< ՂՈԻԿԱՍ 7 >

1 Երբ լմնցուց իր բոլոր խօսքերը ժողովուրդին ականջներուն ըսելը՝ մտաւ Կափառնայում:
Awo Yesu bwe yamala okutegeeza abantu ebigambo ebyo byonna n’ayingira mu Kaperunawumu.
2 Հարիւրապետի մը ծառան, որ սիրելի էր իրեն, ծանրօրէն հիւանդացած ըլլալով՝ վախճանելու մօտ էր:
Mu kiseera ekyo, omukulu w’ekitongole ky’abaserikale ekikumi, yalina omuddu we gwe yali ayagala ennyo, yali mulwadde nnyo ng’ali kumpi n’okufa.
3 Երբ լսեց Յիսուսի մասին, Հրեաներէն քանի մը երէցներ ղրկելով՝ թախանձեց անոր, որ գայ եւ ապրեցնէ իր ստրուկը:
Omukulu w’ekitongole oyo bwe yawulira ebifa ku Yesu, n’atuma abamu ku bakulembeze b’Abayudaaya eri Yesu bamusabe ajje awonye omuddu we.
4 Անոնք ալ եկան Յիսուսի, փութաջանութեամբ կ՚աղաչէին անոր ու կ՚ըսէին. «Ան՝ որուն պիտի ընես այս շնորհքը՝ արժանի է,
Bwe baatuuka eri Yesu ne bamwegayirira nnyo nga bagamba nti, “Omusajja ono asaanira okuyambibwa nga bw’akusabye,
5 որովհետեւ կը սիրէ մեր ազգը, եւ ի՛նք կառուցանեց ժողովարանը մեզի համար»:
kubanga ayagala nnyo eggwanga lyaffe, era ye yatuzimbira ne kkuŋŋaaniro lyaffe!”
6 Յիսուս գնաց անոնց հետ, ու երբ տունէն շատ հեռու չէր, հարիւրապետը քանի մը բարեկամներ ղրկեց եւ ըսաւ անոր. «Տէ՛ր, մի՛ անհանգստանար, որովհետեւ ես արժանի չեմ որ դուն մտնես իմ յարկիս տակ.
Bw’atyo Yesu n’agenda nabo. Naye Yesu bwe yali akyali mu kkubo nga tannatuuka ku nnyumba, omukulu w’ekitongole n’atuma mikwano gye eri Yesu ng’agamba nti, “Mukama wange, teweeteganya bw’otyo, kubanga nze sisaanira kukusembeza mu nju yange.
7 ուստի ես ալ արժանի չնկատեցի զիս՝ գալու քեզի. հապա ըսէ՛ խօսք մը՝՝, ու ծառաս պիտի բժշկուի:
Era kyenavudde nnema okujja gy’oli nze nzennyini. Naye yogera bwogezi ekigambo, omuweereza wange anaawona!
8 Որովհետեւ ես ալ իշխանութեան տակ դրուած մարդ մըն եմ, եւ զինուորներ ունիմ իմ հրամանիս տակ: Ասոր կ՚ըսեմ. “Գնա՛”, ու կ՚երթայ. եւ միւսին. “Եկո՛ւր”, ու կու գայ. եւ ստրուկիս. “Ըրէ՛ այս բանը”, ու կ՚ընէ»:
Kubanga nange nnina abakulu abantwala, ate waliwo n’abali wansi wange be nninako obuyinza. Bwe ŋŋamba ono nti, ‘Genda,’ agenda, n’omulala nti, ‘Jjangu,’ ajja; n’omuddu wange nti, ‘Kola kino,’ akikola.”
9 Յիսուս լսելով ասիկա՝ զարմացաւ անոր վրայ, եւ դառնալով իրեն հետեւող բազմութեան՝ ըսաւ. «Ձեզի կը յայտարարեմ թէ Իսրայէլի մէջ անգամ ես չգտայ ա՛յսչափ մեծ հաւատք»:
Yesu bwe yawulira ebigambo ebyo n’amwewuunya nnyo, n’akyukira ekibiina ky’abantu abaali bamugoberera n’agamba nti, “Mbagamba nti sirabanga kukkiriza kunene nga kuno, wadde mu Isirayiri.”
