< Ezeekyeri 20 >

1 Awo mu mwaka ogw’omusanvu, mu mwezi ogwokutaano ku lunaku olw’ekkumi, abamu ku bakadde ba Isirayiri ne bajja okwebuuza ku Mukama Katonda, ne batuula wansi mu maaso gange.
And it came to pass in the seventh year, in the fifth month, the tenth day of the month: there came men of the ancients of Israel to inquire of the Lord, and they sat before me.
2 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, mbategeeze nti,
And the word of the Lord came to me, saying:
3 “Omwana w’omuntu, yogera eri abakadde ba Isirayiri obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: Muzze kunneebuuzaako? Mazima nga bwe ndi omulamu temujja kunneebuuzaako, bw’ayogera Mukama Katonda.’
Son of man, speak to the ancients of Israel, and say to them: Thus saith the Lord God: Are you come to inquire of me? As I live, I will not answer you, saith the Lord God.
4 “Olibasalira omusango? Olibasalira omusango ggwe omwana w’omuntu? Kale bategeeze ebikolwa eby’ekivve bajjajjaabwe bye baakola,
If thou judgest them, if thou judgest, son of man, declare to them the abominations of their fathers.
5 era bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: ku lunaku lwe, neroboza Isirayiri, nalayirira bazzukulu b’ennyumba ya Yakobo, ne mbeeyabiza mu Misiri nga njogera nti, “Nze Mukama Katonda wammwe.”
And say to them: Thus saith the Lord God: In the day when I chose Israel, and lifted up my hand for the race of the house of Jacob: and appeared to them in the land of Egypt, and lifted up my hand for them, saying: I am the Lord your God:
6 Ku lunaku olwo nabalayirira nti ndibaggya mu nsi y’e Misiri ne mbatwala mu nsi gye nabanoonyeza, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ensi esinga mu nsi zonna obulungi.
In that day I lifted up my hand for them, to bring them out of the land of Egypt, into a land which I had provided for them, flowing with milk and honey, which excelleth amongst all lands.
7 Ne mbagamba nti, “Buli muntu aggyewo ebintu eby’omuzizo mu maaso ge, muleme okweyonoonyesa ne bakatonda abalala ab’e Misiri, kubanga nze Mukama Katonda wammwe.”
And I said to them: Let every man cast away the scandals of his eyes, and defile not yourselves with the idols of Egypt: I am the Lord your God.
8 “‘Naye ne banjeemera, ne bagaana okumpuliriza; tebaggyawo bintu eby’omuzizo mu maaso gaabwe, newaakubadde okuleka bakatonda abalala ab’e Misiri. Kyenava njogera nti ndibabonerereza mu Misiri.
But they provoked me, and would not hearken to me: they did not every man cast away the abominations of his eyes, neither did they forsake the idols of Egypt: and I said I would pour out my indignation upon them, and accomplish my wrath against them in the midst of the land of Egypt.
9 Naye olw’obutavumisa linnya lyange mu maaso g’amawanga mwe baabeeranga, ne mu maaso gaabo be neeyabiza eri Abayisirayiri nga mbaggya mu Misiri, nakola bwe nti olw’erinnya lyange.
But I did otherwise for my name’s sake, that it might not be violated before the nations, in the midst of whom they were, and among whom I made myself known to them, to bring them out of the land of Egypt.
10 Kyenava mbaggya mu Misiri ne mbatwala mu ddungu.
Therefore I brought them out from the land of Egypt, and brought them into the desert.
11 Nabawa ebiragiro byange ne mbamanyisa n’amateeka gange, omuntu yenna bw’abigoberera abeere mulamu.
And I gave them my statutes, and I shewed them my judgments, which if a man do, he shall live in them.
12 Ne mbawa ne Ssabbiiti zange ng’akabonero wakati wange nabo, bategeere nga nze Mukama abatukuza.
Moreover I gave them also my sabbaths, to be a sign between me and them: and that they might know that I am the Lord that sanctify them.
13 “‘Naye era abantu ba Isirayiri ne banjeemera mu ddungu, ne batagoberera biragiro byange, ne banyooma amateeka gange, ebyandiyinzizza okulokola omuntu abigondera, ne Ssabbiiti zange ne batazitukuza. Kyenava njogera nti ndibasunguwalira ne mbazikiririza mu ddungu.
