< ՄԱՏԹԷՈՍ 21 >

1 Երբ մօտեցան Երուսաղէմի ու հասան Բեթփագէ, Ձիթենիներու լերան մօտ, Յիսուս ղրկեց երկու աշակերտ՝
Awo Yesu n’abayigirizwa be bwe baali basemberera Yerusaalemi nga batuuse kumpi n’ekibuga Besufaage ku lusozi lwa Zeyituuni, Yesu n’atuma babiri ku bayigirizwa be.
2 ըսելով անոնց. «Գացէ՛ք այդ ձեր դիմացի գիւղը, ու իսկոյն պիտի գտնէք կապուած էշ մը, եւ անոր հետ՝ աւանակ մը. արձակեցէ՛ք զանոնք ու բերէ՛ք ինծի:
N’abagamba nti, “Mugende mu kibuga ekiri mu maaso, bwe munaaba mwakakiyingira mujja kulaba endogoyi ng’esibiddwa awo wamu n’omwana gwayo. Muzisumulule muzireete wano.
3 Եթէ մէկը բան մը ըսէ ձեզի, ըսէ՛ք. “Տէրոջ պէտք են”, եւ իսկոյն պիտի ղրկէ զանոնք»:
Naye omuntu yenna bw’anaabaako ky’abagamba, mumuddamu nti, ‘Mukama waffe y’azeetaaga,’ amangwago ajja kuziweereza.”
4 Այս ամէնը կատարուեցաւ, որպէսզի իրագործուի մարգարէին միջոցով ըսուած խօսքը.
Kino kyabaawo okutuukiriza ebigambo nnabbi bye yayogera nti,
5 «Ըսէ՛ք Սիոնի աղջիկին. “Ահա՛ Թագաւորդ կու գայ քեզի, հեզ եւ հեծած իշու վրայ, իշու ձագի՝ աւանակի վրայ”»:
“Mubuulire omuwala wa Sayuuni nti, ‘Laba Kabaka wammwe ajja gye muli nga muwombeefu, nga yeebagadde omwana gw’endogoyi.’”
6 Աշակերտները գացին, եւ ըրին ինչպէս Յիսուս պատուիրած էր իրենց.
Awo abayigirizwa ababiri ne bagenda ne bakola nga Yesu bwe yabalagira.
7 բերին էշն ու աւանակը, դրին անոնց վրայ իրենց հանդերձները, եւ նստաւ անոնց վրայ:
Ne baleeta endogoyi n’omwana gwayo, ne baaliirako eminagiro gyabwe ku ndogoyi, n’agyebagala.
8 Ահագին բազմութիւն մը փռեց իր հանդերձները ճամբային վրայ. ուրիշներ ճիւղեր կը կտրէին ծառերէն ու կը տարածէին ճամբային վրայ:
Abantu bangi ne baaliira engoye zaabwe mu luguudo n’abalala ne batema amatabi g’emiti ne bagaalira mu luguudo.
9 Եւ առջեւէն գացող ու իրեն հետեւող բազմութիւնները կ՚աղաղակէին. «Ովսաննա՜ Դաւիթի Որդիին: Օրհնեա՜լ է ան՝ որ կու գայ Տէրոջ անունով: Ովսաննա՜ ամենաբարձր վայրերուն մէջ»:
Ebibiina ebyamukulembera, n’ebyo ebyamuva emabega ne bireekaana nti, “Ozaana Omwana wa Dawudi!” “Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.” “Ozaana waggulu ennyo!”
10 Երբ ան մտաւ Երուսաղէմ, ամբողջ քաղաքը շարժեցաւ եւ ըսաւ. «Ո՞վ է ասիկա»:
Awo Yesu bwe yayingira mu Yerusaalemi, ne wabaawo oluyoogaano mu kibuga kyonna nga beebuuza nti, “Ono ye ani?”
11 Բազմութիւնը ըսաւ. «Ա՛յս է Յիսուս մարգարէն՝ Գալիլեայի Նազարէթէն»:
Abaali mu kibiina ne baddamu nti, “Ono ye Yesu Nnabbi ava mu Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya.”
12 Յիսուս մտաւ Աստուծոյ տաճարը, դուրս հանեց բոլոր անոնք՝ որ տաճարին մէջ կը ծախէին ու կը գնէին, եւ տապալեց լումայափոխներուն սեղաններն ու աղաւնի ծախողներուն աթոռները,
Awo Yesu n’ayingira mu Yeekaalu n’agobamu abasuubuzi bonna n’avuunika emmeeza z’abaali bawaanyisa ensimbi n’entebe z’abaali batunda amayiba.