10 Պատգամաւորները տուն վերադարձան, եւ առողջացած գտան հիւանդ ծառան:
Awo omukulu w’ekitongole be yatuma eri Yesu bwe baddayo mu nnyumba ye, baasanga omuddu awonye.
11 Հետեւեալ օրը կ՚երթար քաղաք մը՝ որուն անունը Նային էր: Անոր հետ կ՚երթային իր աշակերտներէն շատերը, նաեւ մեծ բազմութիւն մը:
Awo ku lunaku olwaddirira, Yesu n’agenda n’abayigirizwa be n’ekibiina kinene ne kimugoberera mu kibuga ekiyitibwa Nayini.
12 Երբ մօտեցաւ քաղաքին դրան, ահա՛ մեռել մը դուրս կը հանէին, իր մօր մէկ հատիկ որդին: Ան այրի էր, ու քաղաքէն մեծ բազմութիւն մը անոր հետ էր:
Bwe yali asemberera omulyango gw’ekibuga, laba, abantu ne bafuluma mu kibuga nga beettisse omulambo gw’omuvubuka eyali mutabani w’omukazi nnamwandu, ate nga ye mwana we yekka. Ekibiina ky’abantu abaali bava mu kibuga baali bangi nnyo.
13 Տէրը տեսնելով զայն՝ գթաց անոր վրայ եւ ըսաւ անոր. «Մի՛ լար»:
Awo Mukama waffe bwe yalaba nnamwandu n’amusaasira, n’amugamba nti, “Tokaaba.”
14 Ու մօտենալով՝ դպաւ դագաղին. կրողները կանգ առին, եւ ըսաւ. «Երիտասա՛րդ, քեզի՛ կ՚ըսեմ. “Ոտքի՛ ելիր”»:
N’asemberera essanduuko, abaali bagisitudde ne bayimirira, Yesu n’ayogera nti, “Omuvubuka, nkulagira nti ggolokoka!”
15 Մեռելն ալ ելաւ, նստաւ, եւ սկսաւ խօսիլ. Յիսուս տուաւ զայն իր մօր:
Eyali afudde n’atuula era n’atandika okwogera. Yesu n’amuddiza nnyina.
16 Վախը համակեց բոլորը, ու Աստուած կը փառաբանէին՝ ըսելով. «Մեծ մարգարէ մը ելած է մեր մէջ, եւ Աստուած այցելած է իր ժողովուրդին»:
Buli omu n’ajjula entiisa, ne batendereza Katonda nga bagamba nti, “Nnabbi ow’amaanyi atulabikidde, era Katonda akyalidde abantu be.”
17 Անոր մասին այս տարաձայնութիւնը տարածուեցաւ ամբողջ Հրէաստանի մէջ, ու ամբողջ շրջակայքը:
Ebigambo ebyo ne bibuna Buyudaaya yonna n’okwetooloola emiriraano gyayo.
18 Յովհաննէսի աշակերտները պատմեցին իրեն այս բոլոր բաներուն մասին:
Awo abayigirizwa ba Yokaana Omubatiza ne bategeeza Yokaana ebintu ebyo byonna. Yokaana n’ayita abayigirizwa be babiri,
19 Յովհաննէս ալ իր աշակերտներէն երկուքը կանչեց իրեն ու ղրկեց Յիսուսի՝ ըսելով. «Դո՞ւն ես ան՝ որ պիտի գար, թէ ուրիշի՛ մը սպասենք»:
n’abatuma eri Mukama waffe okumubuuza nti, “Ggwe wuuyo gwe tusuubira okujja, oba tulindirireyo omulala?”
20 Երբ այդ մարդիկը եկան անոր քով՝ ըսին. «Յովհաննէս Մկրտիչը մեզ ղրկեց քեզի՝ ըսելով. “Դո՞ւն ես ան՝ որ պիտի գար, թէ ուրիշի՛ մը սպասենք”»:
Abayigirizwa ba Yokaana bwe baatuuka eri Yesu, ne bamutegeeza nti, “Yokaana Omubatiza atutumye okukubuuza nti, Ggwe wuuyo ajja oba tulindirirayo omulala?”
