< Luke 9 >

1 He called the twelve together and gave them power and authority over all demons, and to cure diseases.
Awo olunaku lwali lumu Yesu n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri bonna awamu, n’abawa obuyinza okugoba baddayimooni ku bantu n’okuwonya endwadde.
2 He sent them out to preach God’s Kingdom and to heal the sick.
N’abawa obuyinza n’abatuma bagende bategeeze abantu ebigambo by’obwakabaka bwa Katonda era bawonye n’abalwadde.
3 He said to them, “Take nothing for your journey—no staffs, nor wallet, nor bread, nor money. Don’t have two tunics each.
N’abalagira nti, “Temwetwalira kintu kyonna nga mugenda, wadde omuggo, oba ensawo, oba emmere, wadde ffeeza wadde essaati ebbiri.
4 Into whatever house you enter, stay there, and depart from there.
Na buli nnyumba mwe muyingiranga, mubeerenga omwo, era mwe muba muvanga.
5 As many as don’t receive you, when you depart from that city, shake off even the dust from your feet for a testimony against them.”
Bwe muyingiranga mu kibuga, abantu baamu ne batabaaniriza, mubaviirenga, era bwe mubanga mufuluma mu kibuga ekyo mukunkumulanga enfuufu ku bigere byammwe, ebe omujulirwa eri bo.”
6 They departed and went throughout the villages, preaching the Good News and healing everywhere.
Ne bagenda nga bava mu kibuga ekimu nga badda mu kirala, nga babuulira Enjiri buli wamu era nga bawonya.
7 Now Herod the tetrarch heard of all that was done by him; and he was very perplexed, because it was said by some that John had risen from the dead,
Awo Kerode eyali afuga Ggaliraaya bwe yawulira ebintu ebyo byonna, n’asoberwa, kubanga abantu abamu baali bagamba nti, “Yokaana azuukidde mu bafu,”
8 and by some that Elijah had appeared, and by others that one of the old prophets had risen again.
n’abalala nti, “Eriya yali alabise,” n’abalala nti, “Omu ku bannabbi ab’edda azuukidde mu bafu.”
9 Herod said, “I beheaded John, but who is this about whom I hear such things?” He sought to see him.
Naye Kerode ne yeebuuza nti, “Yokaana namutemako omutwe; naye ate kale ono ye ani gwe mpulirako ebigambo bino byonna?” N’ayagala okulaba Yesu.
10 The apostles, when they had returned, told him what things they had done. He took them and withdrew apart to a desert region of a city called Bethsaida.
Awo abatume bwe baakomawo ne bategeeza Yesu bye baakola. Yesu n’abatwala mu kyama ne bagenda bokka mu kibuga ekiyitibwa Besusayida.
11 But the multitudes, perceiving it, followed him. He welcomed them, spoke to them of God’s Kingdom, and he cured those who needed healing.
Naye ebibiina bwe baakitegeera ne kimugoberera. Yesu n’abaaniriza, n’abayigiriza ebigambo ebikwata ku bwakabaka bwa Katonda, n’abaali abalwadde n’abawonya.
12 The day began to wear away; and the twelve came and said to him, “Send the multitude away, that they may go into the surrounding villages and farms and lodge and get food, for we are here in a deserted place.”
Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ekkumi n’ababiri ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Abantu bagambe bagende mu bibuga ebyetoolodde wano ne mu byalo beefunire we banaafuna ku mmere n’okusula, kubanga wano tuli mu ttale jjereere.”
13 But he said to them, “You give them something to eat.” They said, “We have no more than five loaves and two fish, unless we should go and buy food for all these people.”
Yesu n’abaddamu nti, “Mmwe mubawe ekyokulya!” Abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Wano tulinawo emigaati etaano gyokka n’ebyennyanja bibiri, mpozi nga tugenda tugulire abantu bano bonna emmere.”
14 For they were about five thousand men. He said to his disciples, “Make them sit down in groups of about fifty each.”
Waaliwo abasajja ng’enkumi ttaano. Naye Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Mutuuze abantu mu bibiina by’abantu ng’amakumi ataano buli kimu.”
15 They did so, and made them all sit down.
Abayigirizwa ne bakola bwe batyo, bonna ne batuula.
