< ԳՈՐԾՔ ԱՌԱՔԵԼՈՑ 16 >

1 Յետոյ հասաւ Դերբէ ու Լիւստրա: Եւ ահա՛ աշակերտ մը կար հոն՝ Տիմոթէոս անունով, որ որդին էր հաւատացեալ հրեայ կնոջ մը, իսկ հայրը Յոյն էր:
Awo Pawulo n’asookera e Derube n’oluvannyuma n’alaga e Lusitula. Eyo waaliyo omuyigirizwa erinnya lye Timoseewo. Nnyina yali Muyudaaya omukkiriza, nga kitaawe Muyonaani,
2 Ան բարի վկայուած էր նաեւ Լիւստրայի եւ Իկոնիայի եղբայրներէն:
abooluganda mu Lusitula ne mu Ikoniya nga bamwogerako birungi byereere.
3 Պօղոս ուզեց որ ան երթայ իրեն հետ. ուստի առաւ ու թլփատեց զայն՝ այնտեղ եղող Հրեաներուն պատճառով, որովհետեւ բոլորն ալ գիտէին թէ անոր հայրը Յոյն էր:
Pawulo n’ayagala Timoseewo agende nabo mu lugendo lwabwe. Bw’atyo n’amala okumukomola, kubanga Abayudaaya bonna mu kitundu ekyo baali bamanyi kitaawe wa Timoseewo nga bw’ali Omuyonaani.
4 Երբ կ՚անցնէին քաղաքներէն, կ՚աւանդէին անոնց Երուսաղէմ եղած առաքեալներէն ու երէցներէն պատուիրուած հրամանները, որպէսզի պահեն:
Awo bwe baali nga bayita mu bibuga ne babategeeza okukwatanga ebiragiro ebyasalibwawo abatume n’abakadde b’Ekkanisa mu Yerusaalemi ebikwata ku baamawanga.
5 Եկեղեցիներն ալ կ՚ամրանային հաւատքի մէջ, եւ անոնց թիւը կը բազմանար օրէ օր:
Ekkanisa ne yeeyongeranga amaanyi mu kukkiriza era n’abantu ne beeyongera obungi buli lunaku.
6 Երբ շրջեցան Փռիւգիա ու Գաղատիայի երկիրը, Սուրբ Հոգին արգիլեց քարոզել Աստուծոյ խօսքը Ասիայի մէջ:
Pawulo ne banne ne batambula ne bayita mu nsi y’e Fulugiya n’e Ggalatiya kubanga Mwoyo Mutukuvu yali abaziyizza okugenda mu Asiya okubuulirayo Ekigambo.
7 Հասնելով Միւսիայի կողմերը՝ կը փորձէին երթալ դէպի Բիւթանիա. բայց (Յիսուսի) Հոգին չթոյլատրեց անոնց:
Bwe baatuuka e Musiya ne bagezaako okugenda Bisuniya, naye Mwoyo wa Yesu n’atabakkiriza.
8 Ուստի՝ անցնելով Միւսիայի քովէն՝ իջան Տրովադա:
Kyebaava bayita obuyisi mu kitundu kya Musiya ne baserengeta e Tulowa.
9 Հոն՝ գիշերը տեսիլք մը երեւցաւ Պօղոսի. Մակեդոնացի մը կայնած էր ու կ՚աղաչէր իրեն՝ ըսելով. «Անցի՛ր Մակեդոնիա եւ օգնէ՛ մեզի»:
Ekiro ekyo Pawulo n’afuna okwolesebwa, omusajja Omumakedoni ng’ayimiridde mu maaso ge ng’amwegayirira nti, “Jjangu ewaffe e Makedoniya otuyambe.”
10 Երբ տեսաւ այդ տեսիլքը՝ իսկոյն ջանացինք մեկնիլ Մակեդոնիա, եզրակացնելով թէ Տէրը կը կանչէ մեզ անոնց աւետարանելու:
Pawulo bwe yafuna okwolesebwa okwo ne yeetegeka mangu okulaga e Makedoniya, kubanga yakitegeera nga Katonda atutumye okubabuulira Enjiri.
11 Ուստի Տրովադայէն նաւարկելով՝ ուղիղ ընթացքով գացինք Սամոթրակէ, ու հետեւեալ օրը՝ Նէապոլիս.
