< ԳՈՐԾՔ ԱՌԱՔԵԼՈՑ 21 >

1 Երբ անջատուեցանք անոնցմէ ու մեկնեցանք, ուղիղ ընթացքով գացինք Կով, ու միւս օրը՝ Հռոդոն, անկէ ալ՝ Պատարա:
Awo bwe twamala okusiibulagana ne tuseeyeeya butereevu okutuuka e Koosi. Olunaku olwaddirira ne tutuuka e Rodise, we twava okulaga e Patala.
2 Եւ գտնելով նաւ մը՝ որ կ՚երթար Փիւնիկէ, մտանք անոր մէջ ու մեկնեցանք:
Okuva awo twagendera mu kyombo ekyali kigenda mu Foyiniikiya.
3 Երբ Կիպրոս երեւցաւ, թողուցինք զայն ձախ կողմը, նաւարկեցինք դէպի Սուրիա ու հասանք Տիւրոս, որովհետեւ նաւը հո՛ն պիտի պարպէր իր ապրանքը:
Ne tulengera ekizinga Kupulo, ne tukiyitako nga tukirese ku mukono gwaffe ogwa kkono, ne tuseeyeeya ne tugoba ku mwalo gw’e Ttuulo mu Siriya, kubanga ekyombo we kyali kigenda okutikkulirwa ebintu.
4 Գտնելով աշակերտները՝ եօթը օր մնացինք հոն. անոնք Սուրբ Հոգիով կ՚ըսէին Պօղոսի՝ որ չբարձրանայ Երուսաղէմ:
Bwe twava mu kyombo ne tunoonya abayigirizwa ne tubeera nabo ennaku musanvu. Mwoyo Mutukuvu n’ayogerera mu bayigirizwa abo ne balabula Pawulo aleme kugenda Yerusaalemi.
5 Բայց երբ այդ օրերը լրացան, մեկնեցանք. երբ կ՚երթայինք՝ բոլորն ալ, կիներով ու զաւակներով, ուղեկցեցան մեզի մինչեւ քաղաքէն դուրս, եւ ծնրադրելով ծովեզերքը՝ աղօթեցինք:
Ennaku ezo bwe zaggwaako ne tusitula. Abayigirizwa ne bakyala baabwe n’abaana baabwe ne batuwerekerako okutuggya mu kibuga okututuusiza ddala ku mwalo. Awo ffenna ne tufukamira ne tusaba.
6 Ապա հրաժեշտ առնելով իրարմէ՝ մենք նաւ ելանք, անոնք ալ վերադարձան իրենց տուները:
Bwe twamala okusaba ne tusiibulagana. Ffe ne tuyingira ekyombo kyaffe, ne bannaffe ne baddayo ewaabwe.
7 Իսկ մենք՝ աւարտելով Տիւրոսէն սկսած նաւարկութիւնը՝ հասանք Պտողեմայիս, բարեւեցինք եղբայրները, եւ օր մը մնացինք անոնց քով:
Bwe twava e Ttuulo ne tugoba e Potolemaayi, ne tulamusaganya n’abakkiriza, ne tumala nabo olunaku lumu.
8 Հետեւեալ օրը՝ մեկնեցանք ու եկանք Կեսարիա, եւ մտնելով Փիլիպպոս աւետարանիչին տունը՝ որ եօթը սարկաւագներէն մէկն էր՝ մնացինք անոր քով:
Enkeera ne tweyongerayo okutuuka e Kayisaliya, ne tubeera mu maka ga Firipo Omubuulizi w’Enjiri, eyali omu ku badiikoni omusanvu abaasooka.
9 Ան ունէր չորս կոյս աղջիկներ, որոնք կը մարգարէանային:
Yalina abaana be abawala abaali batannafumbirwa bana nga balina ekirabo eky’obunnabbi.
10 Քանի որ շատ օրեր մնացինք հոն, Հրէաստանէն մարգարէ մը իջաւ՝ Ագաբոս անունով.
Ne tumalawo ennaku eziwerako, ne wajja nnabbi erinnya lye Agabo ng’ava Buyudaaya.
11 երբ եկաւ մեզի, առաւ Պօղոսի գօտին, կապեց իր ձեռքերն ու ոտքերը, եւ ըսաւ. «Սա՛ կը յայտարարէ Սուրբ Հոգին. “Երուսաղէմի մէջ, Հրեաները ա՛յսպէս պիտի կապեն այն մարդը՝ որունն է այս գօտին, ու պիտի մատնեն հեթանոսներուն ձեռքը”»:
Bwe yajja okutulaba, n’addira olukoba lwa Pawulo ne yeesiba amagulu n’emikono, n’agamba nti, “Mwoyo Mutukuvu ayogera nti, ‘Bw’ati nannyini lukoba luno bw’alisibwa Abayudaaya mu Yerusaalemi ne bamuwaayo mu mikono gy’Abamawanga.’”