16 He took the five loaves and the two fish, and looking up to the sky, he blessed them, broke them, and gave them to the disciples to set before the multitude.
Awo Yesu n’addira emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri n’atunula eri eggulu, ne yeebaza, n’amenyaamenya emigaati n’ebyennyanja, n’awa abayigirizwa be bagabule abantu.
17 They ate and were all filled. They gathered up twelve baskets of broken pieces that were left over.
Bonna ne balya ne bakkuta, era obutundutundu obwalema bwe bwakuŋŋaanyizibwa ne bujjuza ebisero kkumi na bibiri.
18 As he was praying alone, the disciples were near him, and he asked them, “Who do the multitudes say that I am?”
Lwali lumu Yesu bwe yali ng’asaba yekka kyokka nga n’abayigirizwa be bali awo, n’ababuuza nti, “Ebibiina bimpita ani?”
19 They answered, “‘John the Baptizer,’ but others say, ‘Elijah,’ and others, that one of the old prophets has risen again.”
Ne baddamu nti, “Abamu bagamba nti Yokaana Omubatiza, abalala nti Eriya, ate nga waliwo abagamba nti omu ku bannabbi ab’edda y’azuukidde.”
20 He said to them, “But who do you say that I am?” Peter answered, “The Christ of God.”
Yesu kwe kubabuuza nti, “Naye mmwe mumpita ani?” Peetero n’addamu nti, “Ggwe Kristo wa Katonda.”
21 But he warned them and commanded them to tell this to no one,
Awo Yesu n’abakuutira, ng’abalagira obutakitegeezaako muntu yenna,
22 saying, “The Son of Man must suffer many things, and be rejected by the elders, chief priests, and scribes, and be killed, and the third day be raised up.”
n’abategeeza nti, “Kigwanidde, Omwana w’Omuntu, okubonaabona ennyo, n’okugaanibwa abakulembeze b’Abayudaaya, ne bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka, n’okuttibwa, naye ku lunaku olwokusatu okuzuukizibwa!”
23 He said to all, “If anyone desires to come after me, let him deny himself, take up his cross, and follow me.
Era bonna n’abagamba nti, “Omuntu yenna ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka yeetikke omusaalaba gwe buli lunaku, angoberere!
24 For whoever desires to save his life will lose it, but whoever will lose his life for my sake will save it.
Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe, alibufiirwa. Na buli alifiirwa obulamu bwe ku lwange alibulokola.
25 For what does it profit a man if he gains the whole world, and loses or forfeits his own self?
Kubanga omuntu kirimugasa ki okulya ensi yonna, naye n’afiirwa obulamu bwe?
26 For whoever will be ashamed of me and of my words, of him will the Son of Man be ashamed when he comes in his glory, and the glory of the Father, and of the holy angels.
Buli alinkwatirwa ensonyi, nze n’ebigambo byange, n’Omwana w’Omuntu, alimukwatirwa ensonyi, bw’alijja mu kitiibwa kye ne mu kya Kitaawe ne mu kya bamalayika abatukuvu.
27 But I tell you the truth: There are some of those who stand here who will in no way taste of death until they see God’s Kingdom.”
“Naye ddala ddala mbagamba nti abamu ku abo abayimiridde wano waliwo abatalirega ku kufa okutuusa nga bamaze okulaba obwakabaka bwa Katonda.”
28 About eight days after these sayings, he took with him Peter, John, and James, and went up onto the mountain to pray.
Awo nga wayiseewo ng’ennaku munaana, Yesu n’atwala Peetero ne Yokaana ne Yakobo ne bambuka ku lusozi okusaba.
29 As he was praying, the appearance of his face was altered, and his clothing became white and dazzling.
Bwe yali ng’asaba endabika y’amaaso ge n’ekyusibwa, ebyambalo bye ne byeruka ne bitukula nnyo era ne byakaayakana.
30 Behold, two men were talking with him, who were Moses and Elijah,
Awo abantu babiri ne balabika nga banyumya ne Yesu, omu yali Musa n’omulala Eriya,
31 who appeared in glory and spoke of his departure, which he was about to accomplish at Jerusalem.
abaali bamasamasa mu kitiibwa kyabwe nga boogera ku kufa kwa Yesu, kwe yali agenda okutuukiriza mu Yerusaalemi.