But the house of Israel provoked me in the desert: they walked not in my statutes, and they cast away my judgments, which if a man do he shall live in them: and they grievously violated my sabbaths. I said therefore that I would pour out my indignation upon them in the desert, and would consume them.
14 Naye olw’erinnya lyange nakola ekyo obutavumisibwa obuteeswaza mu maaso g’amawanga mwe nabaggya.
But I spared them for the sake of my name, lest it should be profaned before the nations, from which I brought them out, in their sight.
15 Era ne mbalayirira mu ddungu nga bwe siribaleeta mu nsi gye nnali mbawadde, ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ensi esinga endala zonna obulungi,
So I lifted up my hand over them in the desert, not to bring them into the land which I had given them flowing with milk and honey, the best of all lands.
16 kubanga baajeemera amateeka gange ne batagoberera biragiro byange, ne batatukuza Ssabbiiti zange, kubanga emitima gyabwe gyasinzanga bakatonda abalala.
Because they cast off my judgments, and walked not in my statutes, and violated my sabbaths: for their heart went after idols.
17 Naye wakati mu ebyo byonna ne mbasaasira ne sibazikiriza, newaakubadde okubasaanyaawo mu ddungu.
Yet my eye spared them, so that I destroyed them not: neither did I consume them in the desert.
18 Ne ŋŋamba abaana baabwe mu ddungu nti, “Temugoberera biragiro bya bakitammwe, newaakubadde okukwata amateeka gaabwe, so temweyonoonyesanga ne bakatonda baabwe abalala.
And I said to their children in the wilderness: Walk not in the statutes of your fathers, and observe not their judgments, nor be ye defiled with their idols:
19 Nze Mukama Katonda wammwe, mugoberere ebiragiro byange era mwegendereze okukwata amateeka gange,
I am the Lord your God: walk ye in my statutes, and observe my judgments, and do them.
20 n’okutukuza Ssabbiiti zange, era ebyo binaabanga kabonero wakati wange nammwe, olwo mulimanya nga nze Mukama Katonda wammwe.”
And sanctify my sabbaths, that they may be a sign between me and you: and that you may know that I am the Lord your God.
21 “‘Naye abaana banjeemera; tebaagoberera biragiro byange newaakubadde okukwata amateeka gange, ebyandiyinzizza okulokola omuntu abigondera, ne Ssabbiiti zange ne batazitukuza. Kyenava njogera nti ndibasunguwalira mu ddungu.
But their children provoked me, they walked not in my commandments, nor observed my judgments to do them: which if a man do, he shell live in them: and they violated my sabbaths: and I threatened to pour out my indignation upon them, and to accomplish my wrath in them in the desert.
22 Naye neekuuma olw’erinnya lyange obutaliswaza mu maaso g’amawanga mwe nnali mbaggye.
But I turned away my hand, and wrought for my name’s sake, that it might not be violated before the nations, out of which I brought them forth in their sight.
23 Era ne mbalayirira mu ddungu nti ndibasaasaanya mu mawanga, ne mbabunya mu nsi,
Again I lifted up my hand upon them in the wilderness, to disperse them among the nations, and scatter them through the countries:
24 kubanga tebaagoberera mateeka gange era ne bajeemera n’ebiragiro byange, era ne batatukuza Ssabbiiti zange, naye amaaso gaabwe ne gayaayaanira bakatonda abalala aba bajjajjaabwe.
Because they had not done my judgments, and had cast off my statutes, and had violated my sabbaths, and their eyes had been after the idols of their fathers.
25 Kyennava mbawaayo eri ebiragiro ebitali birungi n’amateeka ebitayinza kubabeezesaawo mu bulamu;
Therefore I also gave them statutes that were not good, and judgments, in which they shall not live.
26 ne mbaswaza nga nkozesa ebirabo byabwe, bwe baleeta omuggulanda waabwe ng’ekiweebwayo, balyoke bajjule entiisa, era bamanye nga nze Mukama.’
