< Olubereberye 44 >

1 Awo Yusufu n’alagira omuweereza mu nnyumba ye nti, “Jjuza ensawo z’abasajja emmere nga bwe basobola okugyetikka, era oteeke ensimbi za buli omu mu nsawo ye.
Then he instructed the manager of his house, saying, "Fill the men's sacks with as much food as they can carry, and put each man's silver in the mouth of his sack.
2 Era oteeke ekikopo kyange, ekya ffeeza, mu kamwa k’ensawo ya muto waabwe, wamu n’ensimbi ze ez’okugula emmere.” N’akola nga Yusufu bwe yamugamba.
Put my cup, the silver cup, in the sack's mouth of the youngest, along with the silver for his grain." So he did according to the word that Joseph had told him.
3 Emmambya eba evaayo abasajja ne basiibulwa n’endogoyi zaabwe.
As soon as the morning dawned, the men were sent off along with their donkeys.
4 Bwe baali baakava mu kibuga Yusufu n’agamba omuweereza we nti, “Golokoka obagoberere bw’obatuukako obabuuze nti, ‘Lwaki musasudde ekibi olw’ebirungi? Lwaki mubbye ekikopo kyange ekya ffeeza?
When they were far from the city, Joseph said to his manager, "Up, go after the men, and when you overtake them, ask them, 'Why have you repaid evil for good?
5 Mu kino mukama wange si mwanywera, era si kyalaguza? Mu ekyo mukoze bubi.’”
Why have you stolen my silver cup? Isn't it from this that my lord drinks and by which he indeed uses for divination? You have done evil in doing this.'"
6 Bwe yabatuukako n’abategeeza ebigambo ebyo.
And he caught up with them and spoke these words to them.
7 Ne bamugamba nti, “Mukama waffe lwaki ayogedde ebigambo ebyo? Olowooza tuli bantu ba ngeri ki abayinza okukola ekintu ng’ekyo?
But they said to him, "Why does my lord speak such words as these? Far be it from your servants that they should do such a thing.
8 Laba, ensimbi ze twasanga ku mimwa gy’ensawo zaffe twazikuddiza okuva mu nsi ya Kanani, kale twandisobodde tutya okubba ffeeza oba zaabu okuva mu nnyumba ya mukama wo?
Look, the money that we found in the mouths of our sacks we brought back to you from the land of Canaan. How then could we steal silver or gold from your lord's house?
9 Oyo gw’onookisanga nakyo mu ffe abaddu bo, afe, era naffe tuliba baddu ba mukama wange.”
With whomever of your servants it is found, he must die, and we also will be my lord's slaves."
10 N’abaddamu nti, “Kale kibeere nga bwe mwogedde, oyo anaasangibwa nakyo abeere muddu wange, naye abalala mu mmwe tewaabe abaako ky’avunaanwa.”
And he said, "Very well, then, it will be as you say. The one with whom it is found will be my slave, but you will be blameless."
11 Amangwago buli omu nassa ensawo ye wansi n’agisumulula.
Then they hurried, and each man lowered his sack to the ground, and each man opened his sack.
12 N’alyoka abaaza ng’asookera ku asinga obukulu okutuuka ku asembayo obuto; ekikopo ne kisangibwa mu nsawo ya Benyamini.
And he searched, beginning with the oldest, and ending at the youngest. And the cup was found in Benjamin's sack.
13 Awo ne bayuza engoye zaabwe, buli omu n’atikka endogoyi ye, ne baddayo mu kibuga.
Then they tore their clothes, and each man loaded his donkey and returned to the city.
14 Yusufu yali akyali mu nju, Yuda ne baganda be bwe baatuuka gy’ali, ne bagwa mu maaso ge ne bamuvuunamira.
So Judah and his brothers came to Joseph's house, and he was still there, and they fell to the ground before him.
15 Yusufu n’abagamba nti, “Kiki kino kye mukoze? Temumanyi nti omuntu ali nga nze asobola okuvumbula kye mukoze?”
And Joseph said to them, "What is this deed that you have done? Didn't you know that a man like me can indeed practice divination?"
16 Yuda n’addamu nti, “Tunaddamu ki mukama wange? Tunaayogera ki? Oba tuneggyako tutya omusango? Katonda avumbudde obwonoonyi bw’abaddu bo, laba tuli baddu ba mukama wange, ffenna, ffe n’oyo asangiddwa n’ekikopo.”
Then Judah said, "What can we say to my lord? What can we speak? And how can we clear ourselves? God has uncovered the guilt of your servants. Look, we are my lord's slaves, both we, and the one in whose possession the cup was found."
17 Yusufu n’addamu nti, “Ekyo sijja kukikola, wabula oyo asangiddwa n’ekikopo, y’anaaba omuddu wange, naye mmwe mwambuke mirembe, mutuuke eri kitammwe.”
But he said, "Far be it from me that I should do so. The man in whose possession the cup was found, he will be my slave. But as for you, go up to your father in peace."