Awo ne tusaabala ku nnyanja e Tulowa, ne tuwunguka okutuuka e Samoserakiya, enkeera ne tulaga e Neyapoli,
12 անկէ ալ՝ Փիլիպպէ, որ Մակեդոնիայի մէկ մասին գլխաւոր քաղաքն է, նաեւ՝ գաղութ: Քանի մը օր կեցանք այդ քաղաքին մէջ:
n’oluvannyuma ne tutuuka e Firipi, ettwale ly’Abaruumi, era nga ky’ekibuga ekikulu mu kitundu ekyo ekya Makedoniya. Ne tumalawo ennaku ntonotono.
13 Շաբաթ օրը դուրս ելանք քաղաքէն՝ գետեզերքը, ուր սովորութիւն ունէին աղօթելու. նստանք եւ խօսեցանք համախմբուած կիներուն:
Ku Ssabbiiti ne tufuluma mu kibuga okulaga ku mugga ogwali okumpi n’ekibuga gye baali batutegeezezza nti waliwo abakuŋŋaanirayo okusabirayo. Ne tutuula wamu n’abakazi abaali bazze okusaba ne twogera nabo.
14 Աստուածապաշտ կին մը՝ Լիդիա անունով, որ ծիրանավաճառ էր՝ Թիւատիր քաղաքէն, մտիկ կ՚ընէր. Տէրը բացաւ անոր սիրտը՝ որ ուշադիր ըլլայ Պօղոսի ըսածներուն:
Omu ku bakazi abo erinnya lye nga ye Ludiya, yali musuubuzi wa ngoye ez’effulungu ng’abeera mu kibuga Suwatira. Yali asinza Katonda bulijjo. Katonda n’amubikkulira okutegeera obulungi ebyo Pawulo bye yali ayigiriza.
15 Երբ ինք եւ իր ընտանիքը մկրտուեցան, աղաչեց՝ ըսելով. «Եթէ Տէրոջ հաւատարիմ կը սեպէք զիս, իմ տո՛ւնս մտէք ու հո՛ն մնացէք»: Եւ ստիպելով՝ տարաւ մեզ:
Bw’atyo n’abatizibwa n’ab’omu nnyumba ye bonna. N’atuyita tumukyalire mu maka ge, ng’agamba nti, “Obanga mukakasa nti nzikirizza Mukama, mujje mubeere mu maka gange.” N’atuwaliriza.
16 Մինչ աղօթքի կ՚երթայինք, մեզի հանդիպեցաւ աղախին մը՝ որ հարցուկ ոգի ունէր եւ գուշակութեամբ շատ վաստակ կը բերէր իր տէրերուն:
Olunaku lumu twali tuserengeta ku mugga mu kifo we twasabiranga, ne tusisinkana omuwala omuddu ng’aliko ddayimooni eyalagulanga, era n’afuniranga bakama be ensimbi nnyingi.
17 Ասիկա կը հետեւէր Պօղոսի ու մեզի, եւ կ՚աղաղակէր. «Այս մարդիկը Ամենաբարձր Աստուծոյ ծառաներն են, ու կը քարոզեն մեզի փրկութեան ճամբան»:
N’atuvaako emabega ng’aleekaana nti, “Bano baddu ba Katonda Ali Waggulu Ennyo, era babategeeza ekkubo ly’obulokozi.”
18 Շատ օրեր կ՚ընէր այս բանը. Պօղոս ալ՝ նեղանալով՝ դարձաւ եւ ըսաւ այդ ոգիին. «Յիսուս Քրիստոսի անունով կը հրամայեմ քեզի, ելի՛ր ատկէ»: Ու նոյն ժամուն ելաւ:
Ekyo yakikola okumala ennaku nnyingi Pawulo n’anyiiga. Pawulo kyeyava akyuka n’agamba ddayimooni nti, “Nkulagira mu linnya lya Yesu Kristo, muveeko!” Era amangwago dayimooni n’ava ku muwala.
19 Երբ անոր տէրերը տեսան թէ իրենց վաստակին յոյսը գնաց, բռնեցին Պօղոսը եւ Շիղան, ու քաշեցին հրապարակը՝ պետերուն առջեւ:
Bannannyini muwala bwe baalaba nga tewakyali ssuubi lya kwongera kumufunamu nsimbi, ne bakwata Pawulo ne Siira ne babatwala mu katale eri ab’obuyinza.