And I polluted them in their own gifts, when they offered all that opened the womb, for their offences: and they shall know that I am the Lord.
27 “Kale omwana w’omuntu, yogera eri abantu ba Isirayiri obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: mu kino nakyo bajjajjammwe mwe banvumira ne banzivoola.
Wherefore speak to the house of Israel, O son of man, and say to them: Thus saith the Lord God: Moreover in this also your fathers blasphemed me, when they had despised and contemned me;
28 Bwe nabaleeta mu nsi gye nabalayirira ne balaba buli lusozi oluwanvu na buli muti ogwamera yo, ne baweerangayo ssaddaaka zaabwe, ne baweerangayo ebiweebwayo ebyannyiiza, ne banyookerezanga obubaane bwabwe, era ne baweerangayo n’ebiweebwayo ebyokunywa.
And I had brought them into the land, for which I lifted up my hand to give it them: they saw every high hill, and every shady tree, and there they sacrificed their victims: and there they presented the provocation of their offerings, and there they set their sweet odours, and poured forth their libations.
29 Kyenava mbabuuza nti, Ekifo ekyo ekigulumivu gye mugenda kya mugaso ki?’”
And I said to them: What meaneth the high place to which you go? and the name thereof was called High-place even to this day.
30 “Noolwekyo gamba ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mulyeyonoona nga bajjajjammwe bwe baakola ne mugoberera ebintu eby’ekivve?
Wherefore say to the house of Israel: Thus saith the Lord God: Verily, you are defiled in the way of your fathers, and you commit fornication with their abominations.
31 Bwe muwaayo ebirabo, ne muwaayo n’abaana bammwe mu muliro ng’ebiweebwayo, mweyongera okweyonoona ne bakatonda bammwe abalala bonna. Nnyinza okubakkiriza okunneebuuzaako mmwe ennyumba ya Isirayiri? Nga bwe ndi omulamu temujja kunneebuuzaako, bw’ayogera Mukama Katonda.
And you defile yourselves with all your: idols unto this day, in the offering of your gifts, when you make your children pass through the fire: and shall I answer you, O house of Israel? As I live, saith the Lord God, I will not answer you.
32 “‘Mwogera nti, “Twagala okuba ng’amawanga amalala, ng’abantu ab’ensi endala, abaweereza embaawo n’amayinja,” naye ebyo bye mulowooza tebiribaawo n’akatono.
Neither shall the thought of your mind come to pass, by which you say: We will be as the Gentiles, and as the families of the earth, to worship stocks and stones.
33 Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, ndibafuga n’omukono ogw’amaanyi, era ndigolola omukono gwange n’obusungu bungi.
As I live, saith the Lord God, I will reign over you with a strong hand, and with a stretched out arm, and with fury poured out.
34 Ndibaggya mu mawanga n’omukono ogw’amaanyi omugolole, nga nzijudde obusungu, ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi gye mwasaasaanira.
And I will bring you out from the people, and I will gather you out of the countries, in which you are scattered, I will reign over you with a strong hand, and with a stretched out arm, and with fury poured out.
35 Ndibaleeta mu ddungu ery’amawanga, era eyo gye ndibasalira omusango nga tutunuuliganye amaaso n’amaaso.
And I will bring you into the wilderness of people, and there will I plead with you face to face.
36 Nga bwe nasalira bajjajjammwe omusango mu ddungu ery’ensi ya Misiri, bwe ntyo bwe ndibasalira omusango, bw’ayogera Mukama Katonda.
As I pleaded against your fathers in the desert of the land of Egypt; even so will I judge you, saith the Lord God.
37 Ndibeetegereza nga muyita wansi w’omuggo gwange ne mbassaako envumbo y’endagaano yange.
And I will make you subject to my sceptre, and will bring you into the bands of the covenant.
38 Ndibamaliramu ddala mu mmwe abajeemu era abansobya. Era newaakubadde nga ndibaggya mu nsi gye balimu, tebaliyingira mu nsi ya Isirayiri, mulyoke mumanye nga nze Mukama.
And I will pick out from among you the transgressors, and the wicked, and will bring them out of the land where they sojourn, and they shall not enter into the land of Israel: and you shall know that I am the Lord.