32 Now Peter and those who were with him were heavy with sleep, but when they were fully awake, they saw his glory, and the two men who stood with him.
Peetero ne banne otulo twali tubakutte era nga beebase, Bwe baazuukuka ne balaba ekitiibwa kya Yesu n’abantu ababiri abaali bayimiridde naye.
33 As they were parting from him, Peter said to Jesus, “Master, it is good for us to be here. Let’s make three tents: one for you, one for Moses, and one for Elijah,” not knowing what he said.
Awo Musa ne Eriya bwe baali bagenda, Peetero nga tamanyi ne kyayogera, n’agamba nti, “Mukama wange kirungi ffe okubeera wano. Ka tuzimbe wano ensiisira ssatu, emu yiyo, endala ya Musa n’endala ya Eriya!”
34 While he said these things, a cloud came and overshadowed them, and they were afraid as they entered into the cloud.
Naye yali akyayogera ebyo ekire ne kibabikka, abayigirizwa ne bajjula okutya nga kibasaanikidde.
35 A voice came out of the cloud, saying, “This is my beloved Son. Listen to him!”
Eddoboozi ne liva mu kire ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange, gwe nneeroboza, mumuwulirize!”
36 When the voice came, Jesus was found alone. They were silent, and told no one in those days any of the things which they had seen.
Eddoboozi bwe lyasiriikirira, Yesu n’asigalawo yekka. Abayigirizwa abo bye baalaba ne bye baawulira ne babikuuma mu mitima gyabwe, ne batabibuulirako muntu yenna mu kiseera ekyo.
37 On the next day, when they had come down from the mountain, a great multitude met him.
Awo enkeera bwe baakomawo nga bava ku lusozi, ekibiina ekinene ne kijja okusisinkana Yesu.
38 Behold, a man from the crowd called out, saying, “Teacher, I beg you to look at my son, for he is my only born child.
Omusajja eyali mu kibiina n’ayogerera waggulu ng’agamba nti, “Omuyigiriza, nkwegayiridde tunula ku mutabani wange ono kubanga yekka gwe nnina.
39 Behold, a spirit takes him, he suddenly cries out, and it convulses him so that he foams; and it hardly departs from him, bruising him severely.
Kubanga ddayimooni buli bbanga amukwata n’amuwowogganya, era n’amukankanya n’abimba ejjovu n’amusuula eri era tayagala kumuleka, amumaliramu ddala amaanyi.
40 I begged your disciples to cast it out, and they couldn’t.”
Neegayiridde abayigirizwa bo bamumugobeko, naye ne batasobola.”
41 Jesus answered, “Faithless and perverse generation, how long shall I be with you and bear with you? Bring your son here.”
Awo Yesu n’addamu nti, “Mmwe omulembe ogutakkiriza era ogwakyama, ndibeera nammwe kutuusa ddi? Era ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Leeta wano omwana wo.”
42 While he was still coming, the demon threw him down and convulsed him violently. But Jesus rebuked the unclean spirit, healed the boy, and gave him back to his father.
Omulenzi bwe yali ajja eri Yesu dayimooni n’amusuula wansi n’amukankanya nnyo. Yesu n’aboggolera omwoyo omubi n’awonya omwana, n’amuddiza kitaawe.
43 They were all astonished at the majesty of God. But while all were marveling at all the things which Jesus did, he said to his disciples,
Abantu bonna ne beewuunya obuyinza bwa Katonda. Awo buli muntu bwe yali akyewuunya eby’ekitalo ebyo Yesu bye yali akola, n’agamba abayigirizwa be nti,
44 “Let these words sink into your ears, for the Son of Man will be delivered up into the hands of men.”
“Muwulirize nnyo kye ŋŋenda okubagamba. Omwana w’Omuntu, agenda kuliibwamu olukwe.”
45 But they didn’t understand this saying. It was concealed from them, that they should not perceive it, and they were afraid to ask him about this saying.
Naye abayigirizwa tebaategeera ky’agambye n’amakulu gaakyo. Kubanga kyali kibakwekebbwa, baleme okutegeera ate nga batya okukimubuuza.