21 Նոյն ժամուն շատեր բժշկեց իրենց ախտերէն, տանջանքներէն եւ չար ոգիներէն, ու շատ կոյրերու տեսութիւն շնորհեց:
Mu kiseera ekyo Yesu n’awonya endwadde nnyingi eza buli ngeri: n’abalema, n’abaaliko emyoyo emibi, n’azibula n’abazibe b’amaaso.
22 Ապա Յիսուս պատասխանեց անոնց. «Գացէ՛ք, պատմեցէ՛ք Յովհաննէսի ինչ որ տեսաք եւ լսեցիք, թէ կոյրերը կը տեսնեն, կաղերը կը քալեն, բորոտները կը մաքրուին, խուլերը կը լսեն, մեռելները յարութիւն կ՚առնեն, աղքատներուն կ՚աւետարանուի:
Abaatumibwa n’abaddamu nti, “Muddeeyo eri Yokaana mumutegeeze byonna bye muwulidde ne bye mulabye. Abazibe b’amaaso bazibulwa amaaso ne balaba, n’abalema batambula, n’abagengebalongoosebwa, n’abaggavu b’amatu gagguka ne bawulira, n’abafu bazuukizibwa, era n’abaavu babuulirwa Enjiri.
23 Երանի՜ անոր՝ որ չի գայթակղիր իմ պատճառովս»:
Era alina omukisa oyo atanneesittalako.”
24 Երբ Յովհաննէսի պատգամաւորները գացին, Յիսուս սկսաւ բազմութիւններուն խօսիլ Յովհաննէսի մասին. «Ի՞նչ տեսնելու գացիք անապատը. հովէն տատանող եղէ՞գ մը:
Awo ababaka ba Yokaana bwe baagenda, Yesu n’abuulira ekibiina ebikwata ku Yokaana. N’ababuuza nti, “Bwe mwagenda mu ddungu, mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa n’empewo?
25 Հապա ի՞նչ տեսնելու գացիք. փափուկ հանդերձներ հագած մա՞րդ մը: Ահա՛ անոնք՝ որ փառաւոր պատմուճաններով ու փափկութեան մէջ են, թագաւորական պալատնե՛րն են:
Naye mwagenderera kulaba ki? Omusajja ayambadde engoye ezinekaaneka? Laba abambadde engoye ezinekaaneka, nga babeera mu bulamu bwa kikungu era babeera mu mbiri.
26 Հապա ի՞նչ տեսնելու գացիք. մարգարէ՞ մը: Այո՛, կը յայտարարեմ ձեզի, աւելի՛ քան մարգարէ մը:
Naye mwagenderera kulaba ki? Nnabbi? Weewaawo ka mbabuulire, oyo asinga ne nnabbi.
27 Որովհետեւ ասիկա՛ է ան՝ որուն մասին գրուած է. “Ահա՛ ես կը ղրկեմ իմ պատգամաւորս քու առջեւէդ. ան պիտի պատրաստէ ճամբադ՝ քու առջեւդ”:
Y’oyo ebyawandiikibwa gwe byogerako nti, “‘Laba, ntuma omubaka wange okukukulembera, y’alikuteekerateekera ekkubo lyo mu maaso go.’”
28 Արդարեւ կը յայտարարեմ ձեզի. “Կիներէ ծնածներուն մէջ՝ Յովհաննէս Մկրտիչէն աւելի մեծ մարգարէ չկայ”. սակայն Աստուծոյ թագաւորութեան մէջ՝ ամենէն պզտիկը անկէ աւելի մեծ է»:
“Mbagamba nti, mu bantu bonna abaali bazaaliddwa abakazi, tewali mukulu wa kitiibwa kukira Yokaana, naye ate oyo asembayo mu bwakabaka bwa Katonda asinga Yokaana ekitiibwa.”
29 Երբ ամբողջ ժողովուրդն ու մաքսաւորները լսեցին, արդարացուցին Աստուած՝ որ Յովհաննէսի մկրտութեամբ մկրտուեցան:
Abantu bonna, awamu n’abasolooza b’omusolo, bwe baawulira ebigambo bya Yesu ebyo, ne batendereza Katonda, kubanga baali babatiziddwa mu kubatizibwa kwa Yokaana.