12 Երբ լսեցինք այս բաները, աղաչեցինք՝ մե՛նք ալ, տեղացինե՛րն ալ, որ չբարձրանայ Երուսաղէմ:
Bwe twawulira ebigambo ebyo ffenna awamu n’abatuuze b’omu kitundu ekyo ne twegayirira Pawulo aleme kugenda Yerusaalemi.
13 Իսկ Պօղոս պատասխանեց. «Ի՞նչ կ՚ընէք. ինչո՞ւ կու լաք ու կը ճմլէք իմ սիրտս. քանի որ ես պատրաստ եմ Երուսաղէմի մէջ ո՛չ միայն կապուելու, հապա նաեւ մեռնելու՝ Տէր Յիսուսի անունին համար»:
Naye Pawulo n’addamu nti, “Lwaki mukaaba n’okwagala okunnafuya omutima? Kubanga seeteeseteese kusibibwa kyokka, naye neetegese n’okufiira mu Yerusaalemi olw’erinnya lya Mukama waffe Yesu.”
14 Երբ ինք չհամոզուեցաւ, հանդարտ կեցանք եւ ըսինք. «Տէրոջ կամքը թող ըլլայ»:
Bwe twalaba nga tekisoboka kumukkirizisa butagenda, ne tubivaako, ne tugamba nti, “Mukama ky’ayagala kye kiba kikolebwa.”
15 Այդ օրերէն ետք՝ պատրաստուեցանք ու բարձրացանք Երուսաղէմ:
Bwe waayitawo ennaku ntono ne tusiba ebintu byaffe, ne tusitula okulaga mu Yerusaalemi.
16 Կեսարացի աշակերտներէն ալ ոմանք եկան մեզի հետ, ու տարին մեզ առաջին օրերէն աշակերտ եղած՝՝ Կիպրացի Մնասոնի, որուն քով պիտի հիւրընկալուէինք:
Abamu ku bayigirizwa ab’e Kayisaliya ne batuwerekerako, bwe twatuuka ne tubeera mu maka ga Munasoni, edda eyabeeranga e Kupulo era nga yali omu ku bantu abaasooka okukkiriza.
17 Երբ մտանք Երուսաղէմ, եղբայրները ուրախութեամբ ընդունեցին մեզ:
Bwe twatuuka mu Yerusaalemi abooluganda ne batwaniriza n’essanyu lingi nnyo.
18 Հետեւեալ օրը Պօղոս մեզի հետ գնաց Յակոբոսի քով, ու բոլոր երէցներն ալ եկան:
Awo enkeera ffenna ne tugenda ne Pawulo ng’agenda okulaba Yakobo, n’abakadde b’Ekkanisa y’omu Yerusaalemi bonna baaliwo.
19 Բարեւելէ ետք զանոնք՝ մէկ առ մէկ կը պատմէր ինչ որ Աստուած ըրաւ հեթանոսներուն մէջ՝ իր սպասարկութեամբ:
Okulamusaganya bwe kwaggwa, Pawulo n’abategeeza kinnakimu byonna Katonda bye yamukozesa ng’aweereza mu baamawanga.
20 Անոնք ալ լսելով՝ փառաւորեցին Տէրը, եւ ըսին իրեն. «Կը տեսնե՞ս, եղբա՛յր, քանի՜ բիւրաւոր հաւատացեալ Հրեաներ կան: Բոլորն ալ Օրէնքին նախանձախնդիր են,
Bwe baabiwulira byonna ne batendereza Katonda, naye ne bagamba Pawulo nti, “Owooluganda, omanyi ng’Abayudaaya nkumi na nkumi bakkiriza, era nga bonna bakakatira ku kimu nti Abayudaaya bonna wadde abakkiriza basaana okugoberera amateeka, n’empisa, n’obulombolombo, eby’Ekiyudaaya.
21 բայց տեղեկացան քու մասիդ՝ թէ հեթանոսներուն մէջ եղող բոլոր Հրեաներուն կը սորվեցնես հրաժարիլ Մովսէսէն, ըսելով որ չթլփատեն իրենց զաւակները եւ չընթանան սովորութիւններուն համաձայն:
Baategeezebwa nti oyigiriza Abayudaaya bonna abali mu Bamawanga okuleka amateeka ga Musa baleme okukomola abaana baabwe wadde okugoberera empisa z’Ekiyudaaya.
22 Ուրեմն ի՞նչ պիտի ըլլայ. անշուշտ բազմութիւն պիտի համախմբուի, որովհետեւ պիտի լսեն թէ եկած ես:
Kale kaakano kiki ekinaakolebwa? Kubanga awatali kubuusabuusa bajja kutegeera nti ozze.