20 Ապա տարին զանոնք մեծաւորներուն քով եւ ըսին. «Այս մարդիկը՝ որ Հրեայ են, իրար կ՚անցընեն մեր քաղաքը,
Ne babaleeta mu maaso g’abalamuzi, ne bagamba nti, “Abasajja bano Bayudaaya, basasamaza ekibuga kyaffe
21 ու կը քարոզեն այնպիսի սովորութիւններ՝ որ արտօնուած չէ մեզի ընդունիլ, ո՛չ ալ գործադրել, որովհետեւ Հռոմայեցի ենք»:
nga bayigiriza empisa n’obulombolombo bye tutakkirizibwa kugoberera na kukozesa mu mateeka gaffe ag’Ekiruumi.”
22 Բազմութիւնը խռնուեցաւ անոնց շուրջ. մեծաւորներն ալ բռնութեամբ հանեցին անոնց հանդերձները, եւ հրամայեցին խարազանել զանոնք:
Ekibiina ky’abantu ne kibeeyiwako, abalamuzi ne balagira bambulwemu engoye era bakubwe emiggo.
23 Շատ հարուածներ տալէ ետք անոնց՝ բանտը նետեցին զանոնք, պատուիրելով բանտապահին՝ որ ապահովութեամբ պահէ զանոնք:
Bwe baamala okukubwa emiggo mingi, ne baggalirwa mu kkomera, era omukuumi w’ekkomera n’akuutirwa abakuume butiribiri.
24 Ան ալ՝ այսպիսի պատուէր ստանալով՝ ներսի բանտը նետեց զանոնք, ու կոճղի մէջ ամրացուց անոնց ոտքերը:
Omukulu w’ekkomera bwe yafuna ebiragiro ebyo, n’abateekera ddala mu kkomera ery’omunda, n’amagulu gaabwe n’agassa mu nvuba.
25 Կէս գիշերին՝ Պօղոս եւ Շիղա կ՚աղօթէին ու կ՚օրհներգէին Աստուծոյ. բանտարկեալներն ալ մտիկ կ՚ընէին անոնց:
Awo ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira bwe baali nga basaba, era nga bwe bayimba n’ennyimba ez’okutendereza Katonda, nga n’abasibe abalala bawuliriza,
26 Յանկարծ հզօր երկրաշարժ մը եղաւ, այնպէս որ բանտին հիմերը սարսեցան. անմի՛ջապէս բոլոր դռները բացուեցան եւ բոլորին կապերը քակուեցան:
amangwago ne wabaawo musisi ow’amaanyi ennyo. Emisingi gy’ekkomera ne ginyeenyezebwa, n’enzigi z’ekkomera zonna ne zibanduka ne zeggula, era n’enjegere ezaali zisibye abasibe ne zisumulukuka ne zigwa eri!
27 Բանտապահը, երբ արթնցաւ ու բացուած տեսաւ բանտին դռները, քաշեց սուրը եւ պիտի սպաննէր ինքզինք, կարծելով թէ բանտարկեալները փախած են:
Omukuumi w’ekkomera n’azuukuka, n’alaba ng’enzigi zonna nzigule, n’alowooza nti abasibe bonna badduse, n’asowolayo ekitala kye yette!
28 Բայց Պօղոս բարձրաձայն գոչեց. «Մի՛ վնասեր դուն քեզի, որովհետեւ բոլորս ալ հոս ենք»:
Naye Pawulo n’aleekaana nti, “Teweekola kabi!”
29 Ան ալ՝ ճրագ մը ուզելով՝ վազեց ներս, դողալով ինկաւ Պօղոսի եւ Շիղայի առջեւ,
Omukuumi w’ekkomera n’akankana nnyo ng’ajjudde entiisa nnyingi, n’alagira ne baleeta ettaala, n’afubutuka n’ayingira munda, n’agwa wansi mu maaso ga Pawulo ne Siira ng’akankana.
30 ու դուրս բերելով զանոնք՝ ըսաւ. «Տէրե՛ր, ի՞նչ պէտք է ընեմ՝ որ փրկուիմ»:
Awo n’abafulumya, n’ababuuza nti, “Bassebo, nkole ki okulokolebwa?”