13 եւ ըսաւ անոնց. «Գրուած է. “Իմ տունս աղօթքի տուն պիտի կոչուի”, բայց դուք աւազակներու քարայր ըրիք զայն»:
N’abagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku y’abanyazi.’”
14 Կոյրեր ու կաղեր եկան իրեն՝ տաճարին մէջ, եւ բուժեց զանոնք:
Awo abazibe b’amaaso n’abalema ne bajja gy’ali mu Yeekaalu n’abawonya.
15 Երբ քահանայապետներն ու դպիրները տեսան անոր գործած սքանչելիքները, եւ մանուկները՝ որոնք տաճարին մէջ կ՚աղաղակէին. «Ովսաննա՜ Դաւիթի Որդիին», ընդվզեցան
Naye bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka bwe baalaba eby’ekitalo bye yakola, n’abaana abato abaali mu Yeekaalu nga baleekaanira waggulu nti, “Ozaana Omwana wa Dawudi!” ne banyiiga.
16 եւ ըսին անոր. «Կը լսե՞ս ի՛նչ կ՚ըսեն ատոնք»: Յիսուս ըսաւ անոնց. «Այո՛, բնաւ չէ՞ք կարդացած գրուածը. “Երախաներուն ու ծծկերներուն բերանով գովաբանութիւն կատարեցիր”»:
Ne bamubuuza nti, “Owulira bano bye bagamba?” Yesu n’abaddamu nti, “Mpulira. Temusomangako nti, “‘Abaana abato n’abawere abayonka balimutendereza!’”
17 Ապա ձգեց զանոնք, գնաց քաղաքէն դուրս՝ Բեթանիա, ու կեցաւ հոն գիշերը:
N’abaviira, n’afuluma mu kibuga n’agenda e Besaniya, n’asula eyo.
18 Առտուն, մինչ կը վերադառնար քաղաքը, անօթեցաւ:
Awo enkeera bwe yali ng’addayo mu kibuga n’alumwa enjala,
19 Ու ճամբան տեսնելով թզենի մը՝ քովը գնաց: Ոչինչ գտաւ անոր վրայ՝ տերեւներէն զատ, եւ ըսաւ անոր. «Ասկէ ետք ո՛չ մէկ պտուղ ըլլայ վրադ՝ յաւիտեան»: Թզենին անմի՛ջապէս չորցաւ: (aiōn g165)
n’alengera omutiini ku mabbali g’ekkubo, n’agutuukako n’atasangako ttiini okuggyako amakoola ameereere. N’agugamba nti, “Toddangayo okubala ebibala.” Amangwago omuti ne guwotoka. (aiōn g165)
20 Երբ աշակերտները տեսան, զարմացան ու ըսին. «Ի՜նչպէս թզենին անմի՛ջապէս չորցաւ»:
Abayigirizwa bwe baakiraba ne beewuunya ne beebuuza nti, “Omutiini guwotose gutya amangu?”
21 Յիսուս պատասխանեց անոնց. «Ճշմա՛րտապէս կը յայտարարեմ ձեզի. “Եթէ հաւատք ունենաք ու չտատամսիք, ո՛չ միայն պիտի ընէք այդ թզենիին եղածը, այլ նաեւ եթէ ըսէք այս լերան. "Ելի՛ր ու ծո՛վը նետուէ", պիտի ըլլայ”:
Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti bw’oba n’okukkiriza nga tobuusabuusa, oyinza okukola ekiri nga kino n’ebisingawo. Oyinza n’okulagira olusozi luno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ ne kibaawo.
22 Ամէն ինչ որ կը խնդրէք աղօթքի մէջ՝ հաւատքով, պիտի ստանաք»:
Buli kye munaasabanga nga mukkiriza, munaakiweebwanga.”
23 Երբ ան եկաւ տաճարը, քահանայապետներն ու ժողովուրդին երէցները մօտեցան անոր՝ մինչ կը սորվեցնէր, եւ ըսին. «Ի՞նչ իշխանութեամբ կ՚ընես այդ բաները. ո՞վ տուաւ քեզի այդ իշխանութիւնը»:
Awo Yesu bwe yakomawo mu Yeekaalu bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bajja gy’ali ne bamubuuza nti, “Buyinza ki obukukoza ebyo, era ani yakuwa obuyinza obwo?”
