< Romans 9 >

1 I tell the truth in Christ. I am not lying, my conscience testifying with me in the Holy Spirit
Njogera amazima mu Kristo, sirimba, omwoyo gwange nga gunkakasa mu Mwoyo Mutukuvu,
2 that I have great sorrow and unceasing pain in my heart.
nga ndimunakuwavu nnyo era nga nnumwa mu mutima.
3 For I could wish that I myself were accursed from Christ for my brothers’ sake, my relatives according to the flesh
Nnali njagala nze mwene nkolimirwe Katonda era njawukanyizibwe ku Kristo olwa baganda bange, bwe tuli ab’omu mubiri,
4 who are Israelites; whose is the adoption, the glory, the covenants, the giving of the law, the service, and the promises;
be Bayisirayiri, abantu ba Katonda abalonde. Katonda yabalaga ekitiibwa kye, n’akola nabo endagaano, n’abawa n’amateeka ge. Yeekaalu yagibawa, n’abawa n’ebyasuubizibwa.
5 of whom are the fathers, and from whom is Christ as concerning the flesh, who is over all, God, blessed forever. Amen. (aiōn g165)
Balina bajjajjaabwe abamanyiddwa, Kristo be yasibukamu mu mubiri. Nsaba Katonda afuga byonna atenderezebwenga emirembe gyonna, Amiina. (aiōn g165)
6 But it is not as though the word of God has come to nothing. For they are not all Israel that are of Israel.
Naye si kuba nti Katonda yalemwa okutuukiriza kye yasuubiza. Si bonna ab’omu Isirayiri nti bantu ba Katonda ddala.
7 Neither, because they are Abraham’s offspring, are they all children. But, “your offspring will be accounted as from Isaac.”
Ate so si nti ly’ezzadde lya Ibulayimu bonna balyoke babeere abaana, naye ekisuubizo kyali ku Isaaka bwe kyagambibwa nti, “Mu Isaaka mwe ndituukiririza ebyo byonna bye nakusuubiza.”
8 That is, it is not the children of the flesh who are children of God, but the children of the promise are counted as heirs.
Kino kitegeeza nti abaana ab’omubiri si be baana ba Katonda, wabula abo ab’okusuubiza be babalibwa okuba ezzadde lya Ibulayimu.
9 For this is a word of promise: “At the appointed time I will come, and Sarah will have a son.”
Kubanga ekigambo ky’okusuubiza kye kino nti, “Mu kiseera nga kino Saala alizaala omwana owoobulenzi.”
10 Not only so, but Rebekah also conceived by one, by our father Isaac.
Ate si ekyo kyokka, naye ne Isaaka jjajjaffe yalina Lebbeeka eyali olubuto.
11 For being not yet born, neither having done anything good or bad, that the purpose of God according to election might stand, not of works, but of him who calls,
Naye ng’abalongo tebannazaalibwa, era nga tebannabaako kye bakola kyonna ekirungi oba ekibi, okusiima kwa Katonda nga bwe kuli,
12 it was said to her, “The elder will serve the younger.”
si lwa bikolwa wabula ku bw’oyo eyabayita, kyategeezebwa Lebbeeka nti, “Omukulu y’aliba omuweereza w’omuto.”
13 Even as it is written, “Jacob I loved, but Esau I hated.”
Era nga bwe kyawandiikibwa nti, “Yakobo namwagala, naye Esawu namukyawa.”
14 What shall we say then? Is there unrighteousness with God? May it never be!
Kale tunaagamba ki? Ddala ddala Katonda talina bwenkanya? Kikafuuwe.
15 For he said to Moses, “I will have mercy on whom I have mercy, and I will have compassion on whom I have compassion.”
Agamba Musa nti, “Ndisaasira oyo gwe ndisaasira, era ndikwatirwa ekisa oyo gwe ndikwatirwa ekisa.”
16 So then it is not of him who wills, nor of him who runs, but of God who has mercy.
Noolwekyo tekiva ku ebyo omuntu by’ayagala newaakubadde by’akola, wabula ku kusaasira kwa Katonda.
17 For the Scripture says to Pharaoh, “For this very purpose I caused you to be raised up, that I might show in you my power, and that my name might be proclaimed in all the earth.”
Ebyawandiikibwa kyebyava byogera ku Falaawo nti, “Kyennava nkuyimusa, ndyoke njolese amaanyi gange mu ggwe, erinnya lyange liryoke litegeezebwe mu nsi zonna.”