30 Բայց Փարիսեցիներն ու օրինականները անարգեցին Աստուծոյ ծրագիրը իրենց հանդէպ՝ անկէ չմկրտուելով:
Naye Abafalisaayo n’abayigiriza b’amateeka ne bagaana ebyo Katonda bye yabategekera, kubanga tebaabatizibwa Yokaana.
31 «Ուրեմն որո՞ւ նմանցնեմ այս սերունդին մարդիկը, եւ որո՞ւ կը նմանին:
Awo Yesu n’abuuza nti, “Abantu ab’omulembe guno mbageraageranye na ki? Bafaanana batya?
32 Կը նմանին մանուկներու, որոնք հրապարակները նստելով՝ կը գոչեն իրարու եւ կ՚ըսեն. “Սրինգ նուագեցինք ձեզի՝ ու չպարեցիք, ողբացինք ձեզի՝ ու չլացիք”:
Bafaanana ng’abaana abato abazannya emizannyo gyabwe mu katale, nga bagambagana nti, “‘Bwe twabafuuyira omulere, temwazina, Bwe twayimba oluyimba olw’okukungubaga, temwakungubaga.’
33 Որովհետեւ Յովհաննէս Մկրտիչը եկաւ, ո՛չ հաց կ՚ուտէր եւ ո՛չ գինի կը խմէր, ու կ՚ըսէիք. “Դեւ կայ անոր մէջ”:
Kubanga Yokaana Omubatiza bwe yajja teyalyanga mmere wadde okunywa omwenge, ne mugamba nti, ‘Aliko dayimooni!’
34 Մարդու Որդին եկաւ, կ՚ուտէ եւ կը խմէ, ու կ՚ըսէք. “Ահա՛ շատակեր ու գինեսէր մարդ մը, մաքսաւորներու եւ մեղաւորներու բարեկամ”:
Omwana w’Omuntu azze ng’alya emmere era ng’anywa ne mugamba nti, ‘Laba wa mululu era mutamiivu, mukwano gw’abasolooza b’omusolo n’aboonoonyi!’
35 Եւ իմաստութիւնը արդարացաւ իր բոլոր զաւակներով»:
Naye amagezi geeragira mu butuukirivu olw’abaana baago bonna.”
36 Փարիսեցիներէն մէկը կը թախանձէր՝ որ ան իրեն հետ հաց ուտէ: Ան ալ մտաւ Փարիսեցիին տունը ու սեղան նստաւ:
Awo omu ku Bafalisaayo n’ayita Yesu ku kijjulo, Yesu n’ayingira mu nnyumba, n’atuula ku mmeeza.
37 Քաղաքին մէջ մեղաւոր կին մը կար. երբ գիտցաւ թէ ան սեղան նստած է Փարիսեցիին տունը, անուշահոտ օծանելիքի ալապաստրէ շիշ մը բերաւ,
Awo omukazi ow’omu kibuga ekyo nga mwonoonyi, eyali ategedde nga Yesu ali mu nju eyo ey’Omufalisaayo, n’aleeta eccupa y’amafuta ag’akaloosa.
38 լալով կեցաւ անոր ոտքերուն քով՝ ետեւի կողմը, եւ սկսաւ արցունքով թրջել անոր ոտքերը: Իր գլուխին մազերով կը սրբէր ու կը համբուրէր անոր ոտքերը, եւ օծանելիքով կ՚օծէր:
N’ayimirira awali Yesu, n’akaaba, amaziga ne gatonnya ku bigere bya Yesu ne bitoba. Omukazi n’abisiimuuza enviiri ze, era n’abinywegera; n’abifukako amafuta ag’akaloosa.
39 Երբ զինք հրաւիրող Փարիսեցին տեսաւ, ըսաւ ինքնիրեն. «Եթէ ասիկա մարգարէ ըլլար, պիտի գիտնար թէ ո՛վ եւ ինչպիսի՛ կին է իրեն դպչողը, որովհետեւ մեղաւոր է»:
Naye Omufalisaayo eyayita Yesu, ebyo bwe yabiraba, n’agamba munda ye nti, “Singa omuntu ono abadde nnabbi, yanditegedde omukazi amukwatako kyali era nga bw’ali omwonoonyi!”