24 Յիսուս պատասխանեց անոնց. «Ես ալ ձեզի՛ հարցնեմ բան մը. եթէ ըսէք ինծի, ես ալ պիտի ըսեմ ձեզի թէ ի՛նչ իշխանութեամբ կ՚ընեմ այդ բաները:
Yesu n’addamu nti, “Mumale okunziramu ekibuuzo kyange kino, nange ndyoke mbabuulire obuyinza bwe nkozesa bino.
25 “Յովհաննէսի մկրտութիւնը ուրկէ՞ էր, երկինքէ՞ն՝ թէ մարդոցմէ”»: Անոնք կը մտածէին իրենց մէջ՝ ըսելով. «Եթէ պատասխանենք. “Երկինքէն”, պիտի ըսէ մեզի. “Հապա ինչո՞ւ չհաւատացիք անոր”:
Okubatiza kwa Yokaana kwava wa? Kwava mu ggulu oba mu bantu?” Ne basooka ne boogeraganyaamu bokka na bokka nti, “Bwe tugamba nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale lwaki temwamukkiriza?’
26 Իսկ եթէ պատասխանենք. “Մարդոցմէ”, բազմութենէն կը վախնանք, որովհետեւ բոլորն ալ մարգարէ կը համարեն Յովհաննէսը»:
Ate bwe tunaagamba nti, ‘Kwava mu bantu,’ tutya ekibiina, kubanga bonna bamanyi nga Yokaana yali nnabbi.”
27 Ուստի պատասխանեցին Յիսուսի. «Չենք գիտեր»: Ինք ալ ըսաւ անոնց. «Ես ալ չեմ ըսեր ձեզի թէ ի՛նչ իշխանութեամբ կ՚ընեմ այդ բաները»:
Bwe batyo ne baddamu nti, “Tetumanyi!” Yesu kwe kubaddamu nti, “Nange sijja kubabuulira obuyinza bwe nkozesa bino.”
28 «Ի՞նչ է ձեր կարծիքը. մարդ մը ունէր երկու զաւակ: Առաջինին ըսաւ. “Որդեա՛կ, գնա՛, գործէ՛ այսօր այգիիս մէջ”:
“Kale mulowooza mutya ku kino? Waaliwo omusajja eyalina abaana be babiri, n’agamba omubereberye nti, ‘Genda okole mu nnimiro y’emizabbibu leero.’
29 Ան ալ պատասխանեց. “Չեմ ուզեր երթալ”: Բայց յետոյ զղջաց ու գնաց:
“Omulenzi n’addamu nti, ‘ŋŋaanyi,’ naye oluvannyuma ne yeerowooza n’agenda.
30 Միւսին ալ գնաց եւ նոյնը ըսաւ: Ան ալ պատասխանեց. “Կ՚երթամ, տէ՛ր”, սակայն չգնաց:
“Ate kitaabwe n’agenda eri omulala n’amugamba ekintu kye kimu. Naye ye n’addamu nti, ‘Nnaagenda mukama wange.’ Naye n’atagenda.
31 Այս երկուքէն ո՞վ գործադրեց իր հօր կամքը»: Ըսին անոր. «Առաջի՛նը»: Յիսուս ըսաւ անոնց. «Ճշմա՛րտապէս կը յայտարարեմ ձեզի թէ մաքսաւորներն ու պոռնիկները ձեզմէ առաջ պիտի մտնեն Աստուծոյ թագաւորութիւնը:
“Kale, ku bombi aliwa eyagondera kitaawe?” Ne bamuddamu nti, “Omulenzi ow’olubereberye.” Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, abasolooza b’omusolo ne bamalaaya balibasooka okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
32 Արդարեւ Յովհաննէս արդարութեան ճամբայով եկաւ ձեզի, եւ դուք չհաւատացիք անոր. բայց մաքսաւորներն ու պոռնիկները հաւատացին անոր, իսկ դուք տեսաք եւ յետոյ չզղջացիք՝ որ հաւատայիք անոր»:
Kubanga Yokaana yajja ng’abuulira ekkubo ery’obutuukirivu naye ne mutamukkiriza. Wabula abasolooza b’omusolo ne bamalaaya baamukkiriza, newaakubadde nga mwakiraba, oluvannyuma temwenenya kumukkiririzaamu.”
33 «Լսեցէ՛ք ուրիշ առակ մըն ալ: Հողատէր մը կար՝ որ այգի մը տնկեց, ցանկով պատեց զայն, հնձան փորեց անոր մէջ, աշտարակ կառուցանեց, մշակներու յանձնեց զայն եւ ճամբորդեց:
“Muwulirize olugero olulala. Waaliwo omusajja ssemaka eyalina emizabbibu, n’agyetoolooza olukomera, n’asimamu essogolero, n’azimbamu n’omunaala, n’agipangisa abalimi, n’agenda olugendo.
