< 創世記 7 >

1 耶和華對挪亞說:「你和你的全家都要進入方舟;因為在這世代中,我見你在我面前是義人。
Awo Mukama n’agamba Nuuwa nti, “Yingira mu lyato, ggwe n’abantu bo bonna, kubanga nkulabye ng’oli mutuukirivu mu mulembe guno.
2 凡潔淨的畜類,你要帶七公七母;不潔淨的畜類,你要帶一公一母;
Twala ku buli nsolo ennongoofu musanvu musanvu ensajja n’enkazi,
3 空中的飛鳥也要帶七公七母,可以留種,活在全地上;
era ne ku binyonyi eby’omu bbanga musanvu musanvu ekisajja n’ekikazi, okukuuma olulyo lwabyo ku nsi.
4 因為再過七天,我要降雨在地上四十晝夜,把我所造的各種活物都從地上除滅。」
Bwe waliyitawo ennaku musanvu nditonnyesa enkuba ku nsi emisana n’ekiro okumalira ddala ennaku amakumi ana, era ndizikiriza buli kintu ekiramu kye natonda ku nsi.”
5 挪亞就遵着耶和華所吩咐的行了。
Bw’atyo Nuuwa n’akola buli kintu nga Mukama bwe yakimulagira.
6 當洪水氾濫在地上的時候,挪亞整六百歲。
Nuuwa yali aweza emyaka lukaaga amataba bwe gajja ku nsi.
7 挪亞就同他的妻和兒子兒婦都進入方舟,躲避洪水。
Nuuwa n’ayingira mu lyato n’abaana be ne mukazi we n’abakazi b’abaana be bawone amataba.
8 潔淨的畜類和不潔淨的畜類,飛鳥並地上一切的昆蟲,
Era ensolo ennongoofu, n’ensolo ezitali nnongoofu n’ebibuuka mu bbanga na buli ekyewalula,
9 都是一對一對地,有公有母,到挪亞那裏進入方舟,正如上帝所吩咐挪亞的。
ne biyingira bibiri bibiri ekisajja n’ekikazi eri Nuuwa mu lyato, nga Katonda bwe yamulagira.
10 過了那七天,洪水氾濫在地上。
Awo olwatuuka oluvannyuma lw’ennaku ziri omusanvu, amataba ne gatandika ku nsi.
11 當挪亞六百歲,二月十七日那一天,大淵的泉源都裂開了,天上的窗戶也敞開了,
Mu mwaka ogw’olukaaga ogw’obulamu bwa Nuuwa, mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw’ekkumi n’omusanvu olw’omwezi, ku lunaku olwo ensulo zonna ez’omu nnyanja ennene, ne ziggulwa lumu n’ebituli byonna eby’eggulu.
12 四十晝夜降大雨在地上。
Enkuba n’etonnya ku nsi okumala ennaku amakumi ana, emisana n’ekiro.
13 正當那日,挪亞和他三個兒子閃、含、雅弗,並挪亞的妻子和三個兒婦,都進入方舟。
Ku lunaku olwo lwennyini Nuuwa ne mukazi ne batabani be, Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi, ne bakazi baabwe bonsatule, ne bayingira mu lyato.
14 他們和百獸,各從其類,一切牲畜,各從其類,爬在地上的昆蟲,各從其類,一切禽鳥,各從其類,都進入方舟。
Buli nsolo mu ngeri yaayo na buli nte, na buli ekyewalula, era na buli kinyonyi mu ngeri yaakyo na buli nkula ya kinyonyi, nabyo ne biyingira mu lyato.
15 凡有血肉、有氣息的活物,都一對一對地到挪亞那裏,進入方舟。
Ne biyingira mu lyato lya Nuuwa bibiri bibiri byonna ebyalimu omukka ogw’obulamu.
16 凡有血肉進入方舟的,都是有公有母,正如上帝所吩咐挪亞的。耶和華就把他關在方舟裏頭。
Byonna ne biyingira mu lyato, ekisajja n’ekikazi; byayingira nga Katonda bwe yalagira Nuuwa, Mukama n’aggalawo eryato.
17 洪水氾濫在地上四十天,水往上長,把方舟從地上漂起。
Amataba ne gabuna ensi okumala ennaku amakumi ana. Amazzi ne geeyongeranga, n’eryato nalyo ne lyeyongeranga okutumbiira ku nsi.
18 水勢浩大,在地上大大地往上長,方舟在水面上漂來漂去。
Amazzi ne gatumbiira ne geeyongera okwala ku nsi, n’eryato ne liseeyeeya kungulu ku mazzi.
19 水勢在地上極其浩大,天下的高山都淹沒了。
Amazzi ne gatumbiira nnyo nnyini ku nsi, n’ensozi zonna empanvu wansi w’eggulu lyonna amazzi ne gazibikka.
20 水勢比山高過十五肘,山嶺都淹沒了。
Amazzi ne gatumbiira ne gabikka ensozi ne zibulira wansi mu mazzi mita nga musanvu.
21 凡在地上有血肉的動物,就是飛鳥、牲畜、走獸,和爬在地上的昆蟲,以及所有的人,都死了。
Buli kiramu ekyali ku nsi ne kifa: ebinyonyi n’ensolo ez’awaka n’ez’omu nsiko, n’ebitonde byonna ebyali ku nsi n’abantu bonna.
22 凡在旱地上、鼻孔有氣息的生靈都死了。
Buli kintu kyonna ekyali ku lukalu ekissa omukka ne kifa.
23 凡地上各類的活物,連人帶牲畜、昆蟲,以及空中的飛鳥,都從地上除滅了,只留下挪亞和那些與他同在方舟裏的。
Buli kiramu kyonna ekyali ku nsi ne kimalibwawo: abantu, n’ensolo, na buli kitonde ekitambula ku nsi, n’ebinyonyi eby’omu bbanga ne bimalibwawo ku nsi. Nuuwa yekka n’abo be yali nabo mu lyato be baasigalawo.
24 水勢浩大,在地上共一百五十天。
Amataba gaamala ku nsi ennaku kikumi mu ataano.

< 創世記 7 >

The Great Flood
The Great Flood