40 Յիսուս պատասխանեց անոր. «Սիմո՛ն, բա՛ն մը ունիմ քեզի ըսելու»: Ան ալ ըսաւ. «Ըսէ՛, վարդապե՛տ»:
Awo Yesu n’amugamba nti, “Simooni, nnina kye njagala okukubuulira.” Simooni n’addamu nti, “Omuyigiriza, mbuulira.”
41 Յիսուս ըսաւ. «Փոխատու մը ունէր երկու պարտապան. մէկը հինգ հարիւր դահեկան կը պարտէր, ու միւսը՝ յիսուն:
“Waaliwo abantu babiri, omuwozi w’ensimbi be yali abanja. Omu yali amubanja ddinaali ebikumi bitaano, n’omulala ddinaali amakumi ataano.
42 Երկուքի՛ն ալ շնորհեց պարտքը, քանի կարողութիւն չունէին վճարելու: Հիմա ըսէ՛, անոնցմէ ո՞վ աւելի պիտի սիրէ զայն»:
Naye ku bombi nga tekuliiko asobola kusasula bbanja lye. Eyali ababanja kwe kubasonyiwa. Kale, ku bombi aluwa alisinga okumwagala?”
43 Սիմոն պատասխանեց. «Կ՚ենթադրեմ թէ ա՛ն՝ որուն շատ շնորհեց»: Ան ալ ըսաւ անոր. «Շիտա՛կ դատեցիր»:
Simooni n’addamu nti, “Ndowooza oyo gwe yasonyiwa ebbanja erisingako obunene.” Yesu n’amugamba nti, “Olamudde bulungi.”
44 Ու դառնալով դէպի այդ կինը՝ ըսաւ Սիմոնի. «Կը տեսնե՞ս այս կինը: Ես տունդ մտայ, եւ դուն ջուր չտուիր ոտքերուս. բայց ասիկա իր արցունքով թրջեց ոտքերս, եւ իր մազերով սրբեց:
N’alyoka akyukira omukazi n’agamba Simooni nti, “Omukazi ono omulaba? Bwe nayingidde mu nnyumba yo, tewampadde mazzi ga kunaaba ku bigere byange. Naye abinaazizza n’amaziga ge n’abisiimuula n’enviiri ze.
45 Դուն ինծի համբո՛յր մը չտուիր, բայց ասիկա հոս մտնելէս ի վեր՝ չդադրեցաւ ոտքերս համբուրելէ:
Tewannyanirizza na kunnywegera, naye anywegedde ebigere byange emirundi mingi okuva lwe nayingidde.
46 Դուն գլուխս չօծեցիր անուշահոտ իւղով, բայց ասիկա ոտքե՛րս օծեց անուշահոտ օծանելիքով:
Tewansiize mafuta ku mutwe gwange, naye ye asiize ebigere byange amafuta ag’akaloosa.
47 Ուստի կը յայտարարեմ քեզի. “Ասոր բազմաթիւ մեղքերը ներուած են, որովհետեւ շատ սիրեց. բայց ա՛ն՝ որուն քիչ կը ներուի, անիկա քիչ կը սիրէ”.
Noolwekyo nkutegeeza nti omukazi ono asonyiyiddwa ebibi bye ebingi kubanga okwagala kwe kungi, naye oyo asonyiyibwa ebitono n’okwagala kwe kuba kutono.”
48 Եւ ըսաւ անոր. «Քու մեղքերդ ներուած են»:
Awo Yesu n’agamba omukazi nti, “Osonyiyiddwa ebibi byo.”
49 Իրեն հետ սեղան նստողները սկսան ըսել իրենց մէջ. «Ո՞վ է ասիկա՝ որ մեղքերն ալ կը ներէ»:
Abo abaali ne Yesu ku mmeza ne beebuuzaganya nti, “Ono ye ani asonyiwa n’ebibi?”
50 Իսկ ինք ըսաւ կնոջ. «Հաւատքդ փրկեց քեզ, գնա՛ խաղաղութեամբ»:
Yesu n’agamba omukazi nti, “Okukkiriza kwo kukulokodde, genda mirembe.”

< ՂՈԻԿԱՍ 7 >