< 1 Timoseewo 4 >

1 Mwoyo Mutukuvu ayogera lwatu nti mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bagoberera emyoyo egiwubisa, n’enjigiriza ya baddayimooni,
Τὸ δὲ πνεῦμα ῥητῶς λέγει ὅτι ἐν ὑστέροις καιροῖς ἀποστήσονταί τινες τῆς πίστεως, προσέχοντες πνεύμασιν πλάνοις καὶ διδασκαλίαις δαιμονίων,
2 nga bawubisibwa obukuusa bw’abantu abalimba, ab’emitima egiri ng’egyasiriizibwa ekyuma ekyengeredde.
ἐν ὑποκρίσει ψευδολόγων, κεκαυστηριασμένων τὴν ἰδίαν συνείδησιν,
3 Abo be baziyiza abantu okufumbiriganwa, era abagaana okulya ebyokulya ebimu Katonda bye yawa abakkiriza era abamanyi amazima, okubiryanga nga bamwebaza.
κωλυόντων γαμεῖν, ἀπέχεσθαι βρωμάτων ἃ ὁ θεὸς ἔκτισεν εἰς μετάλημψιν μετὰ εὐχαριστίας τοῖς πιστοῖς καὶ ἐπεγνωκόσι τὴν ἀλήθειαν.
4 Kubanga buli kitonde kya Katonda kyonna kirungi, era tekizira, kasita kiriirwa mu kwebaza,
ὅτι πᾶν κτίσμα θεοῦ καλόν, καὶ οὐδὲν ἀπόβλητον μετὰ εὐχαριστίας λαμβανόμενον,
5 kubanga kitukuzibwa na kigambo kya Katonda, n’okukisabira.
ἁγιάζεται γὰρ διὰ λόγου θεοῦ καὶ ἐντεύξεως.
6 Bw’onootuusa ebigambo ebyo ku booluganda, onooba muweereza mulungi owa Kristo Yesu, ng’oliisibwa n’ebigambo eby’okukkiriza, n’enjigiriza ennungi gye wagoberera.
Ταῦτα ὑποτιθέμενος τοῖς ἀδελφοῖς καλὸς ἔσῃ διάκονος Χριστοῦ Ἰησοῦ, ἐντρεφόμενος τοῖς λόγοις τῆς πίστεως καὶ τῆς καλῆς διδασκαλίας ᾗ παρηκολούθηκας·
7 Naye enfumo ezitaliimu, ezitasaana kunyumizibwa, zeewalenga. Weemanyiizenga okutya Katonda.
τοὺς δὲ βεβήλους καὶ γραώδεις μύθους παραιτοῦ. γύμναζε δὲ σεαυτὸν πρὸς εὐσέβειαν·
8 Kubanga okumanyiiza omubiri kigasa katono, naye okutya Katonda kugasa mu byonna, kubanga kuleeta essuubi ery’omu bulamu buno era n’ery’obwo obugenda okujja.
ἡ γὰρ σωματικὴ γυμνασία πρὸς ὀλίγον ἐστὶν ὠφέλιμος, ἡ δὲ εὐσέβεια πρὸς πάντα ὠφέλιμός ἐστιν, ἐπαγγελίαν ἔχουσα ζωῆς τῆς νῦν καὶ τῆς μελλούσης.
9 Ekigambo ekyo kyesigwa era kisaana okukkiririza ddala.
πιστὸς ὁ λόγος καὶ πάσης ἀποδοχῆς ἄξιος·
10 Era kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga essuubi lyaffe liri mu Katonda omulamu, Omulokozi w’abantu bonna, na ddala abakkiriza.
εἰς τοῦτο γὰρ κοπιῶμεν καὶ ἀγωνιζόμεθα, ὅτι ἠλπίκαμεν ἐπὶ θεῷ ζῶντι, ὅς ἐστιν σωτὴρ πάντων ἀνθρώπων, μάλιστα πιστῶν.
11 Lagiranga ebyo, era obiyigirizenga.
Παράγγελλε ταῦτα καὶ δίδασκε.
12 Waleme kubaawo muntu n’omu akunyooma olw’obuvubuka bwo, naye mu kwogera ne mu bikolwa, ne mu kwagala, ne mu kukkiriza, ne mu bulongoofu beeranga kyakulabirako eri abakkiriza.
μηδείς σου τῆς νεότητος καταφρονείτω, ἀλλὰ τύπος γίνου τῶν πιστῶν ἐν λόγῳ, ἐν ἀναστροφῇ, ἐν ἀγάπῃ, ἐν πίστει, ἐν ἁγνείᾳ.
13 Nyiikiranga okusomera abantu Ebyawandiikibwa mu lwatu n’okubuuliriranga, n’okuyigiriza okutuusa lwe ndijja.
ἕως ἔρχομαι πρόσεχε τῇ ἀναγνώσει, τῇ παρακλήσει, τῇ διδασκαλίᾳ.
14 Togayaaliriranga ekirabo ekiri mu ggwe, kye waweebwa mu bunnabbi abakadde bwe baakussaako emikono gyabwe.
μὴ ἀμέλει τοῦ ἐν σοὶ χαρίσματος, ὃ ἐδόθη σοι διὰ προφητείας μετὰ ἐπιθέσεως τῶν χειρῶν τοῦ πρεσβυτερίου.
15 Ebyo biteeke mu nkola, era bissengako omwoyo, bonna balyoke balabe bwe weeyongera okukola obulungi.
ταῦτα μελέτα, ἐν τούτοις ἴσθι, ἵνα σου ἡ προκοπὴ φανερὰ ᾖ πᾶσιν.
16 Weekuumenga mu mpisa zo, ne mu by’oyigiriza era obinywerereko. Bw’onookola bw’otyo olyerokola ggwe wennyini, era n’abo abakuwulira.
ἔπεχε σεαυτῷ καὶ τῇ διδασκαλίᾳ· ἐπίμενε αὐτοῖς· τοῦτο γὰρ ποιῶν καὶ σεαυτὸν σώσεις καὶ τοὺς ἀκούοντάς σου.

< 1 Timoseewo 4 >