< Koseya 12 >

1 Efulayimu alya mpewo; agoba empewo ez’ebuvanjuba olunaku lwonna, era bongera ku bulimba ne ku ttemu. Bakola endagaano n’Obwasuli, n’aweereza n’amafuta e Misiri.
אפרים רעה רוח ורדף קדים--כל היום כזב ושד ירבה וברית עם אשור יכרתו ושמן למצרים יובל
2 Mukama alina ensonga ne Yuda, era alibonereza Yakobo ng’engeri ze bwe ziri. Amusasule ng’ebikolwa bye bwe biri.
וריב ליהוה עם יהודה ולפקד על יעקב כדרכיו כמעלליו ישיב לו
3 Bwe yali mu lubuto lwa nnyina yakwata muganda we ku kisinziiro, ne mu bukulu bwe n’ameggana ne Katonda.
בבטן עקב את אחיו ובאונו שרה את אלהים
4 Yameggana ne malayika n’amuwangula, n’akaaba n’amwegayirira. Yamusisinkana e Beseri, n’ayogera naye.
וישר אל מלאך ויכל בכה ויתחנן לו בית אל ימצאנו ושם ידבר עמנו
5 Mukama Katonda ow’Eggye, Mukama ly’erinnya lye erijjukirwa.
ויהוה אלהי הצבאות--יהוה זכרו
6 Naye oteekwa okudda eri Katonda wo; kuuma okwagala n’obwenkanya, olindirirenga Katonda wo ennaku zonna.
ואתה באלהיך תשוב חסד ומשפט שמר וקוה אל אלהיך תמיד
7 Omusuubuzi akozesa ebipimo eby’obulimba, era anyumirwa okukumpanya.
כנען בידו מאזני מרמה--לעשק אהב
8 Efulayimu yeewaana ng’ayogera nti, “Ndi mugagga nnyo, nfunye ebintu bingi. Mu bugagga bwange bwonna, tebayinza kundabamu kibi wadde okwonoona kwonna.”
ויאמר אפרים--אך עשרתי מצאתי און לי כל יגיעי לא ימצאו לי עון אשר חטא
9 Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu Misiri; ndikuzzaayo n’obeera mu weema nate, nga mu nnaku ez’embaga ezaalagirwa.
ואנכי יהוה אלהיך מארץ מצרים עד אושיבך באהלים כימי מועד
10 Nayogera eri bannabbi, ne mbawa okwolesebwa kungi, ne mbagerera engero nga mpita mu bo.
ודברתי על הנביאים ואנכי חזון הרביתי וביד הנביאים אדמה
11 Gireyaadi butali butuukirivu era n’abantu baamu butaliimu. Mu Gireyaadi basalirayo ente ennume ne baziwaayo nga ssaddaaka, era ebyoto byabwe binaaba ng’entuumo ey’amayinja mu nnimiro ennime.
אם גלעד און אך שוא היו בגלגל שורים זבחו גם מזבחותם כגלים על תלמי שדי
12 Yakobo yaddukira mu nsi ya Alamu; Isirayiri yaweereza okufuna omukazi, era okumufuna yalundanga ndiga.
ויברח יעקב שדה ארם ויעבד ישראל באשה ובאשה שמר
13 Mukama yakozesa nnabbi okuggya Isirayiri mu Misiri, era n’akozesa nnabbi okumukuuma.
ובנביא העלה יהוה את ישראל ממצרים ובנביא נשמר
14 Naye Efulayimu amusoomoozezza era amusunguwazizza, Mukama we kyaliva amutekako omusango olw’omusaayi gwe yayiwa, n’amusasula olw’obunyoomi bwe.
הכעיס אפרים תמרורים ודמיו עליו יטוש וחרפתו ישיב לו אדניו

< Koseya 12 >