< 2 Corinthians 13 >

1 This is the third time I am coming to you. “At the mouth of two or three witnesses shall every word be established.”
Omulundi guno gwe nzija gye muli gwe gwokusatu. Buli kigambo kirikakasibwa abajulirwa babiri oba basatu nga boogedde.
2 I have warned previously, and I warn again, as when I was present the second time, so now, being absent, I write to those who have sinned before now and to all the rest that if I come again, I will not spare,
Nabalabula era mbalabula nga bwe nabalabula bwe nnali eyo omulundi ogwokubiri, era ne kaakano nga ssiriiyo, abo abaayonoona edda n’abalala bonna, nti bwe ndikomawo ssirisaasira,
3 seeing that you seek a proof of Christ who speaks in me who is not weak, but is powerful in you.
nga bwe munoonya okukakasa oba nga njogerera mu Kristo, atali munafu gye muli, wabula ow’amaanyi mu mmwe.
4 For he was crucified through weakness, yet he lives through the power of God. For we also are weak in him, but we will live with him through the power of God toward you.
Kubanga newaakubadde nga yakomererwa mu bunafu, kyokka mulamu mu maanyi ga Katonda. Naffe tuli banafu mu mibiri gyaffe nga tuli mu ye, naye tuliba balamu mu ye olw’amaanyi ga Katonda olw’omulimu gwe tukola mu mmwe.
5 Examine your own selves, whether you are in the faith. Test your own selves. Or don’t you know about your own selves, that Jesus Christ is in you?—unless indeed you are disqualified.
Mwekebere mulabe obanga muli mu kukkiriza; oba temumanyi nga Yesu Kristo ali mu mmwe? Mpozi nga temukakasibbwa.
6 But I hope that you will know that we aren’t disqualified.
Naye nsuubira nga mumanyi nti tetuli abataakakasibwa.
7 Now I pray to God that you do no evil; not that we may appear approved, but that you may do that which is honorable, though we may seem to have failed.
Kaakano tubasabira eri Katonda obutakola kibi na kimu, si lwa kwagala kulabika nga tusiimibwa, wabula mmwe mukole ebirungi, ffe ne bwe tunaasigala nga tetusiimibbwa.
8 For we can do nothing against the truth, but for the truth.
Kubanga tetuyinza kuwakanya mazima, wabula tugawagira buwagizi.
9 For we rejoice when we are weak and you are strong. We also pray for this: your becoming perfect.
Ffe kitusanyusa bwe tuba abanafu, mmwe ne muba ab’amaanyi. Tubasabira mmwe okuzzibwa obuggya.
10 For this cause I write these things while absent, that I may not deal sharply when present, according to the authority which the Lord gave me for building up and not for tearing down.
Mbawandiikira kubanga siri nammwe, bwe ndijja nneme kubakambuwalira, okusinziira ku buyinza Mukama bwe yampa okubazimba, so si okubazikiriza.
11 Finally, brothers, rejoice! Be perfected. Be comforted. Be of the same mind. Live in peace, and the God of love and peace will be with you.
Ebisigadde abooluganda, mujaguze, muzibwemu amaanyi, mulowooze bumu, mubeere n’emirembe, Katonda ow’okwagala n’emirembe anaabeeranga nammwe.
12 Greet one another with a holy kiss.
Mulamusagane n’okulamusa okutukuvu.
13 All the saints greet you.
Abatukuvu bonna babalamusizza.
14 The grace of the Lord Jesus Christ, God’s love, and the fellowship of the Holy Spirit be with you all. Amen.
Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, n’okwagala kwa Katonda, n’okussekimu okwa Mwoyo Mutukuvu, bibeerenga nammwe mwenna.

< 2 Corinthians 13 >