< Matthew 20 >

1 “For the Kingdom of Heaven is like a man who was the master of a household, who went out early in the morning to hire laborers for his vineyard.
Awo Yesu n’abagamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’omuntu ssemaka, eyakeera mu makya n’apangisa abakozi okukola mu nnimiro ye ey’emizabbibu.
2 When he had agreed with the laborers for a denarius a day, he sent them into his vineyard.
N’alagaana n’abapakasi okubasasula omuwendo eddinaali emu emu, ze zaali ensimbi ez’olunaku olumu. N’abasindika mu nnimiro ye ey’emizabbibu.
3 He went out about the third hour, and saw others standing idle in the marketplace.
“Bwe waayitawo essaawa nga bbiri n’asanga abalala nga bayimiridde mu katale nga tebalina kye bakola,
4 He said to them, ‘You also go into the vineyard, and whatever is right I will give you.’ So they went their way.
nabo n’abagamba nti, ‘Nammwe mugende mu nnimiro y’emizabbibu, era nnaabasasula empeera ebasaanira.’
5 Again he went out about the sixth and the ninth hour, and did likewise.
Ne bagenda. “Ku ssaawa omukaaga ne ku mwenda n’asindikayo abalala mu ngeri y’emu.
6 About the eleventh hour he went out and found others standing idle. He said to them, ‘Why do you stand here all day idle?’
Essaawa nga ziweze nga kkumi n’emu n’asanga abalala nga bayimiridde awo, n’ababuuza nti, ‘Lwaki muyimiridde awo olunaku lwonna nga temulina kye mukola?’
7 “They said to him, ‘Because no one has hired us.’ “He said to them, ‘You also go into the vineyard, and you will receive whatever is right.’
“Ne bamuddamu nti, ‘Kubanga tetufunye atuwa mulimu.’ N’abagamba nti, ‘Nammwe mugende mukole mu nnimiro yange ey’emizabbibu.’
8 “When evening had come, the lord of the vineyard said to his manager, ‘Call the laborers and pay them their wages, beginning from the last to the first.’
“Awo obudde nga buwungeera nannyini nnimiro n’alagira nampala ayite abakozi abawe empeera yaabwe ng’asookera ku b’oluvannyuma.
9 “When those who were hired at about the eleventh hour came, they each received a denarius.
“Abaatandika ku ssaawa ekkumi n’emu ne baweebwa eddinaali emu emu.
10 When the first came, they supposed that they would receive more; and they likewise each received a denarius.
Bali abaasookayo bwe bajja ne basuubira nti bo ze banaasasulwa zijja kusingako obungi. Naye nabo yabasasula omuwendo gwe gumu ogw’olunaku olumu nga bali.
11 When they received it, they murmured against the master of the household,
Bwe baagifuna ne beemulugunyiza nannyini nnimiro
12 saying, ‘These last have spent one hour, and you have made them equal to us who have borne the burden of the day and the scorching heat!’
nga bagamba nti, ‘Bano abooluvannyuma baakoledde essaawa emu yokka naye lwaki obawadde empeera eyenkana eyaffe, ffe abaakoze okuva mu makya ne mu musana gw’omu tuntu?’
13 “But he answered one of them, ‘Friend, I am doing you no wrong. Didn’t you agree with me for a denarius?
“Mukama waabwe kwe kuddamu omu ku bo nti, ‘Munnange si kubbye; bwe wabadde otandika okukola tetwalagaanye eddinaali emu?
14 Take that which is yours, and go your way. It is my desire to give to this last just as much as to you.
Twala eddinaali yo ogende. Naye njagala n’ono asembyeyo okumuwa empeera y’emu nga gye nkuwadde.
15 Isn’t it lawful for me to do what I want to with what I own? Or is your eye evil, because I am good?’
Siyinza kukozesa byange nga bwe njagala? Obuggya bukukutte kubanga ndi wa kisa?’
16 So the last will be first, and the first last. For many are called, but few are chosen.”
“Kale nno bwe kityo bwe kiriba abooluvannyuma ne baba aboolubereberye, n’aboolubereberye ne baba abooluvannyuma.”
17 As Jesus was going up to Jerusalem, he took the twelve disciples aside, and on the way he said to them,
Awo Yesu bwe yali ayambuka e Yerusaalemi n’atwala abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, mu kyama. Bwe baali mu kkubo, n’abagamba nti,
18 “Behold, we are going up to Jerusalem, and the Son of Man will be delivered to the chief priests and scribes, and they will condemn him to death,
“Laba twambuka e Yerusaalemi, Omwana w’Omuntu aliweebwayo eri bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka, bamusalire omusango ogw’okufa.