39 “‘Ate ggwe ennyumba ya Isirayiri, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mugende muweereze bakatonda bammwe abalala, mugende, naye oluvannyuma mulimpuliriza, ne mulekayo n’okuvumisa erinnya lyange ettukuvu n’ebirabo byammwe era ne bakatonda bammwe abalala.
And as for you, O house of Israel: thus saith the Lord God: Walk ye every one after your idols, and serve them. But if in this also you hear me not, but defile my holy name any more with your gifts, and with your idols;
40 Ku lusozi lwange olutukuvu, olusozi oluwanvu olwa Isirayiri mu nsi eyo, ennyumba ya Isirayiri yonna balimpeereza, nange ndibasembeza. Era eyo gye ndibasabira ebiweebwayo byammwe, n’ebibala ebibereberye eby’ebirabo byammwe, wamu ne ssaddaaka zammwe ezitukuzibbwa.
In my holy mountain, in the high mountain of Israel, saith the Lord God, there shall all the house of Israel serve me; all of them I say, in the land in which they shall please me, and there will I require your firstfruits, and the chief of your tithes with all your sanctifications.
41 Bwe ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi gye mwasaasaanira, ndibakkiriza nga bwenzikiriza akaloosa ak’evvumbe eddungi, era ndibalaga obutukuvu bwange mu maaso g’amawanga.
I will accept of you for an odour of sweetness, when I shall have brought you out from the people, and shall have gathered you out of the lands into which you are scattered, and I will be sanctified in you in the sight of the nations.
42 Mulimanya nga nze Mukama, bwe ndibaleeta mu nsi ya Isirayiri ensi gye nalayirira bajjajjammwe n’omukono ogugoloddwa.
And you shall know that I am the Lord, when I shall have brought you into the land of Israel, into the land for which I lifted up my hand to give it to your fathers.
43 Era eyo gye mulijjuukirira enneeyisa yammwe n’ebikolwa byammwe byonna bye mweyonoonyesa, era mulyetukuza olw’ebibi byonna bye mwakola.
And there you shall remember your ways, and all your wicked doings with which you have been defiled; and you shall be displeased with yourselves in your own sight, for all your wicked deeds which you committed.
44 Mulimanya nga nze Mukama, bwe ndibakola ng’erinnya lyange bwe liri so si ng’ebibi byammwe bwe biri, n’ebikolwa byammwe eby’obukumpanya bwe biri, mmwe ennyumba ya Isirayiri, bw’ayogera Mukama Katonda.’”
And you shall know that I am the Lord, when I shall have done well by you for my own name’s sake, and not according to your evil ways, nor according to your wicked deeds, O house of Israel, saith the Lord God.
45 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nti,
And the word of the Lord came to me, saying:
46 “Omwana w’omuntu, simba amaaso go mu bukiikaddyo, obabuulire era owe obunnabbi gye bali n’eri ekibira eky’ensi ey’Obukiikaddyo.
Son of man, set thy face against the way of the south, and drop towards the south, and prophesy against the forest of the south field.
47 Yogera eri ekibira eky’omu bukiikaddyo nti, ‘Wulira ekigambo kya Mukama. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nnaatera okukukumako omuliro, era gulizikiriza emiti gyonna, omubisi n’omukalu. Ennimi ez’omuliro tezirizikizibwa, na buli ludda okuva mu bukiikaddyo okutuuka mu bukiikakkono bulyokebwa.
And any to the south forest: Hear the word of the Lord: Thus saith the Lord God: Behold I will kindle a fire in thee, and will burn in thee every green tree, and every dry tree: the dame of the fire shall not be quenched: and every face shall be burned in it, from the south even to the north.
48 Buli muntu aliraba nga nze Mukama abyokezza, era tegulizikizibwa.’”
And all flesh shall see, that I the Lord have kindled it, and it shall not be quenched.
49 Awo ne njogera nti, “Ayi Mukama Katonda, banjogerako nti, ‘Oyo tanyumya ngero bugero.’”
And I said: Ah, ah, ah, O Lord God: they say of me: Doth not this man speak by parables?

< Ezeekyeri 20 >