< اَلْمَزَامِيرُ 66 >

لِإِمَامِ ٱلْمُغَنِّينَ. تَسْبِيحَةٌ. مَزْمُورٌ اِهْتِفِي لِلهِ يَا كُلَّ ٱلْأَرْضِ! ١ 1
Ya mukulu wa bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi. Yimbira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, ggwe ensi yonna.
رَنِّمُوا بِمَجْدِ ٱسْمِهِ. ٱجْعَلُوا تَسْبِيحَهُ مُمَجَّدًا. ٢ 2
Muyimbe ekitiibwa ky’erinnya lye. Mumuyimbire ennyimba ezimusuuta.
قُولُوا لِلهِ: «مَا أَهْيَبَ أَعْمَالَكَ! مِنْ عِظَمِ قُوَّتِكَ تَتَمَلَّقُ لَكَ أَعْدَاؤُكَ. ٣ 3
Gamba Katonda nti, “Ebikolwa byo nga bya ntiisa! Olw’amaanyi go amangi abalabe bo bakujeemulukukira.
كُلُّ ٱلْأَرْضِ تَسْجُدُ لَكَ وَتُرَنِّمُ لَكَ. تُرَنِّمُ لِٱسْمِكَ». سِلَاهْ. ٤ 4
Ab’omu nsi yonna bakuvuunamira, bakutendereza, bayimba nga bagulumiza erinnya lyo.”
هَلُمَّ ٱنْظُرُوا أَعْمَالَ ٱللهِ. فِعْلَهُ ٱلْمُرْهِبَ نَحْوَ بَنِي آدَمَ! ٥ 5
Mujje mulabe Katonda ky’akoze; mulabe eby’entiisa by’akoledde abaana b’abantu!
حَوَّلَ ٱلْبَحْرَ إِلَى يَبَسٍ، وَفِي ٱلنَّهْرِ عَبَرُوا بِٱلرِّجْلِ. هُنَاكَ فَرِحْنَا بِهِ. ٦ 6
Ennyanja yagifuula olukalu. Abantu baasomoka omugga n’ebigere nga temuli mazzi, kyetuva tujaguza.
مُتَسَلِّطٌ بِقُوَّتِهِ إِلَى ٱلدَّهْرِ. عَيْنَاهُ تُرَاقِبَانِ ٱلْأُمَمَ. ٱلْمُتَمَرِّدُونَ لَا يَرْفَعُونَ أَنْفُسَهُمْ. سِلَاهْ. ٧ 7
Afuga n’amaanyi ge emirembe gyonna; amaaso ge agasimba ku mawanga, ab’omutima omujeemu baleme okumujeemera.
بَارِكُوا إِلَهَنَا يَا أَيُّهَا ٱلشُّعُوبُ، وَسَمِّعُوا صَوْتَ تَسْبِيحِهِ. ٨ 8
Mutendereze Katonda waffe, mmwe amawanga; eddoboozi ery’okumutendereza liwulirwe wonna.
ٱلْجَاعِلَ أَنْفُسَنَا فِي ٱلْحَيَاةِ، وَلَمْ يُسَلِّمْ أَرْجُلَنَا إِلَى ٱلزَّلَلِ. ٩ 9
Oyo y’atukuumye ne tuba balamu, n’ataganya bigere byaffe kuseerera.
لِأَنَّكَ جَرَّبْتَنَا يَا ٱللهُ. مَحَصْتَنَا كَمَحْصِ ٱلْفِضَّةِ. ١٠ 10
Kubanga ggwe, Ayi Katonda, otugezesezza, n’otulongoosa nga bwe bakola ffeeza mu muliro.
أَدْخَلْتَنَا إِلَى ٱلشَّبَكَةِ. جَعَلْتَ ضَغْطًا عَلَى مُتُونِنَا. ١١ 11
Watuteeka mu kkomera, n’otutikka emigugu.
رَكَّبْتَ أُنَاسًا عَلَى رُؤُوسِنَا. دَخَلْنَا فِي ٱلنَّارِ وَٱلْمَاءِ، ثُمَّ أَخْرَجْتَنَا إِلَى ٱلْخِصْبِ. ١٢ 12
Waleka abantu ne batulinnyirira; ne tuyita mu muliro ne mu mazzi, n’otutuusa mu kifo eky’okwesiima.
أَدْخُلُ إِلَى بَيْتِكَ بِمُحْرَقَاتٍ، أُوفِيكَ نُذُورِي ١٣ 13
Nnaayambukanga mu yeekaalu yo n’ebiweebwayo ebyokebwa, ntuukirize obweyamo bwange gy’oli,
ٱلَّتِي نَطَقَتْ بِهَا شَفَتَايَ، وَتَكَلَّمَ بِهَا فَمِي فِي ضِيقِي. ١٤ 14
nga ndeeta ekyo emimwa gyange kye gyasuubiza; akamwa kange kye kaayogera bwe nnali mu kabi.
أُصْعِدُ لَكَ مُحْرَقَاتٍ سَمِينَةً مَعَ بْخُورِ كِبَاشٍ. أُقَدِّمُ بَقَرًا مَعَ تُيُوسٍ. سِلَاهْ. ١٥ 15
Nnaawaayo gy’oli ssaddaaka ez’ensolo ensava, mpeeyo ne ssaddaaka ey’endiga ennume; mpeeyo ente ennume n’embuzi.
هَلُمَّ ٱسْمَعُوا فَأُخْبِرَكُمْ يَا كُلَّ ٱلْخَائِفِينَ ٱللهَ بِمَا صَنَعَ لِنَفْسِي. ١٦ 16
Mujje muwulire, mmwe mwenna abatya Katonda, mbategeeze ebyo by’ankoledde.
صَرَخْتُ إِلَيْهِ بِفَمِي، وَتَبْجِيلٌ عَلَى لِسَانِي. ١٧ 17
Namukaabirira n’akamwa kange, ne mutendereza n’olulimi lwange.
إِنْ رَاعَيْتُ إِثْمًا فِي قَلْبِي لَا يَسْتَمِعُ لِيَ ٱلرَّبُّ. ١٨ 18
Singa nnali nsirikidde ekibi mu mutima gwange, Mukama teyandimpulirizza;
لَكِنْ قَدْ سَمِعَ ٱللهُ. أَصْغَى إِلَى صَوْتِ صَلَاتِي. ١٩ 19
ddala ddala Katonda yampuliriza era n’awulira eddoboozi lyange nga nsaba.
مُبَارَكٌ ٱللهُ، ٱلَّذِي لَمْ يُبْعِدْ صَلَاتِي وَلَا رَحْمَتَهُ عَنِّي. ٢٠ 20
Katonda atenderezebwenga, atagobye kusaba kwange, wadde okunziggyako okwagala kwe okutaggwaawo!

< اَلْمَزَامِيرُ 66 >