< Titus 1 >

1 Paul, a servant of God, and an apostle of Jesus Christ, according to the faith of the elect of God and the acknowledging of the truth, which is according to godliness:
Pawulo omuweereza wa Katonda, era omutume wa Yesu Kristo ng’okukkiriza kw’abalonde ba Katonda bwe kuli n’okutegeera amazima agali mu kutya Katonda,
2 Unto the hope of life everlasting, which God, who lieth not, hath promised before the times of the world: (aiōnios g166)
ebyesigamye ku kusuubira okw’obulamu obutaggwaawo, Katonda ow’amazima kwe yasuubiza ng’ebiro eby’emirembe n’emirembe tebinnabaawo, (aiōnios g166)
3 But hath in due times manifested his word in preaching, which is committed to me according to the commandment of God our Saviour:
naye mu ntuuko zaabyo, yayolesa ekigambo kye mu kubuulira Enjiri, kwe nateresebwa ng’ekiragiro kya Katonda Omulokozi waffe bwe kiri,
4 To Titus my beloved son, according to the common faith, grace and peace from God the Father, and from Christ Jesus our Saviour.
eri Tito omwana wange ddala ng’okukkiriza kwaffe ffenna okwa awamu bwe kuli, n’ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu omulokozi waffe.
5 For this cause I left thee in Crete, that thou shouldest set in order the things that are wanting, and shouldest ordain priests in every city, as I also appointed thee:
Kyennava nkuleka mu Kuleete, olyoke otereeze ebyo ebyetaaga okutereeza, era otekewo n’abakadde b’ekkanisa mu buli kibuga, nga bwe nakulagira.
6 If any be without crime, the husband of one wife, having faithful children, not accused of riot, or unruly.
Omuntu ateekwa okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja alina omukazi omu, era nga n’abaana baabwe bakkiriza, nga tebalina kibi kiyinza kuboogerwako era nga tebeenyigira mu bikolwa bya buseegu oba mu bujeemu.
7 For a bishop must be without crime, as the steward of God: not proud, not subject to anger, not given to wine, no striker, not greedy of filthy lucre:
Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa ng’omuwanika wa Katonda, nga si mukakanyavu, nga si wa busungu, nga si mutamiivu, nga si mukambwe, nga teyeegomba kufuna magoba mu bukuusa
8 But given to hospitality, gentle, sober, just, holy, continent:
naye ayaniriza abagenyi, ayagala okukola obulungi, omutegeevu, nga mwenkanya, nga mutukuvu, era ng’amanyi okwefuga.
9 Embracing that faithful word which is according to doctrine, that he may be able to exhort in sound doctrine, and to convince the gainsayers.
Ateekwa okuba omuntu anywerera ku kigambo ekyesigwa, alyoke asobole okunnyonnyola abantu enjigiriza entuufu, n’okulaga obukyamu bw’abo abagiwakanya.
10 For there are also many disobedient, vain talkers, and seducers: especially they who are of the circumcision:
Kubanga waliwo bangi abawakana, aboogera ebitaliimu era abalimba, n’okusingira ddala abo ab’omu bakomole.
11 Who must be reproved, who subvert whole houses, teaching things which they ought not, for filthy lucre’s sake.
Basaanye okusirisibwa, kubanga boonoona buli maka, nga bayigiriza ebitabagwanidde, balyoke beefunire amagoba ag’obukuusa.
12 One of them a prophet of their own, said, The Cretians are always liars, evil beasts, slothful bellies.
Omu ku bo, nnabbi waabwe bo kyeyava agamba nti, “Abakuleete balimba bulijjo, z’ensolo enkambwe, era ba mululu ate bagayaavu.”
13 This testimony is true. Wherefore rebuke them sharply, that they may be sound in the faith;
Kye yagamba kya mazima. Noolwekyo oteekwa okubanenya n’amaanyi kiryoke kibaleetere okukkiriza okutuufu,
14 Not giving heed to Jewish fables and commandments of men, who turn themselves away from the truth.
balekeraawo okuwuliriza enfumo ez’Ekiyudaaya, n’ebiragiro abantu abakyama okuva ku mazima bye bagunja.
15 All things are clean to the clean: but to them that are defiled, and to unbelievers, nothing is clean: but both their mind and their conscience are defiled.
Eri abalongoofu, ebintu byonna biba birongoofu, naye eri abo abatali balongoofu n’abatakkiriza, tewaba kirongoofu na kimu. Kubanga amagezi gaabwe n’ebirowoozo byabwe byayonooneka.
16 They profess that they know God: but in their works they deny him; being abominable, and incredulous, and to every good work reprobate.
Bagamba nti bamanyi Katonda, naye mu bikolwa byabwe bamwegaana. Bagwenyufu era bajeemu, tebasaanira kuweebwa mulimu mulungi n’akatono.

< Titus 1 >