< Galatians 6 >

1 Brothers, even if a man is caught in some fault, you who are spiritual must restore such a one in a spirit of gentleness, looking to yourself so that you also aren’t tempted.
Abooluganda omuntu bw’abanga alina ekibi ky’akoze, mmwe ab’omwoyo mumuluŋŋamyenga mu buwombeefu nga mwegendereza si kulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa.
2 Bear one another’s burdens, and so fulfill the law of Christ.
Muyambaganenga, bwe mutyo bwe munaatuukirizanga etteeka lya Kristo.
3 For if a man thinks himself to be something when he is nothing, he deceives himself.
Kubanga omuntu yenna bwe yeerowooza okuba owa waggulu so nga si bw’ali, yeerimbarimba.
4 But let each man examine his own work, and then he will have reason to boast in himself, and not in someone else.
Naye buli muntu yeekebere akakase omulimu ggwe, yenyumirize ye yekka so si mu muntu omulala.
5 For each man will bear his own burden.
Kubanga buli muntu aneetikkanga obuvunaanyizibwa bwe.
6 But let him who is taught in the word share all good things with him who teaches.
Oyo ayigirizibwa ekigambo kya Katonda, agabanirenga wamu n’amuyigiriza ku birungi byonna by’alina.
7 Don’t be deceived. God is not mocked, for whatever a man sows, that he will also reap.
Temubuzibwabuzibwanga, Katonda tasekererwa, kubanga omuntu ky’asiga era ky’alikungula.
8 For he who sows to his own flesh will from the flesh reap corruption. But he who sows to the Spirit will from the Spirit reap eternal life. (aiōnios g166)
Kubanga oyo asiga eri omubiri gwe, alikungula ebiggwaawo. Naye oyo asiga eri omwoyo, alikungula obulamu obutaggwaawo. (aiōnios g166)
9 Let’s not be weary in doing good, for we will reap in due season if we don’t give up.
Kale tulemenga okuterebuka mu kukola obulungi, kubanga oluvannyuma tulikungula emikisa, bwe tutaggwaamu maanyi.
10 So then, as we have opportunity, let’s do what is good toward all men, and especially toward those who are of the household of the faith.
Noolwekyo, buli lwe kinaabanga kisobose tukolerenga abantu bonna ebirungi, na ddala ab’omu nnyumba ey’okukkiriza.
11 See with what large letters I write to you with my own hand.
Mulabe, bwe nnabawandiikira n’omukono gwange mu nnukuta ennene!
12 As many as desire to make a good impression in the flesh compel you to be circumcised, just so they may not be persecuted for the cross of Christ.
Abo abanoonya okweraga mu mubiri be babawaliriza okukomolebwa mu mubiri, balemenga okuyigganyizibwanga olw’omusaalaba gwa Kristo, balyoke beenyumirize olw’omubiri gwammwe.
13 For even they who receive circumcision don’t keep the law themselves, but they desire to have you circumcised, so that they may boast in your flesh.
Kubanga n’abo bennyini abakomolebwa tebakwata mateeka, naye baagala mukomolebwe balyoke beenyumirize olw’omubiri gwammwe.
14 But far be it from me to boast except in the cross of our Lord Jesus Christ, through which the world has been crucified to me, and I to the world.
Naye nze sigenda kwenyumiririza mu kintu kyonna okuggyako omusaalaba gwa Mukama waffe Yesu Kristo, kubanga olw’omusaalaba ogwo, nkomereddwa eri ensi, n’ensi ekomereddwa eri nze.
15 For in Christ Jesus neither is circumcision anything, nor uncircumcision, but a new creation.
Kubanga okukomolebwa oba obutakomolebwa si kintu, wabula ekikulu kye kitonde ekiggya.
16 As many as walk by this rule, peace and mercy be on them, and on God’s Israel.
N’abo bonna abanaatambuliranga mu tteeka eryo, emirembe gibeerenga ku bo, n’okusaasirwa, ne ku Isirayiri ya Katonda.
17 From now on, let no one cause me any trouble, for I bear the marks of the Lord Jesus branded on my body.
Okuva kaakano tewabanga muntu n’omu anteganya, kubanga nnina enkovu za Yesu ku mubiri gwange.
18 The grace of our Lord Jesus Christ be with your spirit, brothers. Amen.
Abooluganda, ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe n’omwoyo gwammwe. Amiina.

< Galatians 6 >