19 and will hand him over to the Gentiles to mock, to scourge, and to crucify; and the third day he will be raised up.”
Era balimuwaayo eri Abamawanga ne bamuduulira ne bamukuba, era balimukomerera ku musaalaba. Naye ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.”
20 Then the mother of the sons of Zebedee came to him with her sons, kneeling and asking a certain thing of him.
Awo nnyina w’abaana ba Zebbedaayo, n’ajja eri Yesu ne batabani be bombi, n’amusinza ng’ayagala okubaako ky’amusaba.
21 He said to her, “What do you want?” She said to him, “Command that these, my two sons, may sit, one on your right hand and one on your left hand, in your Kingdom.”
Yesu n’amubuuza nti, “Kiki ky’oyagala?” N’addamu nti, “Nsaba, mu bwakabaka bwo, abaana bange bano bombi batuule naawe omu ku mukono gwo ogwa ddyo n’omulala ku gwa kkono.”
22 But Jesus answered, “You don’t know what you are asking. Are you able to drink the cup that I am about to drink, and be baptized with the baptism that I am baptized with?” They said to him, “We are able.”
Naye Yesu n’amuddamu nti, “Tomanyi ky’osaba. Muyinza okunywa ku kikompe nze kye ŋŋenda okunywako?” Ne baddamu nti, “Tuyinza.”
23 He said to them, “You will indeed drink my cup, and be baptized with the baptism that I am baptized with; but to sit on my right hand and on my left hand is not mine to give, but it is for whom it has been prepared by my Father.”
N’abagamba nti, “Weewaawo ekikompe mugenda kukinywako. Naye eky’okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ogwa kkono nze sikirinaako buyinza. Ebifo ebyo byategekebwa dda Kitange.”
24 When the ten heard it, they were indignant with the two brothers.
Abayigirizwa bali ekkumi bwe baawulira ebyo abooluganda ababiri bye baasaba, ne babanyiigira nnyo.
25 But Jesus summoned them, and said, “You know that the rulers of the nations lord it over them, and their great ones exercise authority over them.
Yesu kwe kubayita n’abagamba nti, “Mumanyi ng’abakulembeze b’abamawanga babazitoowereza embeera, n’abakulu baabwe babafuza lyanyi.
26 It shall not be so among you; but whoever desires to become great among you shall be your servant.
Naye tekisaanye kuba bwe kityo mu mmwe. Buli ayagala okubeera omukulu mu mmwe, abeerenga muweereza wa banne.
27 Whoever desires to be first among you shall be your bondservant,
Na buli ayagala okuba omwami mu mmwe aweerezenga banne ng’omuddu waabwe.
28 even as the Son of Man came not to be served, but to serve, and to give his life as a ransom for many.”
Mube nga Omwana w’Omuntu atajja kuweerezebwa wabula okuweereza, n’okuwaayo obulamu bwe ng’omutango okununula abangi.”
29 As they went out from Jericho, a great multitude followed him.
Awo Yesu n’abayigirizwa be bwe baali bava mu kibuga Yeriko, ekibiina kinene ne kimugoberera.
30 Behold, two blind men sitting by the road, when they heard that Jesus was passing by, cried out, “Lord, have mercy on us, you son of David!”
Abazibe b’amaaso babiri abaali batudde ku mabbali g’ekkubo bwe baawulira nga Yesu ayita mu kkubo eryo, ne baleekaanira waggulu nnyo nga bakoowoola nti, “Ssebo, Omwana wa Dawudi, otusaasire!”
31 The multitude rebuked them, telling them that they should be quiet, but they cried out even more, “Lord, have mercy on us, you son of David!”
Ekibiina ne kibalagira okusirika, naye bo, ne beeyongera bweyongezi okukoowoolera waggulu nga boogera nti, “Ssebo, Omwana wa Dawudi, tusasire.”
32 Jesus stood still and called them, and asked, “What do you want me to do for you?”
Yesu bwe yabatuukako n’ayimirira n’ababuuza nti, “Mwagala mbakolere ki?”
33 They told him, “Lord, that our eyes may be opened.”
Ne bamuddamu nti, “Mukama waffe, twagala otuzibule amaaso.”
34 Jesus, being moved with compassion, touched their eyes; and immediately their eyes received their sight, and they followed him.
Yesu n’abasaasira n’akwata ku maaso gaabwe amangwago ne gazibuka, ne bamugoberera.

< Matthew 20 >