23 Ուստի ըրէ՛ ինչ որ կ՚ըսենք քեզի: Մեր քով չորս մարդիկ կան՝ որոնք ուխտ ըրած են.
Kale waliwo wano abasajja bana abali ku kirayiro, abateekateeka okumwa emitwe gyabwe nga beerongoosa.
24 ա՛ռ զանոնք, մաքրագործէ՛ դուն քեզ՝ իրենց հետ, եւ վճարէ՛ անոնց ծախսը՝ որ ածիլեն իրենց գլուխը. որպէսզի բոլորն ալ գիտնան թէ սխալ են քու մասիդ իրենց ստացած տեղեկութիւնները, հապա դո՛ւն ալ մեզի հետ կ՚ընթանաս՝ պահելով Օրէնքը:
Genda nabo mu Yeekaalu weerongooseze wamu nabo, era obasasulire ensimbi ez’okumwa emitwe gyabwe. Kale buli omu ajja kukiraba era abantu bonna bajja kutegeera nti okiriziganya n’okukuuma amateeka, n’ebyo bye bakwogerako tebiriimu nsa.
25 Բայց հաւատքը ընդունող հեթանոսներուն մասին՝ մենք գրեցինք, եզրակացնելով որ անոնք բնա՛ւ չպահեն այսպիսի բաներ, բայց միայն զգուշանան կուռքերու զոհուածէ, արիւնէ, խեղդուածէ ու պոռնկութենէ»:
Ku nsonga z’Abamawanga abakkiriza, twabawandikira nga tubagamba baleme kugoberera bulombolombo bwa Kiyudaaya n’akatono wabula ebyo bye twassa mu bbaluwa yaffe era bye bino; obutalya nnyama ya bisolo ebiweereddwayo eri bakatonda abalala, n’obutalya ebitugiddwa oba okulya omusaayi, era n’okwewala obwenzi.”
26 Այն ատեն Պօղոս առաւ այդ մարդիկը, եւ հետեւեալ օրը՝ անոնց հետ մաքրագործուելէ ետք՝ մտաւ տաճարը իրենց մաքրագործումի օրերուն ամբողջացումը յայտարարելու համար, թէ ե՛րբ ընծայ պիտի մատուցանուէր իրենցմէ իւրաքանչիւրին համար:
Ku lunaku olwaddirira Pawulo n’atwala abasajja okwerongoosa, naye ne yeerongoosa nabo. N’ayingira mu Yeekaalu okutegeera olunaku ekiseera ky’okwerongoosa eky’ennaku omusanvu we kiriggweerako, olwo buli omu alyoke atwaleyo ekiweebwayo kye.
27 Եօթը օրերը լրանալու մօտ էին, երբ ասիացի Հրեաները՝ տեսնելով զայն տաճարին մէջ՝ խառնակեցին ամբողջ բազմութիւնը, եւ անոր վրայ ձեռք բարձրացնելով՝ կ՚աղաղակէին.
Awo ekiseera eky’ennaku omusanvu bwe kyali kiri kumpi okuggwaako, ne wabaawo Abayudaaya abaava mu Asiya ne balaba Pawulo mu Yeekaalu, ne basasamaza ekibiina kyonna, ne bakwata Pawulo
28 «Իսրայելացի՛ մարդիկ, օգնութեա՛ն հասէք: Ա՛յս է այն մարդը, որ ամէնուրեք կը սորվեցնէ բոլորին՝ ժողովուրդին, Օրէնքին եւ այս տեղին դէմ. նոյնիսկ Յոյներ ալ մտցուց տաճարին մէջ ու պղծեց այս սուրբ տեղը»
nga bwe baleekaana nti, “Abasajja Abayisirayiri! Mutuyambe! Ono ye musajja agenda ayogera obubi ku ggwanga lyaffe ne ku mateeka gaffe ne ku kifo kino, ng’ayigiriza buli muntu buli wantu. Era ayonoonye Yeekaalu yaffe ng’agireetamu Abayonaani.”
29 (որովհետեւ նախապէս տեսեր էին Եփեսացի Տրոփիմոսը իրեն հետ՝ քաղաքին մէջ, ու կը կարծէին թէ Պօղոս տաճարը մտցուցած էր զայն):
Kubanga baamulabako ng’atambula mu kibuga ne Tulofiimo, eyava mu Efeso, ne balowooza nti Pawulo yamutwala ne mu Yeekaalu.
30 Ամբողջ քաղաքը շարժեցաւ ու ժողովուրդը խռնուեցաւ. Պօղոսը բռնելով՝ քաշեցին տաճարէն դուրս, եւ իսկոյն դռները գոցուեցան:
Ekibuga kyonna ne kijagalala olw’okuwulira ebigambo ebyo, era abantu ne bajja nga badduka okuva mu buli nsonda y’ekibuga. Ne bakwata Pawulo ne bamufulumya ebweru wa Yeekaalu, amangwago ne baggalawo enzigi.