31 Անոնք ալ ըսին. «Հաւատա՛ Տէր Յիսուս Քրիստոսի, ու պիտի փրկուիս, դուն եւ տունդ»:
Ne bamugamba nti, “Kkiriza Mukama waffe Yesu onoolokolebwa, ggwe n’ennyumba yo yonna.”
32 Ու Տէրոջ խօսքը քարոզեցին անոր եւ բոլոր անոնց՝ որ անոր տան մէջ էին:
Awo ne bamubuulira Ekigambo kya Mukama waffe, ye n’ab’omu maka ge bonna.
33 Ինք ալ՝ գիշերուան նոյն ժամուն՝ առաւ զանոնք, լուաց անոնց վէրքերը եւ անմի՛ջապէս մկրտուեցաւ, ինք ու բոլոր իրենները:
Mu kiseera ekyo kyennyini n’abatwala n’abanaaza ebiwundu. Era ye n’ab’omu maka ge bonna ne babatizibwa.
34 Ապա իր տունը տանելով զանոնք՝ սեղան դրաւ անոնց առջեւ, եւ ցնծաց ամբողջ ընտանիքով՝ հաւատալով Աստուծոյ:
Omukuumi w’ekkomera n’abatwala mu nnyumba ye, n’abawa emmere, era amaka gonna ne gajjula essanyu kubanga baali bakkirizza Katonda.
35 Երբ առտու եղաւ, մեծաւորները յիսնապետներ ղրկեցին եւ ըսին. «Արձակէ՛ այդ մարդիկը»:
Awo obudde bwe bwakya, abalamuzi ne batuma abaserikale eri omukuumi w’ekkomera ne bamugamba nti, “Abasajja abo basumulule.”
36 Բանտապահն ալ հաղորդեց Պօղոսի այդ խօսքերը՝ ըսելով. «Մեծաւորները մարդ ղրկեցին՝ որ արձակուիք. ուստի հիմա դո՛ւրս ելէք ու մեկնեցէ՛ք խաղաղութեամբ»:
Omukuumi w’ekkomera n’ategeeza Pawulo nti, “Abalamuzi balagidde muteebwe. Noolwekyo kaakano mugende mirembe.”
37 Բայց Պօղոս ըսաւ անոնց. «Թէպէտ չդատապարտուած Հռոմայեցիներ ենք, հրապարակաւ ծեծելով մեզ՝ բանտը նետեցին, եւ հիմա ծածկաբա՞ր կը հանեն մեզ: Ո՛չ այդպէս, հապա իրե՛նք թող գան ու դուրս տանին մեզ»:
Naye Pawulo n’addamu nti, “Ekyo ffe tetukikkiriza! Baatukubidde mu lujjudde lw’abantu nga tebamaze na kutuwozesa, ne batusiba mu kkomera, ng’ate tuli Baruumi! Olwo kaakano baagala batusumulule mu kyama? Nedda! Bo bennyini be baba bajja batuggye mu kkomera!”
38 Յիսնապետները մեծաւորներուն հաղորդեցին այս խօսքերը: Անոնք ալ, երբ լսեցին թէ Հռոմայեցի են՝ վախցան, ու եկան, աղաչեցին անոնց,
Abaserikale abaatumibwa ne bazzaayo ebigambo eri abalamuzi. Naye bwe baawulira nti Pawulo ne Siira Baruumi ne batya nnyo.
39 եւ դուրս հանելով՝ կը թախանձէին որ մեկնին այդ քաղաքէն:
Ne bajja mu kkomera ne basaba Pawulo ne Siira bagende, ne babaggya mu kkomera ne babeegayirira babaviire mu kibuga kyabwe.
40 Անոնք ալ ելան բանտէն ու մտան Լիդիայի տունը, եւ տեսնելով եղբայրները՝ յորդորեցին զանոնք ու մեկնեցան:
Pawulo ne Siira bwe baava mu kkomera ne bagenda mu maka ga Ludiya, ne bongera okubuulira abooluganda ekigambo kya Katonda nga babanyweza, n’oluvannyuma ne basitula ne bagenda.

< ԳՈՐԾՔ ԱՌԱՔԵԼՈՑ 16 >