< Romans 6 >

1 What shall we say then? Shall we continue in sin, that grace may abound?
Kale tunaagamba tutya? Tweyongere okwonoona, olwo ekisa kya Katonda kiryoke kyeyongere?
2 May it never be! We who died to sin, how could we live in it any longer?
Kikafuuwe, kubanga ffe abaafa eri ekibi tuyinza tutya okweyongera okukikola?
3 Or don’t you know that all of us who were baptized into Christ Jesus were baptized into his death?
Oba temumanyi nga bonna bwe baabatizibwa mu Yesu Kristo, baafiira wamu naye?
4 We were buried therefore with him through baptism into death, that just as Christ was raised from the dead through the glory of the Father, so we also might walk in newness of life.
Bwe twabatizibwa twaziikibwa wamu ne Kristo. Nga Kristo bwe yazuukizibwa okuva mu bafu olw’ekitiibwa kya Kitaawe, naffe twafuna obulamu obuggya, era bwe tutyo tutambulirenga mu bulamu obwo obuggya.
5 For if we have become united with him in the likeness of his death, we will also be part of his resurrection;
Obanga twegatta wamu naye mu kifaananyi eky’okufa kwe, bwe tutyo bwe tulyegattira awamu naye mu kuzuukira kwe.
6 knowing this, that our old man was crucified with him, that the body of sin might be done away with, so that we would no longer be in bondage to sin.
Tumanyi kino nti omuntu waffe ow’edda yakomererwa wamu naye ku musaalaba, omubiri gw’ekibi guleme kuba gwa mugaso, tuleme kuddamu kuba baddu ba kibi.
7 For he who has died has been freed from sin.
Omuntu bw’afa aba takyafugibwa kibi.
8 But if we died with Christ, we believe that we will also live with him,
Naye obanga twafiira wamu ne Kristo, tukkiriza nga tuliba balamu wamu naye
9 knowing that Christ, being raised from the dead, dies no more. Death no longer has dominion over him!
Tumanyi nti, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu, takyafa nate, okufa tekukyamufuga.
10 For the death that he died, he died to sin one time; but the life that he lives, he lives to God.
Okufa kwe yafa eri ekibi, yafa omulundi gumu, naye kaakano mulamu era mulamu ku bwa Katonda.
11 Thus consider yourselves also to be dead to sin, but alive to God in Christ Jesus our Lord.
Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okuba abaafiira ddala eri ekibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu.
12 Therefore don’t let sin reign in your mortal body, that you should obey it in its lusts.
Noolwekyo ekibi kiremenga okufuga omubiri gwammwe ogufa, nga mugondera okwegomba kwagwo.
13 Also, do not present your members to sin as instruments of unrighteousness, but present yourselves to God as alive from the dead, and your members as instruments of righteousness to God.
Temuwangayo bitundu byammwe eby’omubiri okukozesebwa ebitali bya butuukirivu eri ekibi, naye mweweereyo ddala eri Katonda, ng’abantu abalamu abaava mu bafu. Ebitundu byammwe eby’omubiri gwammwe bikozesebwe eby’obutuukirivu eri Katonda.
14 For sin will not have dominion over you, for you are not under law, but under grace.
Temukkiriza kibi kwongera kubafuga, kubanga temukyafugibwa mateeka, wabula ekisa kya Katonda.
15 What then? Shall we sin because we are not under law but under grace? May it never be!
Kale tukole tutya? Kale tukole ekibi kubanga tetufugibwa mateeka wabula ekisa kya Katonda? Kikafuuwe.
16 Don’t you know that when you present yourselves as servants and obey someone, you are the servants of whomever you obey, whether of sin to death, or of obedience to righteousness?
Temumanyi nga muba baddu b’oyo gwe muwulira? Muyinza okuba abaddu b’ekibi ne kibaleetera okufa, oba muyinza okuba abaddu abawulira Katonda n’abawa obutuukirivu.
17 But thanks be to God that, whereas you were bondservants of sin, you became obedient from the heart to that form of teaching to which you were delivered.
Kyokka Katonda yeebazibwe kubanga mwabanga baddu ba kibi, naye bwe mwagondera okuyigiriza kwe mwayigirizibwa n’omutima gwammwe gwonna, ne mukugondera.
18 Being made free from sin, you became bondservants of righteousness.
Noolwekyo mwasumululwa okuva mu kibi, ne mufuuka baddu ba butuukirivu abasanyusa Katonda.
19 I speak in human terms because of the weakness of your flesh; for as you presented your members as servants to uncleanness and to wickedness upon wickedness, even so now present your members as servants to righteousness for sanctification.
Njogera nga nkozesa olulimi olwa bulijjo kubanga mukyali banafu. Nga bwe mwawangayo ebitundu byammwe eby’omubiri okuba abaddu b’ebirowoozo eby’obugwagwa, ne mweyongeranga okukola ebitali bya butuukirivu, bwe mutyo muweeyo ebitundu byammwe eby’omubiri okuba abaddu b’obutuukirivu, nga mweweerayo ddala eri Katonda, mube batukuvu.
20 For when you were servants of sin, you were free from righteousness.
Bwe mwali abaddu b’ekibi, temwafugibwanga butuukirivu.
21 What fruit then did you have at that time in the things of which you are now ashamed? For the end of those things is death.
Kale mwagasibwa ki mu kukola ebintu ebyo, ebibaleetera ensonyi? Enkomerero yaabyo kufa.
22 But now, being made free from sin and having become servants of God, you have your fruit of sanctification and the result of eternal life. (aiōnios g166)
Naye kaakano obanga mwasumululwa mu kibi, ne mufuuka baddu ba Katonda, ebivaamu bibatuusa ku kutukuzibwa, n’enkomerero bwe bulamu obutaggwaawo. (aiōnios g166)
23 For the wages of sin is death, but the free gift of God is eternal life in Christ Jesus our Lord. (aiōnios g166)
Empeera y’ekibi kwe kufa, naye ekirabo kya Katonda, bwe bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe. (aiōnios g166)

< Romans 6 >