31 Երբ անոնք կը ջանային սպաննել զայն, լուր հասաւ գունդին հազարապետին թէ ամբողջ Երուսաղէմը խառնաշփոթութեան մէջ է:
Naye bwe baayagala okumutta, amawulire ne gatuuka ku mukulu w’ekitongole ky’abaserikale Abaruumi nti Yerusaalemi kiguddemu akeegugungo.
32 Ան ալ անյապաղ զինուորներ եւ հարիւրապետներ առած՝ վազեց անոնց քով: Անոնք ալ տեսնելով հազարապետն ու զինուորները՝ դադրեցան Պօղոսը ծեծելէ:
Amangwago n’asindika abaserikale n’abaduumizi baabwe, ne badduka okugenda eri ekibiina ky’abantu. Awo bwe baalaba omuduumizi n’abaserikale nga bajja, ne balekeraawo okukuba Pawulo.
33 Այն ատեն հազարապետը մօտեցաւ, բռնեց զայն, ու հրամայեց որ կապեն կրկին շղթայով. ապա հարցափորձեց թէ ո՛վ էր ան եւ ի՛նչ ըրած էր:
Awo omukulu w’abaserikale n’akwata Pawulo n’alagira asibibwe mu njegere bbiri, n’alyoka abuuza nti, “Y’ani, era akoze ki?”
34 Սակայն բազմութեան մէջէն՝ մէկը բա՛ն մը կը գոռար, միւսը՝ ուրի՛շ բան: Երբ չկրցաւ գիտնալ ստոյգը աղմուկին մասին, հրամայեց որ բերդը տանին զայն:
Ne bamuddamu nga baleekaana, ng’abamu bamugamba kino n’abalala nga bagamba kiri. N’alemwa okubaako ekiramu ky’aggyamu olw’okuleekaana okungi. Kyeyava alagira batwale Pawulo mu nkambi y’abaserikale.
35 Երբ սանդուխը հասաւ, այնպէս պատահեցաւ որ զինուորները կրեցին զայն՝ բազմութեան բռնութեան համար.
Bwe yamutuusa ku madaala, ekibiina ky’abantu ne bayitirira obukambwe, abaserikale ne basitula Pawulo.
36 որովհետեւ ժողովուրդին բազմութիւնը կը հետեւէր՝ աղաղակելով. «Վերցո՛ւր զայն»:
Ekibiina ky’abantu abaali bagoberera ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mumutte!”
37 Երբ Պօղոս կը մտնէր բերդը՝ ըսաւ հազարապետին. «Արդեօք արտօնուա՞ծ է որ բան մը ըսեմ քեզի»: Ան ալ ըսաւ. «Յունարէն գիտե՞ս:
Awo abaserikale bwe baali bagenda okuyingiza Pawulo mu nkambi yaabwe, n’asaba omukulu waabwe nti, “Onzikiriza mbeeko kye nkugamba?” N’amuddamu nti, “Omanyi n’Oluyonaani?
38 Դուն չե՞ս այն Եգիպտացին, որ ասկէ օրեր առաջ չորս հազար սրիկայ մարդիկ ապստամբեցուց եւ դուրս տարաւ՝ անապատը»:
Ye si ggwe Mumisiri eyajeemesa abantu mu nnaku ezayita, n’okulembera abatemu enkumi nnya n’obalaza mu ddungu?”
39 Պօղոս ալ ըսաւ. «Ես հրեայ մարդ մըն եմ՝ Կիլիկիայի Տարսոնէն, ոչ աննշան քաղաքի մը քաղաքացի. կ՚աղերսե՛մ քեզի, արտօնէ՛ ինծի՝ որ խօսիմ ժողովուրդին»:
Pawulo n’addamu nti, “Nedda, nze ndi Muyudaaya, ewaffe Taluso ekiri mu Kirukiya, ekibuga ekitanyoomebwa, era omutuuze. Nkwegayiridde nzikiriza njogere n’abantu bano.”
40 Երբ ան արտօնեց, Պօղոս՝ սանդուխին վրայ կայնելով՝ ձեռքը շարժեց ժողովուրդին: Երբ խոր լռութիւն եղաւ, եբրայական բարբառով խօսեցաւ անոնց եւ ըսաւ.
Awo omuduumizi w’abaserikale kwe kumukkiriza, Pawulo n’ayimirira ku madaala n’akoma ku bantu basirike, amangwago ekibiina kyonna ne kisiriikirira, n’alyoka ayogera nabo mu Lwebbulaniya ng’abagamba nti:

< ԳՈՐԾՔ ԱՌԱՔԵԼՈՑ 21 >