34 Երբ պտուղի ատենը մօտեցաւ՝ իր ծառաները ղրկեց մշակներուն, որպէսզի ստանան անոր պտուղները:
Ekiseera ky’amakungula bwe kyatuuka, n’atuma abaddu be eri abalimi banone ebibala byamu.
35 Մշակները բռնեցին անոր ծառաները, մէկը ծեծեցին, միւսը սպաննեցին, ուրիշ մը քարկոծեցին:
“Naye abalimi ne badda ku baddu be, omu ne bamukuba, n’omulala ne bamutta, n’omulala ne bamukasuukirira amayinja.
36 Դարձեալ ծառաներ ղրկեց՝ առաջիններէն շատ, եւ անոնց ալ նոյնպէս ըրին:
Ate n’abatumira abaddu abalala nga bangiko okusinga abaasooka, era nabo ne babayisa mu ngeri y’emu nga bali abaasooka.
37 Ամենէն ետք իր որդին ղրկեց անոնց՝ ըսելով. “Թերեւս պատկառին որդիէս”:
Oluvannyuma n’abatumira mutabani we, ng’alowooza nti, ‘Bajja kumussaamu ekitiibwa.’
38 Բայց մշակները՝ երբ տեսան որդին՝ ըսին իրարու. “Ա՛յս է ժառանգորդը. եկէ՛ք սպաննենք զայն եւ տիրանանք անոր ժառանգութեան”:
“Naye abalimi bwe baalaba omwana ng’ajja ne bateesa nti, ‘Ono y’agenda okusika, ka tumutte, ebyobusika bwe biriba byaffe!’
39 Ու բռնեցին զայն, այգիէն դուրս հանեցին եւ սպաննեցին:
Bwe batyo ne bamufulumya ebweru w’ennimiro y’emizabbibu ne bamutta.
40 Ուրեմն երբ այգիին տէրը գայ, ի՞նչ պիտի ընէ այդ մշակներուն»:
Kale nannyini nnimiro y’emizabbibu bw’alikomawo alibakola atya?”
41 Ըսին իրեն. «Չարաչար պիտի կորսնցնէ այդ չարերը, եւ այգին պիտի յանձնէ ուրիշ մշակներու, որոնք պտուղները իրենց ատենին պիտի տան իրեն»:
Ne bamuddamu nti, “Abantu abo ababi bwe batyo alibazikiririza ddala, ennimiro y’emizabbibu n’agipangisa abalimi abalala abanaamuwanga ebibala mu ntuuko zaabyo.”
42 Յիսուս ըսաւ անոնց. «Բնաւ չէ՞ք կարդացեր Գիրքին մէջ. “Այն քարը՝ որ կառուցանողները մերժեցին, անիկա՛ եղաւ անկիւնաքարը: Ասիկա Տէրոջմէ՛ն եղաւ, եւ սքանչելի է մեր աչքերուն”:
Awo Yesu n’ababuuza nti, “Temusomanga ku Kyawandiikibwa kino nti, “‘Ejjinja abazimbi lye baagaana lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda. Kino kyava eri Mukama era kya kyewuunyo.’
43 Ուստի կը յայտարարեմ ձեզի. “Աստուծոյ թագաւորութիւնը պիտի առնուի ձեզմէ, ու պիտի տրուի այնպիսի ազգի մը՝ որ անոր պտուղները բերէ”:
“Kyenva mbagamba nti, Obwakabaka bwa Katonda bulibaggyibwako ne buweebwa eggwanga eribala ebibala byabwo.
44 Ո՛վ որ իյնայ այս քարին վրայ՝ պիտի կոտրտի, եւ որո՛ւն վրայ որ իյնայ՝ պիտի փսորէ զայն»:
Oyo alyesitala n’agwa ku jjinja eryo, alibetentebwa, na buli gwe lirigwako lirimubetenta.”
45 Երբ քահանայապետներն ու Փարիսեցիները լսեցին անոր առակները, ըմբռնեցին որ իրենց մասին կը խօսէր.
Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo bwe baabiwulira ne bategeera nga Yesu bo b’ayogerako.
46 եւ կը ջանային բռնել զայն: Բայց բազմութենէն կը վախնային, քանի որ իբր մարգարէ կ՚ընդունէին զայն:
Ne baagala bamukwate, naye ne batya ekibiina, kubanga abantu Yesu baamukkiriza, nga nnabbi.

< ՄԱՏԹԷՈՍ 21 >