< Yobu 6 >

1 Yobu n’ayanukula ng’agamba nti, 2 “Singa okweraliikirira kwange, n’okubonaabona kwange bipimibwa ne biteekebwa ku minzaani! 3 Weewaawo byandisinze omusenyu gw’ennyanja okuzitowa; ebigambo byange kyenvudde mbyanguyiriza. 4 Obusaale bwa Ayinzabyonna buli mu nze n’omwoyo gwange gunywedde obusagwa bwabwo: entiisa ya Katonda erwana nange. 5 Entulege ekaaba awali omuddo, oba ente ennume eŋŋooŋŋa awali emmere yaayo? 6 Emmere etaliimu nsa eriika omutali munnyo, oba amazzi g’eggi okubaamu akawoomerera? 7 Omutima gwange tegusikirizibwa kubikombako, biri ng’emmere etangasa. 8 “Singa Katonda ampa kye nsaba, n’ampa kye nsuubira, 9 yandisiimye okumbetenta ne mmalibwawo omukono gwe. 10 Kino kyandikkakkanyizza obulumi obutakoma kubanga sigaanye bigambo bya Mutukuvu. 11 Amaanyi ngaggya wa, ndyoke mbe n’essuubi? Era enkomerero yange, eruwa ndyoke ngumiikirize? 12 Amaanyi gange ga mayinja oba omubiri gwange gwa kikomo? 13 Mu mazima sirina maanyi n’obusobozi bwanzigwako. 14 Oyo agaana ebyekisa okuva eri mukwano gwe tafaayo kutya Ayinzabyonna. 15 Baganda bange tebeesigika, bali ng’akagga akabooga ate ne kakalira, 16 akaddugalirira buli lwe kakwata, ng’omuzira, 17 ate ne kaggwaawo buli lwe wabaawo ebbugumu. 18 Ebibinja by’abatambuze we biviira ku mugendo ne biraga mu ddungu ne bizikirira. 19 Abatambuze b’e Teema banoonya, bo ab’e Seeba ne balindirira n’essuubi. 20 Baalina essuubi naye bwe baatuukayo ne banyolwa nnyo. 21 Kaakano bwe mundabye ne mutya ne mukakasizza ddala nga temuliiko kye muyinza kukola. 22 Nnali mbagambye nti, ‘Mumpe ekirabo,’ oba nti, ‘Mumpeereyo ekintu ku by’obugagga bwammwe, 23 okumponya nve mu mukono gw’omulabe, n’okumpeerayo ekintu mpone emitego gy’abakambwe’? 24 “Njigiriza nange n’aba musirise; ndaga we nsobezza. 25 Ebigambo eby’amazima nga bya bulumi! Naye okuwakana kwammwe kukakasa ki? 26 Mugezaako okugolola ebigambo byange, ne mufuula ebigambo by’omuntu ali obubi okuba ng’empewo? 27 Mukubira ne bamulekwa akalulu ate ne mukubira ne mukwano gwammwe. 28 “Naye kaakano mubeere ba kisa muntunuulire. Ndabika ng’omulimba? 29 Mufumiitirize, temusuula bwenkanya; Mukirowoozeeko, kubanga obujulirwa bwange buli ku kalebwerebwe. 30 Emimwa gyange girabika ng’egirimba? Emimwa gyange tegisobola kutegeera ttima?”

< Yobu 6 >