18 Awo Yuda n’alaga eri Yusufu n’agamba nti, “Ayi mukama wange nkusaba omuddu wo abeeko kyayogera gy’oli, n’obusungu bwo buleme kubuubuuka eri omuddu wo; kubanga oli nga Falaawo yennyini.
Then Judah approached him, and said, "My lord, please allow your servant to speak a word in the ears of my lord, and do not become angry with your servant, for you are like Pharaoh himself.
19 Mukama wange yabuuza abaweereza be nti, ‘Mulina kitammwe oba muganda wammwe?’
My lord asked his servants, saying, 'Do you have a father or a brother?'
20 Ne tuddamu mukama wange nti, ‘Tulina kitaffe, musajja mukulu, ne muganda waffe atusinga obuto, omwana gwe yazaala mu bukadde bwe, ne muganda wa muto waffe, yafa; muto waffe yekka y’aliwo, eyasigalawo yekka ku baana ba nnyina; era kitaawe amwagala nnyo.’
And we said to my lord, 'We have a father, an old man, and a child born when he was old, a little one, and his brother is dead, and he is his mother's only child, and his father loves him.'
21 “N’olyoka ogamba abaddu bo nti, ‘Mumundeetere, mmulabeko.’
Then you said to your servants, 'Bring him down to me, so that I can see him myself.'
22 Twategeeza mukama wange nti, ‘Omulenzi tayinza kuva ku kitaawe, kubanga bw’amuvaako, kitaawe alifa bufi!’
And we said to my lord, 'The boy can't leave his father: for if he should leave his father, his father would die.'
23 N’oddamu abaddu bo nti, ‘Muto wammwe bw’ataliserengeta nammwe, temugenda kulaba maaso gange.’
But you said to your servants, 'Unless your youngest brother comes down with you, you will not see my face again.'
24 Bwe twaddayo eri omuddu wo kitaffe, twamutegeeza ebigambo ebyo, mukama wange.
And it happened when we came up to your servant my father, we told him the words of my lord.
25 Kale kitaffe bwe yagamba nti, ‘Muddeeyo mutugulire ku mmere,’
But our father said, 'Go again, buy us a little food.'
26 ne tumuddamu nti, ‘Tetusobola kuserengeta. Muto waffe bw’atagenda naffe tetujja kugenda kubanga tetusobola kulaba maaso ga musajja oli nga muto waffe tali naffe.’
We said, 'We can't go down. If our youngest brother is with us, then we will go down, for we cannot see the man's face unless our youngest brother is with us.'
27 “Awo omuddu wo, kitaffe n’atugamba nti, ‘Mumanyi, mukazi wange yanzaalira abaana abalenzi babiri;
Then your servant my father said to us, 'You know that my wife bore me two sons.
28 omu yambulako, ne njogera nti mazima yataagulwataagulwa; era siddangayo kumulaba.
And the one disappeared from me, and I said, "Surely he is torn in pieces." And I haven't seen him since.
29 Bwe muntwalako n’ono, akabi ne kamutuukako, muliserengesa envi zange emagombe nga nkungubaga.’ (Sheol h7585)
If you take this one also from me, and harm happens to him, you will bring down my gray hairs with sorrow to Sheol. (Sheol h7585)
30 “Kale kaakano, bwe nzirayo eri omuddu wo kitange ng’omulenzi tali naffe, obulamu bwe nga bwe bunyweredde ku bw’omulenzi,
So now, when I come to your servant my father and the boy is not with us, since his life is bound up in the boy's life,
31 bw’anaalaba ng’omulenzi tali naffe, ajja kufa, n’abaddu bo baliserengesa envi z’omuddu wo kitaffe emagombe ng’akyakungubagira omwana we. (Sheol h7585)
it will happen, when he sees that the boy is not with us, that he will die. Your servants will bring down the gray hairs of your servant our father with sorrow to Sheol. (Sheol h7585)
32 Kubanga omuweereza wo yeeyimirira omulenzi eri kitange; nga ŋŋamba nti, ‘Bwe sirimuzza gy’oli ndiba n’obuvunaanyizibwa n’okunenyezebwa ennaku zonna ez’obulamu bwange.’
For your servant became collateral for the boy to my father, saying, 'If I do not bring him to you, then I will bear the blame to my father forever.'
33 “Kale kaakano nkwegayirira, omuddu wo nsigale ng’omuddu wa mukama wange, mu kifo ky’omulenzi; omulenzi omuleke addeyo ne baganda be.
So now, please let your servant remain instead of the boy, a slave to my lord, and let the boy go up with his brothers.
34 Kale n’addayo ntya eri kitange ng’omulenzi tali nange? Ntya okulaba akabi akayinza okutuuka ku kitange.”
For how will I go up to my father if the boy isn't with me? I could not bear to see the misery that would come on my father."

< Olubereberye 44 >