46 An argument arose among them about which of them was the greatest.
Awo empaka ne zisituka mu bayigirizwa ba Yesu, nga bawakanira aliba omukulu mu bo.
47 Jesus, perceiving the reasoning of their hearts, took a little child, and set him by his side,
Naye Yesu bwe yategeera ebirowoozo byabwe n’addira omwana omuto n’amuyimiriza w’ali.
48 and said to them, “Whoever receives this little child in my name receives me. Whoever receives me receives him who sent me. For whoever is least among you all, this one will be great.”
N’abagamba nti, “Buli muntu asembeza omwana ono omuto mu linnya lyange ng’asembezezza Nze, na buli ansembeza aba asembezezza oyo eyantuma. Oyo asembayo okuba owa wansi mu mmwe, ye mukulu okubasinga.”
49 John answered, “Master, we saw someone casting out demons in your name, and we forbade him, because he doesn’t follow with us.”
Awo Yokaana n’agamba Yesu nti, “Mukama waffe, twalaba omuntu ng’agoba baddayimooni mu linnya lyo ne tugezaako okumuziyiza kubanga tayita naffe.”
50 Jesus said to him, “Don’t forbid him, for he who is not against us is for us.”
Naye Yesu n’amuddamu nti, “Temumuziyizanga kubanga oyo atalwana nammwe abeera ku ludda lwammwe.”
51 It came to pass, when the days were near that he should be taken up, he intently set his face to go to Jerusalem
Awo ekiseera eky’okulinnya kwe mu ggulu bwe kyali kisembedde, n’amalirira okugenda e Yerusaalemi.
52 and sent messengers before his face. They went and entered into a village of the Samaritans, so as to prepare for him.
N’atuma ababaka mu maaso ne balaga mu kibuga ky’Abasamaliya okumutegekera.
53 They didn’t receive him, because he was traveling with his face set toward Jerusalem.
Naye abantu b’eyo ne batamwaniriza, kubanga yali amaliridde okulaga mu Yerusaalemi.
54 When his disciples, James and John, saw this, they said, “Lord, do you want us to command fire to come down from the sky and destroy them, just as Elijah did?”
Abayigirizwa Yakobo ne Yokaana bwe baakiraba ne babuuza Yesu nti, “Mukama waffe, tuyite omuliro okuva mu ggulu gubazikirize?”
55 But he turned and rebuked them, “You don’t know of what kind of spirit you are.
Naye Yesu n’akyuka n’abanenya.
56 For the Son of Man didn’t come to destroy men’s lives, but to save them.” They went to another village.
Ne bagenda mu kabuga akalala.
57 As they went on the way, a certain man said to him, “I want to follow you wherever you go, Lord.”
Awo bwe baali bali mu kkubo omu ku bo n’amugamba nti, “Nnaakugobereranga wonna w’onoogendanga.”
58 Jesus said to him, “The foxes have holes and the birds of the sky have nests, but the Son of Man has no place to lay his head.”
Yesu n’amugamba nti, “Ebibe birina obunnya bwabyo mwe bisula, n’ennyonyi zirina ebisu, naye Omwana w’Omuntu, talina kifo kya kuwumulizaamu mutwe gwe.”
59 He said to another, “Follow me!” But he said, “Lord, allow me first to go and bury my father.”
N’agamba omusajja omulala nti, “Ngoberera.” Omusajja n’addamu nti, “Mukama wange, nzikiriza mmale okugenda okuziika kitange.”
60 But Jesus said to him, “Leave the dead to bury their own dead, but you go and announce God’s Kingdom.”
Yesu n’amugamba nti, “Leka abafu baziike abafu baabwe, naye ggwe genda olangirire obwakabaka bwa Katonda.”
61 Another also said, “I want to follow you, Lord, but first allow me to say good-bye to those who are at my house.”
N’omulala n’agamba Yesu nti, “Nnaakugobereranga Mukama wange. Naye sooka ondeke mmale okusiibula ab’omu maka gange.”
62 But Jesus said to him, “No one, having put his hand to the plow and looking back, is fit for God’s Kingdom.”
Naye Yesu n’amuddamu nti, “Omuntu yenna akwata ekyuma ekirima mu ngalo ze ate n’atunula emabega, tasaanira bwakabaka bwa Katonda.”

< Luke 9 >