< 1 Ebyomumirembe 8 >
1 Benyamini n’azaala Bera, era oyo ye yali omubereberye, Asuberi nga ye wookubiri, Akala nga ye wookusatu;
2 Noka nga wakuna, ne Lafa nga ye wookutaano.
3 Batabani ba Bera baali Addali, ne Gera, ne Abikudi,
4 ne Abisuwa, ne Naamani, ne Akowa
5 ne Gera, ne Sefufani ne Kulamu.
6 Bazzukulu ba Ekudi mutabani wa Gera baali bakulu b’enda z’abo abaabeeranga mu Geba nga baabatwala e Manakasi nga basibe era be bano:
7 Naamani, ne Akiya, ne Gera eyabakulembera nga bagenda mu buwaŋŋanguse, ate nga ye kitaawe wa Uzza ne Akikudi.
8 Sakalayimu n’azaala abaana abalala mu nsi y’e Mowaabu, ng’amaze okugoba abakyala be ababiri, Kusimu ne Baala.
9 Kodesi yamuzaalira Yokabu, ne Zibiya, ne Mesa, ne Malukamu,
10 ne Yewuzi, ne Sakiya, ne Miruma, era bano be baali abakulu b’enda za bajjajjaabwe.
11 Kusimu yamuzaalira Abitubu ne Erupaali.
12 Batabani ba Erupaali baali Eberi, ne Misamu, ne Semedi, eyazimba Ono ne Loodi n’ebibuga ebibyetoolodde,
13 Beriya, ne Sema abakulu b’enda z’abo abaabeeranga e Ayalooni, era be baagoba abaabeeranga mu Gaasi.
14 Abaana abalala baali Akiyo, ne Sasaki, ne Yeremosi,
15 ne Zebadiya, ne Aladi, ne Ederi
16 ne Mikayiri, ne Isupa, ne Yoka,
17 ne Zebadiya, ne Mesullamu, ne Kizuki, ne Keberi,
18 ne Isumerayi, ne Izuliya, ne Yobabu.
19 Batabani ba Simeeyi baali Yakimu, ne Zikuli, ne Zabudi,
20 ne Eryenayi, ne Ziresayi, ne Eryeri,
21 ne Adaaya, ne Beraya, ne Simulasi.
22 Batabani ba Sasaki baali Isupani, ne Eberi, ne Eryeri,
23 ne Abudoni, ne Zikuli, ne Kanani,
24 ne Kananiya, ne Eramu, ne Anusosiya,
25 Sasaki ne Ifudeya ne Penueri.
26 Batabani ba Yerokamu baali Samuserayi, ne Sekaliya, ne Asaliya,
27 ne Yaalesiya, ne Eriya, ne Zikuli.
28 Bano wammanga be baali abakulu b’enda, abaami, nga bwe bayogerwako mu nnyiriri zaabwe, era baabeeranga mu Yerusaalemi.
29 Yeyeri omukulembeze we Gibyoni yabeeranga Gibyoni, ne mukyala we ye yali Maaka.
30 Mutabani we omuggulanda yali Abudoni, ne Zuuli n’amuddirira, ne Kiisi n’amuddako, ne Baali, ne Nadabu,
31 ne Gedoli, ne Akiyo, ne Zekeeri
32 ne Mikuloosi n’azaala Simeeyi. Nabo baabeeranga kumpi ne baganda baabwe mu Yerusaalemi.
33 Neeri n’azaala Kiisi, ne Kiisi n’azaala Sawulo, ne Sawulo n’azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadaabu ne Esubaali.
34 Mutabani wa Yonasaani yali Meribubaali, ye Mefibosesi, eyazaala Mikka.
35 Batabani ba Mikka baali Pisoni, ne Mereki, ne Taleya ne Akazi.
36 Akazi n’azaala Yekoyaada, Yekoyaada n’azaala Alemesi, ne Azumavesi, ne Zimuli, ne Zimuli n’azaala Moza.
37 Moza n’azaala Bineya, Bineya n’azaala Lafa, ne Ereyaasa ne Azeri.
38 Azeri yazaala abaana aboobulenzi mukaaga, nga be ba Azulikamu, ne Bokeru, ne Isimayiri, ne Seyaliya, ne Obadiya ne Kanani.
39 Batabani ba muganda we Eseki baali Ulamu omubereberye, ne Yewusi nga ye owookubiri ne Erifereti nga ye wookusatu.
40 Batabani ba Ulamu baali basajja bazira era nga b’amaanyi, nga balasi ba busaale, nga n’abaana n’abazzukulu bangi ddala. Bonna awamu baali kikumi mu ataano. Abo bonna baali bazzukulu ba Benyamini.