< Koseya 8 >

1 “Ffuwa ekkondeere. Empungu eri ku nnyumba ya Mukama kubanga abantu bamenye endagaano yange ne bajeemera amateeka gange.
Put the horn to your mouth! An eagle swoops down upon the house of the Lord because they have transgressed my covenant, trespassed against my law.
2 Isirayiri bankaabira nga boogera nti, ‘Katonda waffe, tukumanyi.’
To me they continually cry, ‘My God, we Israel, we know you!’
3 Naye Isirayiri baleseeyo ekirungi; omulabe kyaliva abayigganya.
But Israel has spurned that which is good, so let the foe pursue him.
4 Balonda bakabaka nga sikkirizza, balonda abakulembeze be sikakasizza. Beekolera ebifaananyi ebyole mu ffeeza yaabwe ne mu zaabu yaabwe ebiribaleetera okuzikirira.
They themselves have made kings but without my consent. They have made princes but without my knowledge. Out of their silver and gold, they have made idols to their destruction!
5 Kanyuga ebweru ekifaananyi ky’ennyana yo, ggwe Samaliya. Obusungu bwange bubabuubuukirako. Balituusa ddi okuba abatali batuukirivu?
Your calf idol, O Samaria, is distasteful. My anger is kindled against them. How long will they escape punishment?
6 Bava mu Isirayiri. Ennyana eyo omuntu eyakuguka mu by’okuweesa, ye yagikola so si Katonda. Era ennyana eyo eya Samaliya eribetentebwa.
Israel made the thing: a workman made it. It is not a god! Samaria’s calf will become mere splinters.
7 “Basiga empewo, ne bakungula embuyaga. Ekikolo olw’obutaba na mutwe, kyekiriva kirema okubala ensigo. Naye ne bwe kyandibaze, bannaggwanga bandigiridde.
They sow the wind and will reap the whirlwind. A shoot which has no stalk, yields no fruit If it should yield, strangers would devour it.
8 Isirayiri amaliddwawo; ali wakati mu mawanga ng’ekintu ekitagasa.
Israel is devoured. Already it lies discarded among the nations like a worthless pot.
9 Bambuse ne bagenda eri Obwasuli, ng’endogoyi ey’omu nsiko eri yokka. Efulayimu aguliridde abaganzi.
For by themselves they have gone up to Assyria like a wild donkey which wanders by itself. Ephraim pays for love
10 Newaakubadde nga beetunze eri amawanga, ndibakuŋŋaanya, era ndibawaayo eri okubonaabona nga banyigirizibwa kabaka ow’amaanyi.
but even if they sell themselves among the nations, I will round them up. Soon the kings and princes will writhe under the burden of tribute!
11 “Newaakubadde nga Efulayimu baazimba ebyoto bingi eby’ebiweebwayo olw’ekibi, bifuuse byoto bya kukolerako bibi.
For as many altars as Ephraim has erected, they are to him altars for sinning,
12 Nabawandiikira ebintu bingi mu mateeka gange, naye ne babifuula ekintu ekigwira.
were I to write for him ever so many instructions, they would be regarded as from a stranger.
13 Bawaayo ebiweebwayo gye ndi, ne balya ennyama yaabyo, Mukama tabasanyukira. Kaakano alijukira obutali butuukirivu bwabwe n’ababonereza olw’ebibi byabwe: Baliddayo e Misiri.
The people love sacrifice, and so they offer sacrifices, meat, and so they eat it, although the Lord is not pleased with them, so now he will remember their guilt, and punish their sins. Back to Egypt with them!
14 Isirayiri yeerabidde omutonzi we, n’azimba embiri, ne Yuda ne yeeyongera okuzimba ebibuga ebiriko bbugwe; naye ndisindika omuliro ku bibuga byabwe, ne gwokya ebigo byabwe.”
For Israel forgot his Maker and built palaces, and Judah multiplied fortified cities. But I will send fire upon her cities, and it will devour her strongholds.

< Koseya 8 >