18 So then, he has mercy on whom he desires, and he hardens whom he desires.
Noolwekyo Katonda asaasira oyo gw’ayagala okusaasira, ate n’akakanyaza omutima gw’oyo gw’ayagala okukakanyaza.
19 You will say then to me, “Why does he still find fault? For who withstands his will?”
Omu akyayinza okumbuuza nti, Lwaki Katonda atunenya, obanga y’atuleetera okukola nga bw’asiima?
20 But indeed, O man, who are you to reply against God? Will the thing formed ask him who formed it, “Why did you make me like this?”
Naye ggwe omuntu obuntu, ggwe ani addamu ng’owakanya Katonda? Ekibumbe kiyinza okubuuza eyakibumba nti, “Lwaki wammumba bw’oti?”
21 Or hasn’t the potter a right over the clay, from the same lump to make one part a vessel for honor, and another for dishonor?
Oba omubumbi talina buyinza ku bbumba, okubumbamu ekibya eky’omugaso, oba okubumbamu ekitali kya mugaso?
22 What if God, willing to show his wrath and to make his power known, endured with much patience vessels of wrath prepared for destruction,
Katonda yayagala okulaga obusungu bwe, n’amaanyi ge eri abo bonna abaali basaanira okuzikirizibwa, kyokka n’abalaga obugumiikiriza.
23 and that he might make known the riches of his glory on vessels of mercy, which he prepared beforehand for glory—
Ekyo yakikola alyoke amanyise obugagga bw’ekitiibwa kye, eri abo bonna be yeerondera okugabanira awamu ekitiibwa kye.
24 us, whom he also called, not from the Jews only, but also from the Gentiles?
Naffe yatuyita, si Bayudaaya bokka naye n’Abaamawanga.
25 As he says also in Hosea, “I will call them ‘my people,’ which were not my people; and her ‘beloved,’ who was not beloved.”
Ne mu Koseya agamba nti, “Abataali bantu bange ndibayita abantu bange, Ne gwe nnali ssaagala, ndimwagala.”
26 “It will be that in the place where it was said to them, ‘You are not my people,’ there they will be called ‘children of the living God.’”
Mu kifo omwo mwe baayitirwa nti, “Temuli bantu bange, mwe baliyitirwa abaana ba Katonda omulamu.”
27 Isaiah cries concerning Israel, “If the number of the children of Israel are as the sand of the sea, it is the remnant who will be saved;
Isaaya ayogera eri Isirayiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Omuwendo gw’abaana ba Isirayiri ne bwe gulyenkana ng’omusenyu gw’ennyanja, ekitundu ekirisigalawo kye kirirokolebwa.
28 for he will finish the work and cut it short in righteousness, because the Lord will make a short work upon the earth.”
Kubanga Mukama alisalawo era alituukiriza mangu ekyo kye yagamba okukola ku nsi.”
29 As Isaiah has said before, “Unless the Lord of Armies had left us a seed, we would have become like Sodom, and would have been made like Gomorrah.”
Era nga Isaaya bwe yayogera edda nti, “Singa Mukama ow’Eggye teyatulekerawo zzadde, twandifuuse nga Sodomu, era twandifaananye nga Ggomola.”
30 What shall we say then? That the Gentiles, who didn’t follow after righteousness, attained to righteousness, even the righteousness which is of faith;
Kale tunaagamba ki? Tugambe nti Abaamawanga abataagobereranga butuukirivu, baafuna obutuukirivu, bwe butuukirivu obuva mu kukkiriza,
31 but Israel, following after a law of righteousness, didn’t arrive at the law of righteousness.
naye Isirayiri mu kugobereranga amateeka ag’obutuukirivu, teyafuna butuukirivu obwo?
32 Why? Because they didn’t seek it by faith, but as it were by works of the law. They stumbled over the stumbling stone,
Lwaki? Ekyo baalema okukituukako kubanga tebaagoberera butuukirivu mu kukkiriza wabula mu bikolwa. Beesittala ku jjinja eryo eryesittalwako,
33 even as it is written, “Behold, I lay in Zion a stumbling stone and a rock of offense; and no one who believes in him will be disappointed.”
nga bwe kyawandiikibwa nti, “Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako n’olwazi olulibasuula. Oyo amukkiriza taliswazibwa.”

< Romans 9 >