? Omukono gwange gwali mumpi nnyo okukununula? Mbuliddwa amaanyi agakununula? Laba nnyinza okwogera obwogezi ennyanja n’ekalira, emigga ne ngifuula eddungu, ebyennyanja byamu ne bifa ennyonta, ne bivunda olw’okubulwa amazzi. 3 Nyambaza eggulu, n’ekizikiza ne nkiwa ebibukutu okulibikka.” 4 Mukama Ayinzabyonna ampadde olulimi oluyigirizibbwa, mmanye ebigambo ebigumya abo abakooye. Anzukusa buli nkya, buli nkya anzukusa okuwulira by’anjigiriza. 5 Mukama Ayinzabyonna azibudde okutu kwange ne siba mujeemu. Sizzeeyo mabega. 6 N’awaayo omugongo gwange eri abankuba, n’amatama gange eri abo abankunyuulako ekirevu. Saakweka maaso gange eri abo abansekerera n’eri abo abanfujjira amalusu. 7 Kubanga Mukama Ayinzabyonna anyamba kyennaava siswazibwa. Noolwekyo kyenvudde n’egumya era mmanyi nti siriswazibwa. 8 Kubanga oyo ampolereza ali kumpi. Ani alinnumiriza omusango? Twolekagane obwenyi. Ani annumiriza? Ajje annumbe. 9 Mukama Ayinzabyonna y’anyamba. Ani alinsalira omusango? Bonna balikaddiwa bayulike ng’ekyambalo; ennyenje ziribalya. 10 Ani ku mmwe atya Mukama, agondera ekigambo ky’omuweereza we? Oyo atambulira mu kizikiza, atalina kitangaala yeesige erinnya lya Mukama era yeesigame ku Katonda we. 11 Naye mmwe mwenna abakoleeza omuliro, ne mwekoleereza ettaala z’omuliro, mutambulire mu kitangaala ky’omuliro gwammwe, ne mu kitangaala kye ttaala ze mukoleezeza. Naye kino kye munaafuna okuva mu mukono gwange; muligalamira mu nnaku.

< Isaaya 50 >